bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 21
Judges 21
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
1
Abasajja ab'ebika ebirala ebya Isiraeri baali balayiridde e Mizupa nga boogera nti, “Tewabanga n'omu ku ffe awaayo muwalawe eri omu Benyamini yenna okumuwasa.”
2
Abantu ne bagenda e Beseri mu maaso ga Mukama, ne babeera eyo okuva enkya okutuusa akawungeezi, ne bayimusa amaloboozi gabwe ne bakaaba nnyo amaziga.
3
Ne boogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isiraeri, kivudde ku ki ekika ekimu okusaanawo mu Isiraeri?”
4
Awo olwatuuka enkya ku makya, abantu ne basituka ne bazimba eyo ekyoto, ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe.
5
Abaana ba Isiraeri ne babuuza nti, “Baani mu bika byonna ebya Isiraeri ataagenda mu lukkuŋŋaana olwali e Mizupa?” Kubanga baali balayidde ekirayiro ekikulu ku oyo yenna ataligenda eri Mukama e Mizupa nga boogera nti, “Talirema kuttibwa.”
6
Abaana ba Isiraeri ne baakwatibwa ekisa olwa Benyamini muganda waabwe ne boogera nti, “Waliwo ekika kimu leero ekyazikirizibwa mu Isiraeri.
7
Tulibalabira tutya abakazi abo abasigaddewo, kubanga twalayira eri Mukama obutabawanga ku bawala baffe okubawasa?”
8
Ne beebuuza nti, “Kika ki mu bika bya Isiraeri ekitaagenda mu lukuŋŋaana lwa Mukama olwali e Mizupa?” Ne bazuula nga mu Yabesugireyaadi temwava muntu eyaagenda mu lukkuŋŋaana lwa Mukama.
9
Kubanga abantu bwe baabalibwa, tewaliiwo n'omu ku abo abaava e Yabesugireyaadi eyagenda mu lukuŋŋaana.
10
Ekibiina ne kitumayo abasajja abazira omutwalo gumu mu enkumi bbiri (12,000) ne babalagira bagende batte n'obwogi bw'ekitala abatuuze bonna, ng'otwaliddemu abakazi n'abaana abato.
11
Na kino kye munaakola; munaazikiririza ddala buli musajja na buli mukazi eyali yeegasse n'omusajja.
12
Ne bazuula mu batuuze ab'omu Yabesugireyaadi abawala embeerera bina (400), ne babatwala mu lusiisira e Siiro mu nsi eya Kanani.
13
Awo ekibiina kyonna ne kitumira abaana ba Benyamini abaali mu jjinja lya Limoni obubaka obw'okukomya olutalo wabeewo emirembe.
14
Mu biro ebyo, Ababenyamini ne bakomawo, aba Isiraeri ab'ebika ebirala ne babawa abawala be bajja e Yabesugireyaadi abattatibwa, naye ne batabamala bonna.
15
Awo abantu ne banakuwala olw'Ababenyamini, olw'okubanga Mukama yali aggyewo obumu mu bika bya Isiraeri.
16
Awo abakadde b'ekibiina ne beebuuza nti, “Abasajja abasigaddewo tunabafunira tutya abakazi, kubanga abakazi bonna ab'Abenyamini bazikirizibbwa?”
17
Ne bagamba nti, “Kigwana okubaawo obusika eri abo abaawonawo mu ba Benyamini, ekika kireme okusaanawo mu Isiraeri.
18
Naye tetuyinza kubawa ku bawala baffe okubawasa,” kubanga abaana ba Isiraeri baali balayidde nga boogera nti, “Akolimirwe oyo awa Benyamini omukazi okuwasa.”
19
Ne bagamba nti, “Laba, waliwo embaga ya Mukama e Siiro, ekiri ku luuyi olw'obukiikakkono olw'e Beseri, ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'oluguudo oluva e Beseri okwambuka e Sekemu, ne ku luuyi olw'obukiikaddyo olw'e Lebona.”
20
Awo ne balagira abaana ba Benyamini nga babagamba nti, “Mugende muteegere mu nsuku ez'emizabbibu;
21
mutunule, bwe munaalaba abawala ab'e Siiro nga bafuluma okuzina mu mizannyo gyaffe, olwo mufubutuke mu nsuku, buli muntu anyage mukazi ku bawala abo ab'e Siiro, mu batwale mu nsi yammwe ey'e Benyamini babeere bakazi bammwe.
22
Awo olulituuka bakitaabwe oba baganda baabwe bwe balijja okuwaaba, tulibagamba nti, ‘Mubatuwe lwa kisa kubanga tetwabanyagako mu lutalo okubafuula bakazi baffe, so nammwe temwababawa kubanga mwalibadde muzzizza omusango.’ ”
23
Awo abaana ba Benyamini ne bakola bwe batyo, ne beenyagira abakazi buli muntu omukazi ku bawala abo abaali bazina, ng'omuwendo gwabwe bwe gwali; abo be baanyaga ne baddayo ku butaka bwabwe, ne bazimba ebibuga, ne batuula omwo.
24
Awo n'ebika ebirala eby'abaana ba Isiraeri ne baddayo buli muntu ku butaka bwe.
25
Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri; buli muntu yakolanga nga bweyayagalanga.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21