bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 16
Judges 16
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
1
Samusooni n'agenda e Gaza, n'alabayo omukazi omwenzi, neyeegatta naye.
2
Ne babuulira ab'e Gaza nti, “Samusooni atuuse wano.” Ne bamuzingiza, ne bamuteegera ku mulyango gw'ekibuga okukeesa obudde, ne basirika ekiro kyonna, ne boogera nti, “Katulinde obudde bukye tulyoke tumutte.”
3
Samusooni ne yeebaka okutuusa ettumbi, n'agolokoka mu ttumbi, n'akwata enzigi z'omuzigo gw'ekibuga, n'emyango gyombi, n'abisimbulira ddala byonna era n'ekisiba, n'abiteeka ku kibegabega kye, n'abitwala ku ntikko y'olusozi oluli mu maaso g'e Kebbulooni.
4
Awo olwatuuka oluvannyuma Samusooni n'ayagala omukazi mu kiwonvu eky'e Soleki, erinnya lye Derira.
5
Abakungu b'Abafirisuuti ne bagenda eri Derira ne bamugamba nti, “Musendesende akubuulire olabe amaanyi ge amangi mwe gasibuka, okwo kwe tulisinziira tulyoke tumukwatte, tumusibe tumujeeze: buli omu ku ffe agenda kukuwa ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi (1,100).”
6
Derira n'agamba Samusooni nti, “Nkwegayiridde, mbuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka, era kyebayinza okukusibya okukujeeza.”
7
Samusooni n'amugamba nti, “Bwe balinsibya enkolokolo musanvu ezitakolangako eziwotose, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
8
Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bamuleetera enkolokolo musanvu ezitakolangako eziwotose, n'amusibya ezo.
9
Era omukazi yalina abateezi abaali mu kisenge ekirala. N'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko!” Nagugumuka naakutula enkolokolo ng'omuguwa gw'obugoogwa bwe gukutuka nga gwokeddwa omuliro. Amaanyi ge ne gatategeerekeka,
10
Derira n'agamba Samusooni nti, “Laba, onduulidde, era onnimbye; kaakano nkwegayiridde, mbuulira kyebayinza okukusibya.”
11
N'amugamba nti, “Bwe balinsibya obusibya emigwa emiggya egitakozesebwangako, ne ndyoka nfuuka omunafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
12
Awo Derira n'amusibya emiguwa emiggya, n'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Era abateezi baali mu kisenge ekirala mu nnyumba. Samusooni naakutula emiguwa ku mikono gye ng'ewuzi.
13
Derira n'agamba Samusooni nti, “Okutuusa kaakano onduulira era onnimba bulimbi; naye ddala mbuulira kyebayinza okukusibya.” N'amugamba nti, “Bw'onoolukira emivumbo egy'oku mutwe gwange omusanvu, ku muti okulukirwa engoye n'oginyweza n'olubambo, olwo ne ndyoka mbeera omunafu nga omusajja omulala yenna.”
14
Derira bwe yalaba nga Samusooni yeebase, naddira emivumbo omusanvu egy'oku mutwe gwe n'agirukira ku muti ogulukirwako engoye, n'azisibira ddala n'olubambo; n'alyoka alekana n'amugamba nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Samusooni n'azuukuka mu tulo n'akwakulayo olubambo n'omuti okulukirwa engoye.
15
Derira n'agamba Samusooni nti, “Oyinza otya okwogera nti onjagala ate nga omutima gwo teguli nange? Kubanga waakanduulira emirundi gino esatu, so nga tombuulira amaanyi go amangi mwe gasibuka.”
16
Awo olwatuuka Derira n'amwetayiriranga buli lunaku n'ebigambo bye ng'amwegayirira; obulamu bwa Samusooni ne bwetaamirwa ddala.
17
Awo Samusooni n'alyoka amubuulira byonna ebyali mu mutima gwe, n'amugamba nti, “Ndi muwonge eri Katonda okuva mu lubuto lwa mange era siimwebwanga nviiri. Bwe mwebwako enviiri amaanyi gange ganvaako ne nfuuka munafu, ne mba ng'omusajja omulala yenna.”
18
Derira bwe yamanya nga Samusooni amubuulidde byonna ebibadde mu mutima gwe, n'atumya abakungu b'Abafirisuuti ng'ayogera nti, “Mujje omulundi guno gwokka, kubanga ambuulidde byonna ebibadde mu mutima gwe.” Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bagenda gy'ali nga batutte n'effeeza mu ngalo zaabwe.
19
N'amwebasa ku maviivi ge; n'ayita omusajja, n'amumwako emivumbo omusanvu egy'oku mutwe gwe; amaanyi ge negamuvaako, n'atanula okumujeeza.
20
Derira naalekaana nti, “Samusooni Abafirisuuti bakuguddeko.” Samusooni n'azuukuka mu tulo twe n'alowooza nti anaafuluma ng'obw'edda abeetakkuluzeeko; n'atamanya nga Mukama yali amulese.
21
Awo Abafirisuuti ne bamukwata, ne baggyamu amaaso ge; ne bamutwala e Gaza, ne bamusibya enjegere z'ebikomo; ne bamutwala mu kkomera ne bamuwa omulimu gw'okuseeranga ku lubengo.
22
Naye enviiri ez'oku mutwe gwe nezitandika okumera.
23
Awo abakungu b'Abafirisuuti ne bakuŋŋaana okuwaayo ssaddaaka ennene eri Dagoni katonda waabwe n'okusanyuka; kubanga baayogera nti, “Katonda waffe agabudde Samusooni omulabe waffe mu mukono gwaffe.”
24
Abantu bwe baamulaba ne batendereza katonda waabwe nti, “Katonda waffe atuwadde okuwangula eyazikiriza ensi yaffe, era eyatuttako abantu abangi.”
25
Awo olwatuuka emitima gyabwe bwe gyajjula essanyu, ne bagamba nti, “Muyite Samusooni atusanyusemu.” Awo ne bayita Samusooni okuva mukkomera n'abasanyusamu ng'ali mu maaso gaabwe nga bamutadde wakati w'empagi.
26
Samusooni n'agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono nti, “Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde ennyumba, nzeesigameko.”
27
Ennyumba yali ejjudde abasajja n'abakazi awamu n'abakungu b'Abafirisuuti nga bali omwo bonna nga ne waggulu ku nnyumba ng'eriyo abasajja n'abakazi nga enkumi ssatu (3,000), abaali batunuulira Samusooni ng'abasanyusamu.
28
Awo Samusooni n'akoowoola Mukama ng'ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda, njijukira, nkwegayiridde, ompe amaanyi omulundi guno gwokka mpalane eggwanga ku Bafirisuuti bano olw'okunziggyamu amaaso gange gombi.”
29
Samusooni n'akwata empagi zombi eza wakati ezaawanirira ennyumba, n'azeesigamako, omukono gwe ogwa ddyo nga guli ku emu, n'ogwa kkono nga guli ku ndala.
30
Samusooni n'ayogera nti, “Kanfiire wamu n'Abafirisuuti.” N'akutama, n'asindika empagi n'amaanyi ge gonna; ennyumba n'egwa ku bakungu ne ku bantu bonna abaagirimu. Bwe batyo abaafa be yattira mu kufa kwe baali bangi okusinga be yatta nga mulamu.
31
Awo baganda be n'ennyumba yonna eya kitaawe ne batwala omulambo gwe, ne baguziika wakati wa Zola ne Esutaoli ku kiggya kya Manowa kitaawe. Samusooni yalamulira Isiraeri emyaka abiri (20).
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21