bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 12
Judges 12
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
1
Abasajja ba Efulayimu ne bategeka olutalo, ne bagenda e Zofani; ne bagamba Yefusa nti, “Lwaki wasomoka n'ogenda okulwana n'abaana ba Amoni, ffe n'ototuyita kugenda naawe? Tujja kukwokera mu nnyumba yo.”
2
Yefusa n'abagamba nti, “Nze n'abantu bange twalina enkayana ey'amaanyi ennyo n'abaana ba Amoni netubayita mmwe naye ne mutajja kutuyamba.
3
Awo bwe nnalaba nga temunnyambye, obulamu bwange ne mbuwaayo ne nsomoka ne ŋŋenda okulwana n'abaana ba Amoni. Mukama n'abagabula mu mukono gwange, kale kiki ekibaleese leero okulwana nange?”
4
Awo Yefusa n'alyoka akuŋŋaanya abasajja bonna ab'e Gireyaadi; ne balwana n'Abaefulayimu, Abagireyaadi ne bawangula aba Efulayimu, kubanga aba Efulayimu bayogeranga nti, “Muli abaatooloka okuva ku Efulayimu, mmwe Abagireyaadi, wakati wa Efulayimu ne Manase.”
5
Aba Gireyaadi ne beekwata ebifo awasomokerwa omugga Yoludaani, awo omuntu yenna avudde mu Efulayimu, bweyayagala nga okusomoka, Abagireyaadi ne bamubuuza nti, “Oli mu Efulayimu?” Bweyaddangamu nti, “Nedda;”
6
ne balyoka bamugamba nti, “Kale yogera Shibbolesi;” n'ayogera nti, “Sibbolesi;” kubanga teyayinza kukyatula bulungi. Ne bamukwata ne bamuttira awasomokerwa Yoludaani. Mu biro ebyo Abaefulayimu mitwalo ena mu enkumi bbiri (42,000) be battibwa.
7
Yefusa Omugireyaadi n'alamulira Isiraeri emyaka mukaaga (6) n'afa, ne bamuziika mu kibuga kye mu Gireyaadi.
8
Awo Yefusa ng'amaze okufa Ibuzaani Omubesirekemu n'alamula Isiraeri.
9
Yalina batabani be asatu (30), ne abawala be asatu (30). Yafumbiza bawalabe asatu (30) mu bika ebirala, n'awasiza batabani be abakazi asatu (30) okuva mu bika ebirala. Yalamulira Isiraeri emyaka musanvu (7).
10
Ibuzaani n'afa, ne bamuziika mu Besirekemu.
11
Ibuzaani bw'eyafa Eroni Omuzebbulooni n'alamulira Isiraeri emyaka kkumi (10).
12
Eroni Omuzebbulooni n'afa, ne bamuziika mu Ayalooni mu nsi ya Zebbulooni.
13
Eroni bw'eyafa Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'alamula Isiraeri.
14
Yalina batabani be ana (40) n'abazzukulu be asatu (30), abeebagalanga ku ndogoyi nsanvu (70). Yalamulira Isiraeri emyaka munaana (8).
15
Abudoni mutabani wa Kireri Omupirasoni n'afa, ne bamuziika mu Pirasoni mu nsi ya Efulayimu, mu kitundu eky'Abamaleki eky'ensozi.
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21