bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 6
Judges 6
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
1
Awo abaana ba Isiraeri ne baddamu nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abagabula eri Abamidiyaani ne babafugira emyaka musanvu (7).
2
Abamidiyaani ne banyigiriza nnyo Abaisiraeri; abaana ba Isiraeri kyebaava beekolera obuyu ku nsozi okwekwekamu era n'ebekwekanga ne mu mpuku ne mu bifo ebyekusifu.
3
Kubanga Abaisiraeri buli lwe baamalanga okusiga, Abamidiyaani n'Abamaleki n'abatuuze b'omu Buvanjuba baasitukiranga wamu ne babalumba.
4
Baabazindanga ne bazikiriza ebirime byabwe, okutuukira ddala okumpi n'e Gaaza, ne batalekangawo kya kulya mu Isiraeri, wadde endiga oba ente oba endogoyi.
5
Bajjanga n'ente zaabwe n'eweema zaabwe, nga bali ng'enzige ezitabalika obungi, bo bennyini n'eŋŋamira zaabwe, ne bayingira mu nsi, ne bagizikiriza.
6
Isiraeri n'ajeezebwa nnyo Abamidiyaani; abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama.
7
Awo abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama olwa Midiyaani,
8
Mukama n'atuma nnabbi eri abaana ba Isiraeri n'abagamba nti, “Mukama, Katonda wa Isiraeri agamba nti, nnabaggya mu Misiri gye mwali mufugibwa obuddu;
9
era n'abawonya obuyinza, bw'Abamisiri n'obuyinza obwabo bonna ababajogeranga mu nsi eno mwe muli, ne mbagoba mu maaso gammwe, ne mbawa ensi yaabwe;
10
ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe; temusinzanga bakatonda b'Abamoli ba nannyini nsi gyemutulamu,’ naye ne mutawulira ddoboozi lyange.”
11
Malayika wa Mukama n'ajja, n'atuula wansi w'omwera ogwa Yowaasi Omwabiezeri: Gidyoni mutabani we yali mussogolero nga awuula eŋŋaano agikise Abamidiyaani.
12
Malayika wa Mukama n'amulabikira, n'amugamba nti, “Mukama ali wamu naawe, ggwe omusajja ow'amaanyi omuzira.”
13
Gidyoni n'amugamba nti, “Mukama wange, oba Mukama ali wamu naffe, kale lwaki tutuukibwako bino byonna? Era eby'amagero byeyakolanga bajjajjaffe bwe batunyumizanga nti, ‘Mukama yabagya mu Misiri biri ludda wa?’ ” Naye kaakano Mukama atusudde, atugabudde mu mukono gwa Midiyaani.
14
Mukama n'amutunuulira n'ayogera nti, “Genda n'amaanyi go gano, olokole Isiraeri mu mukono gwa Midiyaani; si nze nkutumye?”
15
N'amugamba nti, “Ayi Mukama wange, Isiraeri ndimulokola ntya? Kubanga baganda bange be basinga okuba abanafu mu Manase, nange nze nsinga obuto mu nnyumba ya kitange.”
16
Mukama n'amugamba nti, “Mazima ndibeera wamu naawe, era olyanguyirwa okuwangula Abamidiyaani ng'awangula omuntu omu.”
17
N'amugamba nti, “Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, kale ndaga akabonero nga ggwe wuuyo ayogera nange.
18
Nkwegayiridde tova wano, mmale okukuleetera ekirabo.” N'agamba nti, “Nja kubeera wano okutuusa lw'onookomawo.”
19
Gidyoni n'ayingira, n'ateekateeka omwana gw'embuzi, n'emigaati egitazimbulukuswa ne efa ey'obutta; ennyama n'agiteeka mu kibbo, omucuuzi gwayo n'aguteeka mu kibya, n'abimuleetera wansi w'omwera, n'abimuwa.
20
Malayika wa Mukama n'amugamba nti, “Ddira ennyama n'emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino, obifukeko omucuuzi gw'ennyama.” N'akola bw'atyo.
21
Awo malayika wa Mukama n'agolola ekikolo ky'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa; omuliro ne guva mu jjinja ne gwokya ennyama n'emigaati; malayika wa Mukama n'abulawo.
22
Gidyoni n'amanya nga gw'alabye abadde malayika wa Mukama, n'agamba nti, “Zinsanze, ayi Mukama, Katonda, kubanga ndabye malayika wo maaso na maaso!”
23
Mukama n'amugamba nti, “Emirembe gibe gy'oli; totya: tojja kufa.”
24
Gidyoni n'azimbira Mukama ekyoto mu Ofula eky'Ababiezeri n'akituuma erinnya Yakuwasalumu; n'okutuusa leero kikyaliyo.
25
Mu kiro ekyo, malayika wa Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Kwata ente endala ennume ey'emyaka omusanvu (7), omenyewo ekyoto, kitaawo kye yazimbira Baali, otemeeteme n'empagi ya Asera eri okumpi nakyo.
26
Ozimbire Mukama Katonda wo ekyoto waggulu ku kigo kino, ng'okozesa amayinja agatereezeddwa obulungi. Oddire ente eyo eyokubiri, oweeyo ekiweebwayo ekyokebwa n'omuti gwa Asera gw'onootemaatema.”
27
Awo Gidyoni n'atwala abasajja kkumi (10), ku baddu be, n'akola nga Mukama bw'amulagidde; naye olw'okutya ab'ennyumba ya kitaawe n'abasajja ob'omukibuga, n'atayinza kukola bw'atyo emisana, kyeyava akikola ekiro.
28
Abasajja ab'omu kibuga bwe baagolokoka enkya mu makya, laba ekyoto kya Baali nga kimenyesemenyese, ne Asera akibadde okumpi ng'atemeddwatemeddwa, n'ente eyo eyokubiri ng'eweereddwayo ku kyoto ekizimbiddwa.
29
Ne beebuzaganya nti, “Ani akoze kino?” Awo bwe baabuuliriza era ne bakemereza, ne boogera nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi ye y'akikoze.”
30
Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Fulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyemenye ekyoto kya Baali, era kubanga atemyetemye Asera akibadde okumpi.”
31
Yowaasi n'agamba bonna abaamulumba nti, “Mwagala kuwolereza Baali oba mwagala kumulwanirira? Ayagala okumuwolereza wakuttibwa nga bukyali bwankya; oba nga ye Katonda yeewolereze, kubanga bamenyeemenye ekyoto kye.”
32
Okuva olwo Gidyoni n'ayitibwa Yerubbaali, kubanga Yowaasi yagamba nti, “Baali yeewolereze kubanga ekyoto kye kyebamenye.”
33
Awo Abamidiyaani bonna n'Abamaleki n'abatuuze ab'ebuvanjuba ne bakuŋŋaana wamu; ne basomoka omugga Yoludaani, ne basiisira mu kiwonvu eky'e Yezuleeri.
34
Omwoyo gwa Mukama ne gujja ku Gidyoni; n'afuuwa ekkondeere; Ababiezeri n'ebajja gy'ali.
35
N'atuma ababaka okubuna Manase yonna; era nabo ne bajja gy'ali. N'atuma ababaka eri Aseri, Zebbulooni ne Nafutaali nabo ne bajja gyali.
36
Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Oba nga olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera,
37
laba bwe n'ateeka ebyoya by'endiga mu gguuliro; omusulo ne guba ku byoya byokka ng'ettaka lyonna kkalu, ne ndyoka mmanya ng'olirokola Isiraeri n'omukono gwange, nga bwe wayogera.”
38
Awo bwe kyali bwe kityo. Awo Gidyoni bw'eyagolokoka enkya ku makya n'akamula ebyoya by'endiga ne muvaamu amazzi agajjuza ekibya.
39
Gidyoni n'agamba Katonda nti, “Obusungu bwo buleme okumbuubuukirako, leka njogereyo omulundi gumu gwokka. Nzikiriza ngezese ebyoya by'endiga omulundi gumu gwokka, ku mulundi guno, ebyoya by'endiga bibe bikalu, ettaka lye liba litoba omusulo.”
40
Ekiro ekyo, Katonda n'akola bw'atyo. Enkeera ku makya ebyoya by'endiga byokka bye byali ebikalu, ettaka lyonna nga lye litobye omusulo.
← Chapter 5
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 7 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21