bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 20
Judges 20
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
1
Awo abaana ba Isiraeri bonna ne balyoka bafuluma, ekibiina ne kikuŋŋaana ng'omuntu omu, okuva ku Ddaani okutuuka ku Beeruseba, wamu n'ensi y'e Gireyaadi, eri Mukama e Mizupa.
2
Abakulembeze b'abantu bonna, ab'ebika byonna ebya Isiraeri, ne beeraga mu kkuŋŋaaniro ly'abantu ba Katonda, abasajja abalwanyisa ebitala abatambuza ebigere obusiriivu buna (400,000).
3
Era ab'ekika kya Benyamini ne bawulira nga ebika bya Isiraeri ebirala bakuŋŋaanidde e Mizupa. Abaana ba Isiraeri ne babuuza Omuleevi nti, “Obubi buno bwakolebwa butya?”
4
Awo Omuleevi bba w'omukazi gwe batta, n'addamu n'ayogera nti, “N'atuuka e Gibea, ekya Benyamini, nga ndi ne mukazi wange, okusulayo.
5
Abasajja ab'e Gibea ne bangolokokerako, ne bazingiza ekiro ekyo enjuyi zonna; baali baagala okunzita, ne mukazi wange ne bamukwata ne bamusobyako n'afa.
6
Ne ntwala omulambo gwa mukazi wange nnengusalaasalamu ebitundu, ne mbiweereza okubunya ensi yonna ey'obusika bwa Isiraeri; kubanga baakola eby'obugwenyufu mu Isiraeri.
7
Kale mwenna abaana ba Isiraeri, muleete amagezi gammwe muteese tulabe eky'okukola.”
8
Abantu bonna ne basituka ng'omuntu omu nga boogera nti, “Tewali n'omu ku ffe ajja kuddayo mu weema ye oba nju ye.
9
Kino kyetunakola, tujja kukuba akalulu; tulyoke tugende tulwanyise Gibea;
10
Ekimu eky'ekkumi ku basajja mu Isiraeri kijja kusakira eggye emmere, abalala bonna bagende babonereze Gibea ekya Benyamini, olw'ekikolwa kino eky'obugwenyufu, kye baakola mu Isiraeri.”
11
Awo abasajja bonna ab'omu Isiraeri ne bakuŋŋaana ng'omuntu omu okulumba ekibuga.
12
Awo ebika bya Isiraeri ne batuma ababaka okubuna ekitundu kyonna ekya Benyamini; babuuze nti, “Bubi ki obwo bwe mwakola?
13
Kale kaakano muweeyo abasajja abo abagwenyufu abali mu Gibea tubatte, tulyoke tuggyewo obubi mu Isiraeri.” Naye ab'ekika kya Benyamini nebagaana okuwulira ab'ebika bya Isiraeri abalala kye babagamba.
14
Awo ab'ekika kya Benyamini ne bava mu bibuga ne bakuŋŋaanira e Gibea, okugenda okulwanyisa ebika ebirala ebya Isiraeri.
15
Ku lunaku olwo ab'ekika kya Benyamini ne bakuŋŋaanya abalwanyisanga ebitala emitwalo ebiri mu kakaaga (26,000), okuva mu bibuga ebirala okwongereza kw'abo olusanvu (700) abalondemu abaali mu Gibea.
16
Mu bantu bano bonna mwalimu abasajja lusanvu (700) abalondemu ab'enkonokono, abaalwanyisanga envumulo nga tebasubwa.
17
Ebika bya Isiraeri ebirala ne bakuŋŋaanya abasajja abazira abaalwanyisanga ebitala obusiriivu buna (400,000).
18
Abaana ba Isiraeri ne basituka ne bagenda e Beseri ne babuuza Katonda, “Ani ku ffe anaasooka okugenda okulwanyisa Benyamini.” Mukama n'abagamba nti, “Yuda ye alisooka.”
19
Abaana ba Isiraeri ne basituka enkya, ne basiisira okumpi ne Gibea.
20
Abasajja ba Isiraeri ne bafuluma okulwana ne Benyamini; abasajja ba Isiraeri ne basimba ennyiriri okulwanira nabo e Gibea.
21
Awo abalwanyi ba Benyamini ne bava mu Gibea ne balumba ne batta ku lunaku olwo abasajja abalwanyi ba Isiraeri emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000).
22
Awo eggye lya baana ba Isiraeri ne bataterebuka, ne baddamu ne basimba ennyiriri mu kifo mwe baali bazisimbidde ku lunaku olwasooka.
23
Era abaana ba Isiraeri ne baakabira amaziga mu maaso ga Mukama okutuusa akawungeezi. Ne bamubuuza nti, “Tugende nate okulwanyisa baganda baffe ab'ekika kya Benyamini.” Mukama n'addamu nti, “Mugende mulwane nabo.”
24
Awo abaana ba Isiraeri ne basembera okulwana n'abaana ba Benyamini ku lunaku olwokubiri.
25
Ab'ekika kya Benyamini ne bava mu Gibea okujja okulwana nabo olunaku olwokubiri; ne batta nate abasajja ba Isiraeri abalwanyisanga ebitala, abasajja omutwalo gumu mu kanaana (18,000).
26
Eggye ly'abaana ba Isiraeri n'abantu bonna ne bambuka e Beseri ne bakaabira eyo amaziga ne basiiba ku lunaku olwo okutuuka akawungeezi; ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe mu maaso ga Mukama.
27
Abaana ba Isiraeri ne babuuza Mukama, ne ssanduuko ey'endagaano eya Katonda yali Beseri mu nnaku ezo,
28
ne Finekaasi mutabani wa Eriyazaali muzzukulu wa Alooni ye yagirabiriranga; ne babuuza Mukama nti, “Tugende tulwanyise baganda baffe ab'ekika kya Benyamini omulundi ogwokusatu oba nedda?” Mukama n'addamu nti, “Mugende mulwane, kubanga enkya n'abagabula mu mikono ggyammwe.”
29
Awo Isiraeri n'assaawo abateezi okuteega Gibea enjuyi zonna.
30
Awo abaana ba Isiraeri ne bambuka okulwana n'ab'ekika kya Benyamini ku lunaku olwokusatu (3), ne basimba ennyiriri zaabwe nga boolekedde Gibea ng'olulala.
31
Ab'ekika kya Benyamini ne bafuluma okulwanyisa Abaisiraeri ab'ebika ebirala, ne basendebwasendebwa okufuluma mu kibuga; ne battira abalwanyi aba Isiraeri nga asatu (30) ku luguudo olugenda e Beseri, n'olulala olugenda e Gibea, ne mu nnimiro.
32
Ab'ekika kya Benyamini ne boogera nti, “Tubawangudde nga olulala.” Naye ab'ebika bya Isiraeri ebirala ne bagamba nti, “ Tudduke, tubasendesende okuva ku kibuga bagende mu nguudo.”
33
Abasajja abalwanyi ab'ebika bya Isiraeri ebirala byonna, ne basituka ne bava mu bifo byabwe, ne basimba ennyiriri zaabwe e Baalutamali; n'abateezi ba Isiraeri ne bafubutuka okuva mu kifo kyabwe e Maalegeba.
34
Abasajja abalwanyi omutwalo gumu (10,000) abaalondebwa mu bika bya Isiraeri ebirala byonna ne balumba Gibea. Ne balwana nnyo. Naye ab'ekika kya Benyamini baali tebamanyi ng'akabi kabali kumpi.
35
Mukama naawa ab'ebika ebirala ebya Isiraeri okuwangula ekika kya Benyamini, ne babattamu abalwanyisa ebitala emitwalo ebiri mu enkumi ttaano mu kikumi (25,100).
36
Awo ab'ekika kya Benyamini ne bamanya nga bawanguddwa, Abaisiraeri nga bwe baawangulwa. Abasajja abalwanyi aba Isiraeri baasegulira Benyamini kubanga bali beesize abateezi be bali bateezezza e Gibea.
37
Awo abateezi bano bayanguwa mangu nga bava ku njuuyi zonna okuyingira mu kibuga Gibea, ne batta abantu bonna abalimu n'obwogi bwe kitala.
38
Abalwanyi ab'ebika ebirala eby'Abaisiraeri n'abateezi baabwe baali balagaanye akabonero kano nti abateezi bwe bananyoosa omukka omungi mu kibuga,
39
nga abalwanyi ab'ebika ebirala ebya Isiraeri nga bakyuka. Olwo ab'ekika kya Benyamini baali bamaze okutta Abaisiraeri ng'asatu (30). Ne bagambagana nti, “Tubawangudde, nga bwe twakola mu kulwanagana okwasooka.”
40
Naye olwo akabonero ne kalabika. Ekire ky'omukka ekiri ng'empagi ne kinyooka okuva mu kibuga okutuuka ku ggulu. Ab'ekika kya Benyamini bwe bakyuka okutunula emabega, ne balaba ekibuga kyonna nga kiggya.
41
Awo abasajja ba Isiraeri ne bakyuka, abasajja ba Benyamini ne bawuniikirira, kubanga baalaba ng'akabi kabatuuseeko.
42
Awo abalwanyi ab'ekika kya Benyamini ne bakyuka ne baddukira mu kkubo eridda mu ddungu; ne ggye lya ba Isiraeri ab'ebika ebirala ne babawondera, n'abateezi abava mu kibuga ne babazikiririza wakati awo.
43
Aba Isiraeri ab'ebika ebirala ne bazingiza ab'ekika kya Benyamini enjuyi zonna, ne babattira ddala okutuuka e Gibea ku luuyi olw'ebuvanjuba.
44
Mu kika kya Benyamini ne mufaamu abalwanyi abazira omutwalo gumu mu kanaana (18,000)
45
Abaafikkawo ne baddukira mu kkubo ery'e ddungu okutuuka ku jjinja lya Limoni; eggye ly'ebika ebirala ebya Isiraeri ne libawondera ne babattamu abalwanyi enkumi ttaano (5,000), neriwondera nabo abaali baddukidde e Gidomu ne libattamu abalwanyi enkumi bbiri (2,000).
46
Bwe batyo abalwanyi abaafa okuva mu kika kya Benyamini baali emitwalo ebiri mu enkumi ttaano (25,000), bonna abo nga basajja bazira.
47
Naye abasajja abalwanyi abalala ab'omu kika kya Benyamini lukaaga (600) ne baddukira mu kkubo ery'e ddungu ne baatuka ku jjinja lya Limoni, ne beekweka eyo okumala emyezi ena (4).
48
Abalwanyi ab'ebika ebirala ebya Isiraeri ne bakyukira ab'ekika kya Benyamini ne babatta bonna; abasajja, abakazi, abaana ne nsolo. Ne bookya ebibuga byabwe byonna mu kitundu ekyo.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21