bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 7
Judges 7
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
1
Awo Yerubbaali, ye Gidyoni, n'abantu bonna abaali naye, ne bagolokoka ku makya, ne basiisira ku luzzi Kalodi; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali mu kiwonvu ku luuyi lwabwe olw'obukiikakkono ku mabbali g'olusozi Mole.
2
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu abali naawe bayitiridde obungi nze okuwa okuwangula Abamidiyaani, kubanga Abaisiraeri bayinza okunneenyumiririzaako nga bagamba nti, ‘bawangudde lwa maanyi gaabwe.’
3
Kale nno kaakano langirira mu bantu nti, ‘Buli atya era akankana, addeyo ewaabwe, ave ku lusozi Gireyaadi.’ ” Awo abantu emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000) ne baddayo ewaabwe, abantu omutwalo gumu (10,000) ne basigala.
4
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Abantu bakyali bangi; baserengese ku mazzi nange n'abakugeresezza eyo; awo olunaatuuka, eyo gwe nnaakugamba nti, ‘anaagenda naawe,’ ye anaagenda naawe; n'oyo gwe nnaakugamba nti, ‘taagende naawe,’ era taagende naawe.”
5
Gidyoni n'aserengesa abantu ku mazzi. Mukama n'amugamba nti, “Buli anaakomba amazzi n'olulimi lwe ng'embwa bw'ekomba, mwawule ku buli anaafukamira ku maviivi ge okunywa amazzi.”
6
N'omuwendo gw'abo abaakomba n'olulimi, nga batadde engalo ku mumwa, baali abasajja bisatu (300), naye abantu abalala bonna ne bafukamira ku maviivi gaabwe okunywa amazzi.
7
Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Nnaabalokola n'abasajja bisatu (300) abaakombye n'olulimi, ne ngabula Abamidiyaani mu mukono gwo; naye abantu abalala bonna beddireyo ewaabwe.”
8
Gidyoni n'asindika Abaisiraeri bonna baddeyo ewaabwe, okuggyako ebisatu (300), be yasigala nabo, ne basigaza eby'okulya byonna n'eŋŋombe; n'olusiisira lwa Midiyaani lwali wansi mu kiwonvu.
9
Ekiro ekyo, Mukama n'agamba Gidyoni nti, “Golokoka olumbe olusiisira; kubanga ndugabudde mu mukono gwo.
10
Naye oba ng'otidde, genda ne Pula omuddu wo oserengete mu lusiisira;
11
Ojja kuwulira bye boogera, olyoke ofune amaanyi okulumba olusiisira.” Awo Gidyoni n'aserengeta n'omuddu we Pula ku njegoyego y'olusiisira lw'omulabe.
12
Abamidiyaani n'Abamaleki n'abantu b'omu Buvanjuba, baali babisse ekiwonvu, nga bali ng'enzige obungi, era n'eŋŋamira ze balina butabalika, ng'omusenyu ku lubalama lw'ennyanja.
13
Gidyoni bwe yatuukayo, n'awulira omusajja ng'abuulira munne ekirooto, ng'agamba nti, “Nnaloose omugaati gwa Sayiri, nga gugwa mu lusiisira lw'Abamidiyaani, ne gutuuka ku weema, ne gugikuba n'egwa, ne yeevuunika, n'ebutamira ddala ku ttaka.”
14
Munne n'addamu n'ayogera nti, “Ekyo kitala kya Gidyoni mutabani wa Yowaasi omusajja wa Isiraeri so si kirala, mu mukono gw'oyo Katonda mw'agabudde Midiyaani n'eggye lye lyonna.”
15
Awo olwatuuka Gidyoni bwe yawulira ekirooto n'amakulu gaakyo, n'asinza; n'addayo mu lusiisira lwa Isiraeri n'ayogera nti, “Mugolokoke; kubanga Mukama agabudde egye lya Midiyaani mu mukono gwammwe.”
16
N'ayawulamu abasajja bali bisatu (300), n'abagabanyamu ebibinja bisatu (3), buli omu n'amuwa ekondeere n'ensuwa enkalu nga erimu ekitawuliro.
17
N'abagamba nti, “Mulabire ku nze, nammwe mukole nga bwe nkola, bwe nnaatuuka okumpi n'olusiisira nga bwe nnaakola nammwe bwe munaakola.
18
Nze nabo abali nange, bwe tunaafuuwa amakkondeere, nammwe ne mulyoka mufuuwa agammwe ku njuuyi zonna ez'olusiisira ne mulekana nti, ‘ba Mukama era ba Gidyoni.’ ”
19
Awo Gidyoni n'abasajja kikumi (100), abaali naye ne batuuka kumpi n'olusiisira ekiro mu ttumbi nga kye bajje basseewo abakuumi, ne bafuuwa amakkondeere, ne baasa n'ensuwa, ze baali bakutte.
20
Ebibinja byonna ebisatu ne bafuuwa amakkondeere, ne baasa ensuwa, nga bakutte emimuli mu mikono gyabwe egya kkono, n'amakondeere ag'okufuuwa mu gya ddyo, ne baleekaana nti, “Ekitala kya Mukama era kya Gidyoni!”
21
Ne bayimirira buli muntu mu kifo kye nga beetooloode olusiisira, eggye lyonna ery'Abamidiyaani neridduka nga bwe baleekaana.
22
Abasajja ba Gidyoni bwe bafuuwa amakkondeere gaabwe, Mukama naaleetera ab'eggye ly'omulabe okufumitagana bokka na bokka, buli omu nga alwanyisa munne n'ekitala; eggye ne lidduka okutuuka ku Besusitta mu kkubo ly'e Zerera, okutuuka ku nsalo ya Aberumekola ku mabbali g'e Tabbasi.
23
Abasajja ba Isiraeri ne bakuŋŋaanyizibwa okuva mu bika ekya Nafutaali, eky'Aseri ne kya Manase kyonna ne bawondera Abamidiyaani.
24
Gidyoni n'atuma ababaka okubuna ensi yonna eya Efulayimu ey'ensozi nga ayogera nti, “Mujje mugende mutayize Abamidiyaani okuva ku mugga Besubala okutuuka ku Yoludaani.” Awo abasajja bonna aba Efulayimu ne bakuŋŋaanyizibwa, era ne bakwata ebitundu by'amazzi okutuukira ddala e Besubala, era ne Yoludaani.
25
Ne bawamba abalangira ba Midiyaani bombi, Olebu ne Zeebu; Olebu ne bamuttira ku jjinja lya Olebu, ne Zeebu ne bamuttira ku ssogolero lya Zeebu. Ne bongera okuwondera Abamidiyaani; emitwe ogwa Olebu n'ogwa Zeebu ne bagireetera Gidyoni emitala wa Yoludaani.
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21