bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 9
Judges 9
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
1
Abimereki mutabani wa Yerubbaali n'agenda e Sekemu ku bukojjaabwe n'agamba ab'oluganda lwa nnyina bonna nti,
2
“Mbeegayiridde, mwogere abantu bonna ab'e Sekemu nga bawulira; mubabuuze nti, ‘kiriwa ekisinga obulungi; batabani ba Yerubbaali bonna ensanvu (70), okubafuganga oba omu okubafuganga?’ Era mujjukire nga nze ndi wa musaayi gwammwe.”
3
Ab'oluganda lwa nnyina ne boogera ebigambo ebyo byonna ku lulwe nga abantu be Sekemu bawulira; ne basalawo okugoberera Abimereki, kubanga baagamba nti, “Ye muganda waffe.”
4
Ne bamuwa ebitundu ebya ffeeza nsanvu (70), bye baggya mu nnyumba ya Baaluberisi. Abimereki n'abikozesa okupangisa abasajja abalalulalu ne bamugoberera.
5
N'agenda mu nnyumba ya kitaawe mu Ofula, n'attira baganda be ensanvu (70) batabani ba Yerubbaali ku jjinja limu, naye Yosamu mutabani wa Yerubbaali omuto n'awona; kubanga yeekweka.
6
Abasajja bonna abe Sekemu n'ab'Ebesimillo ne bakuŋŋaana ne bafuula Abimereki kabaka, awali omwera oguliraanye empagi eyali mu Sekemu.
7
Awo bwe baakibuulira Yosamu, n'agenda n'ayimirira ku ntikko y'olusozi Gerizimu, n'ayogera n'eddoboozi ddene nti, “Mumpulire, mmwe abasajja ab'omu Sekemu nammwe Katonda alyoke abawulire.
8
Awo olwatuuka emiti negikuŋŋaana okufuka amafuta ku kabaka anaagifuganga; ne gigamba omuzeyituuni nti, ‘Ggwe tufuge.’
9
Naye omuzeyituuni ne gugigamba nti, ‘N'andirese obugimu bwange mwe bayima okussaamu ekitiibwa Katonda n'abantu ku bwange, ne ŋŋenda okufuga emiti?’
10
Emiti ne gigamba omutiini nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’
11
Naye omutiini ne gugigamba nti, ‘N'andirese obuwoomerevu bwange n'ebibala byange ebirungi, ne ŋŋenda okufuga emiti?’
12
Emiti ne gigamba omuzabbibu nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’
13
Omuzabbibu ne gugigamba nti, ‘N'andirese omwenge gwange, ogusanyusa Katonda n'abantu, ne ŋŋenda okufuga emiti?’
14
Awo emiti gyonna ne giryoka gigamba omweramannyo nti, ‘Jjangu ggwe otufuge.’
15
Omweramannyo ne gugamba emiti nti, ‘Oba nga munanfukako amafuta okuba kabaka wammwe ddala, kale mujje mwewogome mukisiikirize kyange; naye oba nga si bwe kityo. Omuliro guve mu mweramannyo gwokye emivule gyonna egy'omu Lebanooni.’
16
Kale nno, oba nga mwakola eby'amazima n'eby'obutuukirivu, okufuula Abimereki kabaka, era oba nga mwakola bulungi Yerubbaali n'ennyumba ye, ne mubasasula olw'ebirungi byeyabakolera;
17
kubanga kitange yabalwanirira, n'awaayo obulamu bwe, n'abawonya mu mukono gwa Midiyaani;
18
naye mmwe leero mwefulidde ennyumba ya kitange era mwattira batabani be ensanvu (70) ku jjinja limu, ne mufuula Abimereki, mutabani w'omuzaana we, kabaka w'abantu ab'omu Sekemu, kubanga ye muganda wammwe;
19
kale oba nga musasudde Yerubbaali n'ennyumba ye eby'amazima n'eby'obutuukirivu, kale musanyukire Abimereki, era naye abasanyukire mmwe;
20
naye oba nga si bwe kiri, kale omuliro guve mu Abimereki gwokye abantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro; era omuliro guve mu bantu ab'omu Sekemu n'ab'omu Besimmiiro gwokye Abimereki.”
21
Yosamu n'adduka n'agenda e Beeri n'abeera eyo, olw'okutya Abimereki muganda we.
22
Abimereki n'amala emyaka esatu (3) nga y'afuga Isiraeri
23
Katonda n'atuma omuzimu omubi okwawukanya Abimereki n'abasajja ab'omu Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne basalira Abimereki enkwe;
24
Ekyo kyabaawo Abimereki n'abasajja abe Sekemu abaamuwagira okutta bagandabe, batabani ba Yerubbaali ensanvu (70), n'obukambwe balyoke basasulwe era omusaayi gwabwe gubeere ku Abimereki.
25
Abasajja ab'omu Sekemu ne bassaawo abateezi okumuteegeranga ku ntikko z'ensozi, ne banyaga bonna abaayitanga mu kkubo eryo gye baali; ne kibuulirwa Abimereki.
26
Awo Gaali mutabani wa Ebedi n'ajja ne baganda be, nebagenda e Sekemu; abasajja ab'omu Sekemu ne bamwesiga.
27
Ne bagenda mu nnimiro, ne bakungula ezabbibu zaabwe, ne bazisogolamu omubisi, ne bafumba embaga, ne bayingira mu ssabo lya lubaale waabwe, ne balya ne banywa, ne bakolimira Abimereki.
28
Gaali mutabani wa Ebedi n'ayogera nti, “Abimereki y'ani? Lwaki ffe abe Sekemu tumuweereza? Ssi ye mutabani wa Yerubbaali? Yee abaffe Zebbuli omumyuka we ye ani? Munywerere ku Kamoli kitaawe wa Sekemu omukulu we kika kyaffe. Lwaki tuweereza Abimereki oyo?
29
Era singa nze mukulembeze w'abantu bano, nandiggyeewo Abimereki! Nandigambye Abimereki nti, ‘Teekateeka eggye lyo, weesowoleyo olwane.’ ”
30
Awo Zabbuli omukulu w'ekibuga bwe yawulira ebigambo bya Gaali mutabani wa Ebedi, n'asunguwala nnyo.
31
N'atuma ababaka eri Abimereki mu kyama, ng'ayogera nti, “Laba, Gaali mutabani wa Ebedi ne baganda be bazze e Sekemu; bajeemesa abantu b'omu kibuga bakulwanyise.
32
Kale nno, golokoka kiro, ggwe n'abantu abali naawe, muteegere mu nnimiro.
33
Awo olunaatuuka ku makya enjuba nga kyejje eveeyo, onoogolokoka n'olumba ekibuga; awo Gaali na bali naye bwe banafuluma okulwana naawe, n'olyoka obakubira ddala nga bwosobola.”
34
Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka kiro, ne bateega ekibuga Sekemu nga beeyawuddemu ebibinja bina.
35
Gaali mutabani wa Ebedi n'afuluma, n'ayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; Awo Abimereki n'abantu be yali nabo ne bava we baali baategedde.
36
Awo Gaali bwe yalaba abantu, n'agamba Zabbuli nti, “Laba, abantu baserengeta nga bava ku ntikko z'ensozi.” Zabbuli n'amugamba nti, “Olaba kisiikirize ky'ensozi, kye kifaanana ng'abantu.”
37
Gaali n'agamba nate nti, “Laba abantu bakkirira nga bayitira mu muwaatwa gw'olusozi, n'ekibinja ekimu kifuluma mu kkubo ery'oku mwera gw'abalaguzi.”
38
Awo Zabbuli n'alyoka agamba Gaali nti, “Akamwa ko kaakano kali ludda wa kubanga wagamba nti, ‘Abimereki ye ani, ffe okumuweereza?’ Bano si be bantu be wanyooma? Kale nno kaakano fuluma olwane nabo.”
39
Awo Gaali n'akulembera abasajja ab'omu Sekemu n'afuluma okulwana ne Abimereki.
40
Abimereki n'amugoba, Gaali n'adduka, Abimereki n'amuwondera okutuuka ku mulyango ogwa wankaaki. Bangi ne bagwa nga bafumitiddwa.
41
Abimereki n'abeera mu Aluma; Zabbuli n'agobamu Gaali ne baganda be, baleme okubeeranga mu Sekemu.
42
Ku lunaku olwaddirira, Abimereki naakitegeera nti abantu beetegeka okugenda mu nnimiro.
43
Awo n'atwala abantu n'abaawulamu ebibinja bisatu, n'ateegera mu nnimiro naalinda. Awo abantu bwe bafuluma mu kibuga n'abagolokokerako, n'abakuba.
44
Abimereki n'ebibinja ebyali naye ne bafubutuka, ne bayimirira mu mulyango gwa wankaaki w'ekibuga; ebibinja ebibiri ebirala ne bifubutukira ku bonna abaali mu nnimiro ne babakuba.
45
Abimereki n'azibya obudde ku lunaku olwo ng'alwana n'ekibuga; n'akikuba, n'atta abantu abaalimu; n'amenyamenya ekibuga, n'akiyiwamu omunnyo.
46
Abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bwe baawulira ekyo, ne bayingira mu kinnya eky'omu ssabo lya Eruberisi.
47
Ne babuulira Abimereki ng'abasajja bonna ab'omu kigo eky'e Sekemu bakuŋŋaanye.
48
Awo Abimereki n'abantu bonna abaali naye ne balinnya ku lusozi Zalumoni; Abimereki n'akwata embazzi n'atema ettabi ku muti, naalikwata naalissa ku kibegabega kye, n'agamba abantu abaali naye nti, “mwanguwe mukole nga bwe nkoze.”
49
Awo buli omu n'atema ettabi ku muti, n'agoberera Abimereki. Ne batuuma amatabi ku kinnya kiri. Ne bakikumako omuliro. Abantu bonna ab'omu kigo ky'e Sekemu ne bafiiramu, abasajja n'abakazi nga lukumi (1,000).
50
Awo Abimereki n'agenda n'azingiza Sebezi, n'akiwamba.
51
Mu kibuga omwo, mwalimu ekigo eky'amaanyi, awo abasajja n'abakazi bonna ab'omukibuga ne baddukira omwo ne beggalira, ne balinnya ku kasolya k'ekigo.
52
Awo Abimereki n'alumba ekigo okukirwanyisa, n'asemberera oluggi lw'ekigo alwokye omuliro.
53
Awo omukazi omu n'asuula olubengo ku mutwe gwa Abimereki n'agwasa.
54
Awo n'ayanguwa n'ayita omulenzi eyakwatanga eby'okulwanyisa bye, n'amugamba nti, “Sowola ekitala kyo, onzite, abantu balemenga okunjogerako nti, ‘Omukazi ye yamutta.’ ” Omulenzi we n'amufumita, n'afa.
55
Abasajja ba Isiraeri bwe baalaba nga Abimereki afudde, ne baddayo buli muntu ewaabwe.
56
Katonda bwatyo bweyawalana eggwanga ku Abimereki, olw'ekikolwa kyeyakola eky'okutta baganda be ensanvu (70).
57
Katonda era n'abonereza abantu b'omu Sekemu olw'ekibi kyabwe ne Yosamu mutabani wa Yerubbaali ekikolimo kyeyabakolimira ne kituukirira.
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21