bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 14
Judges 14
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
1
Awo Samusooni n'agenda e Timuna, era e Timuna n'alabayo omu ku bawala ab'Abafirisuuti.
2
N'avaayo najja n'abuulira kitaawe ne nnyina nti, “N'alaba mu Timuna omuwala Omufirisuuti; njagala mu mumpasize.”
3
Kitaawe ne nnyina ne bamubuuza nti, “Tewali mukazi n'omu mu bawala ba baganda bo, newakubadde mu bantu bange bonna, naawe kyova ogenda okuwasa omukazi mu Bafirisuuti abatali bakomole?” Samusooni n'agamba kitaawe nti, “Mpasiza oyo kubanga nze ggwe nsimye.”
4
Naye kitaawe ne nnyina tebaamanya nga ekyo kyava eri Mukama; kubanga Mukama yali anoonya ensonga ku Bafirisuuti. Era mu biro ebyo Abafirisuuti be baali bafuga Isiraeri.
5
Awo Samusooni n'agenda e Timuna, ne kitaawe ne nnyina, bwe batuuka mu nsuku z'emizabbibu ez'e Timuna, era, laba empologoma envubuka n'emulumba nga ewuluguma.
6
Awo Omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agitaagulataagula nga bwe yanditaaguddetaagudde omwana gw'embuzi, so nga yali nga talina kintu mu ngalo ze; naye n'atabuulirako kitaawe newakubadde nnyina kw'ekyo ky'akoze.
7
Samusooni n'agenda n'anyumya n'omukazi n'amusiima nnyo.
8
Ebbanga bwe lyayitaawo n'addayo okumukima, n'akyama okulaba empologoma gye yatta, mu mutulumbi gwayo n'asangamu enjuki n'omubisi gwazo.
9
Naagutoolako n'engalo ze, n'atambula nga alya, n'agenda eri kitaawe ne nnyina, nabo n'abawaako ne balya, kyokka teyababuulira nti yagujja mu mutulumbi gw'empologoma.
10
Kitaawe n'agenda mu maka g'omuwala, Samusooni n'akolerayo embaga, kubanga abaawasanga bwe batyo bwe baakolanga.
11
Awo olwatuuka bwe baamulaba ne baleeta bannaabwe asatu (30), okubeera naye.
12
Samusooni n'abagamba nti, “Kaakano ka mbakokkolere ekikokko; bwe mulikitegeera ne mukinzivuunulira ennaku omusanvu (7) ez'embaga nga tezinnaggwaako, ne ndyoka mbawa ebyambalo ebya bafuta asatu (30), n'emiteeko gy'engoye asatu (30),
13
naye bwe muliremwa okukimbuulira, mmwe ne mulyoka mumpa ebyambalo ebya bafuta asatu (30), n'emiteeko gy'engoye asatu (30).” Ne bamugamba nti, “Kokkola ekikokko kyo tukiwulire.”
14
N'abagamba nti, “Mu mmuli mwavaamu emmere, Ne mu w'amaanyi mwavaamu obuwoomerevu.” Ennaku ssatu ne ziyitawo nga bakyalemeddwa okuvvuunula ekikokko.
15
Awo olwatuuka ku lunaku olwokuna ne bagamba mukazi wa Samusooni nti, “Sendasenda balo atuvvuunulire ekikokko, tuleme okukwokya omuliro ggwe n'ennyumba ya kitaawo, mwatuyita kutwavuwaza?”
16
Mukazi wa Samusooni n'akaabira amaziga mu maaso ga Samusooni, n'amugamba nti, “Tonjagala onkyawa bukyayi, wakokkolera ekikokko abantu bange, naye nze n'otokimbuulirako.” N'amugamba nti, “Laba, sikibuuliranga kitange newakubadde mmange, ggwe nnaandikibuuliddeko?”
17
N'akaabiranga mu maaso ge, okutuusa ennaku omusanvu (7) ez'embaga lwe zaggwaako; ku lunaku olw'omusanvu (7) n'amubuulira olw'okumwetayirira nnyo. Awo omukazi n'alyoka agenda n'abuulira abantu be amakulu g'ekikokko.
18
Awo olwatuuka ku lunnaku olw'omusanvu, enjuba nga tennagwa, abasajja ab'omukibuga ne bagamba Samusooni nti, “Kiki ekisinga omubisi gw'enjuki obuwoomerevu? Era kiki ekisinga empologoma amaanyi?” N'agamba nti, “Singa temwalimisa nte yange, Temwandivvuunudde kikokko kyange.”
19
Awo omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, n'agenda e Asukulooni, n'attayo abasajja asatu (30), n'abambulamu engoye zaabwe, n'aziwa bali abavvuunula ekikokko. Nasunguwalya nnyo n'addayo ewa kitaawe.
20
Naye mukazi wa Samusooni ne bamuwa munne wa Samusooni, eyali mukwano ggwe ennyo.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21