bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 18
Judges 18
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
1
Mu biseera ebyo, tewaali kabaka mu Isiraeri; ne mu nnaku ezo ekika kya Daani bali beenoonyeza obutaka obw'okutuulamu; kubanga okutuusa mu kiseera ekyo, obusika bwabwe baali tebannabuweebwa mu bika bya Isiraeri.
2
Awo abaana ba Ddaani ne berondamu abasajja bataano abazira okuva e Zola ne mu Esutaoli, ne babatuma bagende bakette ensi n'okugikebera. Awo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, eri ennyumba ya Mikka, ne basula omwo.
3
Bwe baali bali eyo mu nnyumba ya Mikka, ne bawulira eddoboozi ery'omuvubuka Omuleevi; ne bamuzza ku bbali ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki mu kifo kino? Era kiki ky'olina wano?”
4
N'abaddamu nti, “Twategeragana ne Mikka ansasulenga empeera mbeere kabona we.”
5
Ne bamugamba nti, “Buuza Katonda atutegeeze oba nga olugendo lwaffe lwe tugenda luliba n'omukisa.”
6
Kabona n'abagamba nti, “Mugende mirembe, olugendo lwammwe Mukama alukkiriza.”
7
Abasajja abo abataano ne balyoka bagenda ne batuuka e Layisi, ne balaba abantu bayo nga batudde mirembe okufaanana nga ab'e Sidoni, nga basirise nga tebalina ky'ebekengeera kyonna, nga tewali abatataganya era nga balina byonna bye beetaaga. Baali wala n'ab'e Sidoni ate nga tebalina bantu balala bonna bebakolagana nabo.
8
Awo abasajja abataano ne baddayo eri baganda baabwe ab'e Zola ne Esutaoli, ne bababuuza nti, “Muleese mawulire ki?”
9
Ne baddamu nti, “Musituke tugende tubalwanyise kubanga ensi tugirabye nga nnungi nnyo. Kale laba munaaberawo nga temulina kye mukoze? Temugayaala mwanguwe mugende mugiwambe.
10
Bwe munatuukayo mujja kusanga abantu abatalina kyebekengeera, ensi ngazi era erimu buli kintu omuntu kyeyetaaga. Katonda amaze okugigabula mu mukono gwammwe.”
11
Awo abasajja abalwanyi lukaaga (600), nga balina eby'okulwanyisa ab'omu kika kya Daani, ne bava e Zola ne Esutaoli,
12
ne bambuka ne basiisira e Kiriyasuyalimu mu Yuda, ekifo ekyo kyebaava bakiyita Makanedani okutuusa ne leero; kiri mabega wa Kiriyasuyalimu.
13
Ne bavaayo ne batuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, ne bagenda ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.
14
Awo abasajja bali abataano (5) abaagenda okuketta ensi ey'e Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi mu nnyumba muno bwe mulimu ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekyole n'ekisaanuuse? Kale nno kaakati mulowooze kye musaanira okukola.”
15
Awo ne bayingira mu nnyumba ya Mikka, omuvubuka Omuleevi mwe yabeeranga, ne bamubuuza nga bw'ali.
16
N'abasajja bali olukaaga (600), abalwanyi abeesiba eby'okulwanyisa ab'omu kika kya Ddaani baali bayimiridde ku mulyango ogwa wankaaki.
17
N'abasajja bali abataano (5) abaagenda okuketta ne bagenda ne bayingira mu nnyumba ne baggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi, n'ekifaananyi ekisaanuuse, naye ye kabona yali ayimiridde ku mulyango ogwa wankaaki wamu n'abasajja olukaaga (600), abaalina eby'okulwanyisa.
18
N'abasajja bali abataano (5) bwe baayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole n'ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekisaanuuse, kabona kwe kubabuuza nti, “Mukola ki?”
19
Awo ne baddamu nti, “Sirika, teeka engalo zo ku mumwa, ogende naffe obeere kabona waffe, tekisinga okuba kabona ow'ekika ky'abaana ba Isiraeri ekirondemu mu kifo ky'okuba kabona ow'ennyumba ey'omuntu omu?”
20
Awo kabona n'asanyuka, n'atwala ekkanzu ey'obwakabona ne baterafi n'ekifaananyi ekyole, n'agenda nabo.
21
Awo ne bakyuka ne bagenda nga bakulembezzamu abaana abato n'ensolo n'ebintu.
22
Bwe baali batambuddeko olugendo oluwanvu okuva ku nnyumba ya Mikka, Mikka ne baliraanwa be ne bakuŋŋaana ne babawondera ne batuuka ku baana ab'ekika kya Ddaani;
23
ne babakoowoola. Ab'omu kika kya Ddaani ne bakyuka ne batunula emabega, ne bagamba Mikka nti, “Obadde otya okujja n'ekibiina ekinene bw'ekityo?”
24
Mikka n'abaddamu nti, “Mututte bakatonda bange be nnakola ne kabona wange ne mugenda naye, kati nze nsigazza ki? Lwaki mumbuuza nti, Obadde otya?”
25
Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Eddoboozi lyo lireme okuwulirwa mu ffe, abasajja bano bakambwe baleme okukulumba ne bakutta ggwe n'ab'omu nnyumba yo.”
26
Abaana ba Ddaani ne beetambulira; awo Mikka bwe yalaba nga bamusinza amaanyi n'akyuka n'addayo mu nnyumba ye.
27
Ne batwala ebyo Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi, eri abantu abaali basirise nga bali mu mirembe, ne babatta n'obwogi bw'ekitala; ekibuga ne bakyokya omuliro.
28
Tewaaliwo bajja kubataasa, kubanga Layisi kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu, nga kyesudde nnyo Sidoni, ate ng'abaayo tewali bantu balala be bakolagana nabo. Ab'omu kika kya Daani ne bazimba buggya ekibuga, ne babeera omwo.
29
Erinnya ly'ekibuga edda eryali Layisi, balikyusa ne bakituuma Ddaani mutabani wa Yakobo, jjajjaabwe.
30
Awo abaana ba Ddaani ne beesimbira ekifaananyi kiri ekyole, ne Yonasaani, mutabani wa Gerusomu era muzzukulu wa Musa ye, ne batabani be ne babeera bakabona b'ekika kya Daani okutuusa ku lunaku ensi lwe yanyagirwako.
31
Awo ab'ekika kya Daani ne beesimbira ekifaananyi ekyole Mikka kye yakola, ennaku zonna ennyumba ya Katonda ng'ekyali mu Siiro.
← Chapter 17
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 19 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21