bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 2
Judges 2
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
1
Awo malayika wa Mukama n'ava e Girugaali n'agenda e Bokimu. N'ayogera nti, “Nnabaggya mu nsi y'e Misiri, ne mbaleeta mu nsi gye nnalayirira bajjajjammwe; ne njogera nti, ‘sirimenya ndagaano yange gye nnalagaana nammwe,
2
mmwe temulagaananga ndagaano n'abo abatuula mu nsi muno; mumenyemenyenga ebyoto byabwe;’ naye mmwe temuwulidde ddoboozi lyange, kiki ekibakozesa bwe mutyo?
3
Nange kyennava njogera nti Siibagobenga mu maaso gammwe naye banaabanga ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, ne ba katonda baabwe banaabanga kyambika gye muli.”
4
Awo olwatuuka malayika wa Mukama bwe yabuulira abaana ba Isiraeri ebigambo ebyo, abantu ne batema emiranga ne bakaaba amaziga.
5
Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo ssaddaaka eri Mukama.
6
Awo Yoswa bwe yamala okusiibula abantu, abaana ba Isiraeri ne bagenda buli omu mu butaka bwe yagabana.
7
Abantu ne baweerezanga Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaawangaala okusinga Yoswa, abaalaba omulimu gwonna Mukama gwe yakolera Isiraeri.
8
Yoswa omwana wa Nuuni, omuddu wa Mukama, n'afa, nga awangadde emyaka kikumi mu kkumi (110).
9
Ne bamuziika mu butaka bwe e Timunasukeresi, mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, mu bukiikakkono obw'olusozi Gaasi.
10
Era n'ab'omulembe ogwo bonna ne bafa. Ne waddawo ab'omulembe ogwaddirira, abataamanya Mukama, wadde ebyo bye yakolera Isiraeri.
11
Awo abaana ba Isiraeri ne bakola ekibi mu maaso ga Mukama ne baweereza Babaali;
12
Ne bava ku Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ne bagoberera bakatonda abalala ab'amawanga agabeetooloola, ne babavuunamira, ne basunguwaza Mukama.
13
Ne baava ku Mukama ne baweereza Baali ne Asutaloosi,
14
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri, n'abagabula mu mikono gy'abanyazi abaabanyaga, n'aleka abalabe babwe ababeetoolodde ne babawangula. Abaisiraeri nga tebakyasobola kwetaasa.
15
Gye baatabaalanga yonna, omukono gwa Mukama ne gubaleeteranga akabi, nga Mukama bwe yayogera, era nga Mukama bwe yabalayirira; ne beeraliikirira nnyo.
16
Mukama n'ayimusa abalamuzi abaabalokolanga mu mukono gwabo abaabanyaganga,
17
Naye ne batawulira balamuzi baabwe, kubanga tebaali beesigwa, bagoberera bakatonda abalala, ne babavuunamira; ne baakyama mangu okuva mu kkubo bajjajjaabwe lye baatambulirangamu, nga bawulira ebiragiro bya Mukama; naye bo tebaakola bwe batyo.
18
Buli Mukama lwe yabayimusizanga abalamuzi, Mukama n'abanga n'omulamuzi oyo, n'abawonyanga abalabe baabwe ebbanga lyonna omulamuzi oyo lye yamalanga nga mulamu; kubanga Mukama yabakwatiranga ekisa olw'okusinda kwabwe olw'abo ababeeraliikirizanga.
19
Naye omulamuzi bwe yafanga, abantu baddanga mu bibi byabwe eby'edda nga bakola bubi n'okusinga bajjajjaabwe, nga bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n'okubavuunamira; tebaakendeezanga ku bikolwa byabwe wadde okulekayo empisa zaabwe embi.
20
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isiraeri; n'agamba nti, “eggwanga lino limenye endagaano gye nnalagaana ne bajjajjaabwe, tebakyampulira;
21
nange okuva leero sikyagobyemu mu nsi mawanga Yoswa ge yalekamu weyafiira,
22
ndyoke ngezese Isiraeri nga mpita mu mawanga ago ndabe oba banaakwatanga amakkubo gange nga bajjajjaabwe bwe bakola oba tebagakwatanga.”
23
N'olw'ekyo Mukama n'aleka ab'amawanga ag'omu nsi eyo, era teyaganya Yoswa kubawangula.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21