bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 3
Judges 3
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 4 →
1
Gano ge mawanga Mukama ge yaleka mu nsi, okugezesa Abaisiraeri bonna abataalaba ku ntalo zonna eza Kanani;
2
ekyo yakikola, nga ky'ayagala, kwe kuyigiriza eby'entalo Abaisiraeri aba buli mulembe, naddala abo abaali tebabeerangako mu lutalo.
3
Amawanga agaalekebwa mu nsi ge gano: abakungu abataano ab'Abafirisuuti, n'Abakanani bonna, n'Abasidoni, n'Abakiivi abaatuulanga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumooni okutuusa awayingirirwa mu Kamasi.
4
Baali bakugezesa Abaisiraeri okulaba oba banaawuliranga ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe nga ayita mu Musa.
5
Abaana ba Isiraeri ne batuula mu Bakanani, Abakiiti, Abamoli, Abaperizi, Abakiivi, ne mu Bayebusi;
6
ne bawasa abakazi mu bantu abo, era ne bafumbizaamu bawala baabwe era ne basinzanga bakatonda baabwe.
7
Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe, ne baaweerezanga Baali ne Asera.
8
Obusungu bwa Mukama ne bubuukira ku Isiraeri, n'abawaayo eri Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya; abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana.
9
Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi Osunieri mutabani wa Kenazi, oyo ye yali muto wa Kalebu.
10
Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku ye, n'alamula Isiraeri. N'agenda mu lutalo, Mukama n'amuwa okuwangula Kusanurisasaimu, kabaka w'a Mesopotamiya.
11
Ensi n'eba n'emirembe okumala emyaka ana (40). Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa.
12
Awo abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama kyeyava awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi n'alwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi.
13
Eguloni n'akuŋŋaanya Abamoni n'Amaleki, nebagenda ne bakuba Isiraeri ne babawambako Yeriko, ekibuga eky'enkindu.
14
Abaana ba Isiraeri ne baweerereza Eguloni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana (18).
15
Nate abaana ba Isiraeri ne baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali ow'enkonokono. Awo abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu.
16
Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze.
17
N'awa Eguloni kabaka wa Mowaabu ekirabo, Eguloni yali musajja munene nnyo.
18
Awo bwe yamala okuwaayo ekirabo, n'alagira abakyettika okuddayo ewaabwe.
19
Naye Ekudi kennyini nakoma ku mayinja agaali okumpi n'e Girugaali, n'addayo eri Eguloni n'amugamba nti, “Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama gyoli Ayi kabaka.” Awo kabaka n'agamba abaweereza be nti, “mutuleke fekka!” Bonna ne bava waali ne bafuluma.
20
Kabaka bwe yali ng'atudde yekka mu kisenge kye ekiweweevu eky'okuwummuliramu ekya waggulu, Ekudi n'ajja gy'ali, n'agamba nti, “Nnina obubaka bwo obuvudde eri Katonda.” Kabaka n'asituka ku ntebe ye.
21
Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto;
22
Ekitala kyonna ne kimubuliramu n'ekiti kyakyo, amasavu ne gazibikira we kiyingiridde. Ekudi teyakisikaamu mu lubuto lwa kabaka, ne kiggukira emabega.
23
Awo Ekudi n'afuluma n'amuggalira mu nju eya waggulu, enzigi n'azisiba.
24
Awo Ekudi bweyagenda, abaddu ba kabaka ne bajja ne balaba ng'ezigi z'ekisenge ekyawaggulu nsibe, ne balowooza nti kabaka mw'ali yeeteewuluzaako mu kasenge akoomunda.
25
Awo bwe balindako akaseera akaweera ne balaba nga taggulawo, kwe kukwata ekisumuluzo ne baggulawo. Ne basanga mukama waabwe ng'agudde wansi afudde.
26
Awo bwe baali nga bakyalindirira, Ekudi n'adduka, n'ayita ku mayinja n'atuuka e Seyiri n'awona.
27
Bwe yatuuka mu nsi ya Efulayimu n'afuuwa ekondeere n'akunga Abaisiraeri. N'abakulembera, ne baserengeta wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi,
28
n'abagamba nti, “Mungoberere; kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe.” Ne bamugoberera, ne bakwata ekifo Abamowaabu we baali abokusomokera omugga Yoludaani, ne bataganya muntu n'omu okusomoka.
29
Ku mulundi ogwo ne batta mu ba Mowaabu abasajja nga omutwalo gumu (10,000), ab'amaanyi era abazira, ne watabaawo awonawo.
30
Ku lunaku olwo Abaisiraeri ne bawangula Mowaabu. Ensi n'ebaamu emirembe okumala emyaka kinaana (80).
31
Omulamuzi eyaddirira yali Samugali mutabani wa Anasi. Naye yanunula Isiraeri, bwe yatta Abafirisuuti lukaaga (600), n'omuwunda ogusoya ente era naye n'alokola Isiraeri.
← Chapter 2
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 4 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21