bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 15
Judges 15
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
1
Awo olwatuuka ebbanga bwe lyayitawo, mu makungula g'eŋŋaano, Samusooni n'akyalira mukazi we n'amutwalira omwana gw'embuzi; n'agamba kitaawe w'omukazi nti, “Naayingira eri mukazi wange mu nnyumba.” Naye kitaawe wa mukazi we n'atamuganya kuyingira.
2
Kitaawe wa mukazi we n'amugamba nti, “Nnali ndowooza nti wamukyayira ddala kyennava muwa munno. Muganda we omuto siyamusinga bulungi? Nkwegayiridde twala oyo mu kifo kye.”
3
Samusooni n'agamba nti, “Ku mulundi guno temunnenyanga Abafirisuuti bwe ndibakola akabi.”
4
Awo Samusooni n'agenda n'akwata ebibe bisatu (300), n'abikwataganya emikira bibiri bibiri, n'ateeka ebitawuliro wakati w'emikira gyabyo.
5
Awo bwe yamala okukoleeza ebitawuliro, n'ata ebibe ne bigenda mu nnimiro z'eŋŋaano ez'Abafirisuuti, ne byokya eŋŋaano ey'ebinywa ebikunguddwa neyo eyali mu nnimiro, era n'ensuku ez'emizeyituuni.
6
Awo Abafirisuuti ne balyoka babuuza nti, “Akoze kino y'ani?” Ne babagamba nti, “Samusooni mukoddomi w'Omutimuna, kubanga yaddira mukazi wa Samusooni n'amuwa munne.” Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro.
7
Samusooni n'abagamba nti, “Nga bwe mukoze bwe mutyo, sijja kuweera nga sinnabawalanako ggwanga.”
8
N'abalumba, n'abattamu abantu bangi nnyo; n'alyoka aserengeta n'atuula mu lwatika olw'omu jjinja lya Etamu.
9
Awo Abafirisuuti ne bayambuka, ne basiisira mu Yuda, ne bazinda ekibuga Leki.
10
Abasajja ba Yuda ne babuuza nti, “Lwaki mutulumbye okutulwanyisa?” Abafirisuuti ne baddamu nti, “Tuzze okusiba Samusooni, twesasuzze by'eyatukola ffe.”
11
Awo abasajja enkumi ssatu (3,000), aba Yuda ne balyoka baserengeta eri olwatika olw'omujjinja lya Etamu, ne bagamba Samusooni nti, “Tomanyi nga Abafirisuuti be batufuga? Lwaki watukola bw'otyo?” Samusooni n'agamba nti, “Naali nesasuzza ekyo nabo ky'ebankola.”
12
Ne bamugamba nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo eri Abafirisuuti.” Samusooni n'abagamba nti Mundayirire nga mmwe bennyini temunzitta.
13
Ne bamugamba nti, “Nedda, mazima tetuukutte, tujja kukusiba busibi tukuweeyo gyebali;” ne bamusibisa emiguwa ebiri emiggya ne bamujjayo mu jjinja.
14
Awo bwe yatuuka e Leki, Abafirisuuti ne baleekaanira waggulu ne bamulumba; omwoyo gwa Mukama ne gumujjako n'amaanyi, naakutula emiguwa egyali gimusibye emikono, negiba ng'obugoogwa obwokeddwa omuliro.
15
N'alaba oluba lw'endogoyi olubisi, n'alulonda n'alussissa abasajja lukumi (1,000).
16
Samusooni n'ayogera nti, “Oluba lw'endogoyi, entuumo n'entuumo, Oluba lw'endogoyi lwe nzisizza abasajja olukumi (1,000).”
17
Awo olwatuuka bwe yamala okwogera n'asuula wansi oluba lw'endogoyi; ekifo ekyo kyekyava kiyitibwa Lamasuleki.
18
Awo Samusooni n'alumwa nnyo ennyonta, n'akoowoola Mukama nti, “Ompadde obuwanguzi buno obw'amaanyi. Naye ate kaakano nfe ennyonta mpambibwe abatali bakomole?”
19
Katonda n'azibukula ekinnya ekyali mu Leki, ne muvaamu amazzi, awo Samusooni bwe yamala okunywa n'addamu amaanyi n'obulamu; Oluzzi olwo kyerwava luyitibwa Enkakkole, luli mu Leki ne kaakano.
20
Awo Samusooni n'alamulira Isiraeri emyaka abiri (20) mu biseera by'Abafirisuuti.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21