bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 11
Judges 11
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
1
Yefusa Omugireyaadi yali musajja wa maanyi era omuzira, omwana w'omukazi omwenzi, kitaawe nga ye Gireyaadi.
2
Gireyaadi yalina mukazi we eyamuzaalira abaana abalenzi abalala; abalenzi abo bwe bakula, ne bagoba Yefusa awaka, nga bagamba nti, “Tolisika mu nnyumba ya kitaffe; kubanga gw'oli mwana wa mukazi mulala.”
3
Awo Yefusa n'alyoka adduka baganda be, n'abeera mu nsi ye Tobu, abasajja abalalulalu ne begatta ne Yefusa ne batabaalanga naye.
4
Awo olwatuuka ekiseera bwe kyayitawo abaana ba Amoni ne balwana ne Isiraeri.
5
Awo olwatuuka abaana ba Amoni bwe baalwana ne Isiraeri, abakadde ab'e Gireyaadi ne bagenda okukima Yefusa okumuggya mu nsi ye Tobu;
6
ne bagamba Yefusa nti, “Jjangu otukulembere, tulwanyise abaana ba Amoni.”
7
Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Temwankyawa ne mungoba mu nnyumba ya kitange? Kiki ekibaleese gye ndi kaakano nga mutuuse mu buzibu?”
8
Abakadde ab'e Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Kyetuvudde tujja gyoli, ogende naffe tulwanyise abaana ba Amoni, era oliba mufuzi w'abantu bonna mu Gireyaadi.”
9
Yefusa n'agamba abakadde ab'e Gireyaadi nti, “Bwe munanzizaayo ewaffe okulwanyisa abaana ba Amoni, Mukama n'abagabula mu mukono gwange ne mbawangula; ndiba mufuzi wammwe.”
10
Abakadde be Gireyaadi ne bagamba Yefusa nti, “Tukkiriza Mukama ye mujulirwa wakati waffe naawe.”
11
Awo Yefusa n'alyoka agenda n'abakadde ab'e Gireyaadi, abantu ne bamufuula omukulu waabwe abafuga; Yefusa n'agenda e Mizupa n'ategeeza Mukama ebigambo ebyo byonna.
12
Awo Yefusa n'atuma ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni n'amubuuza nti, “Onvunaana ki? Lwaki ozze okulwanyisa ensi yange?”
13
Kabaka w'abaana ba Amoni n'addamu ababaka ba Yefusa nti, “Kubanga Isiraeri bweyava mu Misiri yatwala ensi yange, okuva ku Alunoni okutuuka ku Yabboki ne ku Yoludaani, kale kaakano munzirize ensi yange mu mirembe.”
14
Yefusa n'atuma nate ababaka eri kabaka w'abaana ba Amoni,
15
n'abagamba nti, “Isiraeri tenyaganga nsi ya Mowaabu, newakubadde ensi y'abaana ba Amoni,
16
Isiraeri bweyava e Misiri, yayita mu ddungu okutuuka ku Nnyanja Emmyufu, naggukira e Kadesi;
17
Awo Isiraeri n'atuma ababaka eri kabaka wa Edomu ng'ayogera nti, ‘Nkwegayiridde, ka mpite mu nsi yo;’ naye kabaka wa Edomu n'atayinza kuwulira. Era n'atumira bw'atyo ne kabaka wa Mowaabu, naye n'atakkiriza, Isiraeri n'atuula mu Kadesi.
18
Isiraeri n'alyoka akwata ekkubo ery'omu ddungu ne yeetooloola. Ensi ya Edomu n'ensi ya Mowaabu, n'atuuka ku luuyi lw'ensi ya Mowaabu olw'ebuvanjuba, n'asiisira emitala w'omugga Alunoni; naye ne batatuuka mu nsalo ya Mowaabu, kubanga Alunoni gwali nsalo ya Mowaabu.
19
Era Isiraeri n'atuma ababaka eri Sikoni kabaka w'Abamoli eyatuulanga e Kesuboni; Isiraeri n'amugamba nti, ‘Tukwegayiridde tukkirize tuyite mu nsi yo tugende mu kifo kyaffe.’
20
Naye Sikoni n'ateesiga Isiraeri kuyita mu nsi ye; n'akuŋŋaanya abantu be bonna n'asiisira mu Yakazi okulwana ne Isiraeri.
21
Mukama, Katonda wa Isiraeri, n'agabula Sikoni n'abantu be bonna mu mukono gwa Isiraeri, ne babatta; Isiraeri n'alyoka atwala ensi yonna ey'Abamoli ne bagituulamu.
22
Ne batwala ensi yonna ey'Abamoli, okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yabboki, era n'okuva mu ddungu okutuuka ku Yoludaani.
23
Kale kaakano Mukama Katonda wa Isiraeri, ye yagobamu Abamoli n'agiwa Isiraeri, ate kaakano ggwe oyagala kugyediza?
24
Sigaza ekyo Katonda wo Kemosi ky'eyakuwa, naffe tugenda kukuuma ekyo Mukama Katonda waffe kyeyatuwa.
25
Olowooza ggwe osinga Balaki mutabani wa Zipoli kabaka wa Mowaabu? Yali awakanyeeko ne Isiraeri oba yali alwanyeeko nabo?
26
Isiraeri yamala emyaka bisatu (300) mu Kesuboni n'ebyalo byakyo, mu Aloweri n'ebyalo byakyo, ne mu bibuga byonna ebiri ku mabbali g'omugga Alunoni; kale kiki ekyabalobera okubyeddiza mu kiseera ekyo?
27
Nze sikwonoonangako nakatono, naye ggwe onsosokereza okulwana nange; Mukama, Omulamuzi, alamule leero wakati w'abaana ba Isiraeri n'abaana ba Amoni.”
28
Naye kabaka w'abaana ba Amoni n'atawulira bigambo bya Yefusa bye yamutumira.
29
Awo omwoyo gwa Mukama ne gulyoka gujja ku Yefusa, n'ayita mu Gireyaadi ne Manase, n'atuuka mu Mizupe eky'omu Gireyaadi, gye yava n'agenda eri abaana ba Amoni.
30
Yefusa ne yeeyama eri Mukama obweyamo n'agamba nti “Bwolimpa obuwanguzi eri abaana ba Amoni,
31
ne nkomawo emirembe, omuntu yenna alisooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana, ndimuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama.”
32
Awo Yefusa n'agenda n'alwana n'abaana ba Amoni; Mukama n'abagabula mu mukono gwe.
33
N'abakuba okuva ku Aloweri okutuuka ku miriraano gye Minnisi, bye bibuga abiri (20), n'okutuukira ddala ku Aberukeramimu, n'atta abantu bangi nnyo. Bwe batyo abaana ba Amoni bwe bawangulwa aba Isiraeri.
34
Yefusa n'addayo e Mizupa mu makage, laba muwala we n'afuluma okumusisinkana ng'akuba ebitaasa era nga bwazina; era ye yali omwana we omu yekka; teyalina mwana wa bulenzi newakubadde ow'obuwala omulala.
35
Awo olwatuuka Yefusa bwe yalaba muwalawe, n'ayuzaayuza engoye ze, n'agamba nti, “Zinsanze muwala wange, onnakuwazizza era onneeraliikiriza nnyo! kubanga nneyama obweyamo eri Mukama siyinza kubumenyawo.”
36
Muwalawe n'amugamba nti, “Kitange, oba nga weeyama obweyamo eri Mukama, kale nkola ng'ekigambo ekyava mu kamwa ko bwe kyali; kubanga Mukama yakuwalanyizza eggwanga ku balabe bo, abaana ba Amoni.”
37
N'agamba kitaawe nti, “Nkusaba onkoleere kino kyokka; mpaayo emyezi ebiri, ŋŋende ne bannange ku nsozi nkungubagire eyo olw'okufa nga simanyi musajja.”
38
Kitaawe n'amugamba nti, “Genda.” N'amusiibula amale emyezi ebiri, ye ne banne nga bali mu nsozi nga akungubagira eyo olw'okufa nga tamanyi musajja.
39
Emyezi ebiri bwe gyaggwaako, omuwala n'adda eri kitaawe. Kitaawe n'akola nga bwe yeeyama eri Mukama, omuwala n'afa nga tamanyi musajja.
40
Eno ye yali entandikwa ye mpisa mu Isiraeri, abawala ba Isiraeri okugendanga buli mwaka ne bamala ennaku nnya nga bajjukira muwala wa Yefusa Omugireyaadi.
← Chapter 10
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 12 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21