bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 17
Judges 17
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
1
Awo waaliwo omusajja ow'omu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, erinnya lye Mikka.
2
N'agamba nnyina nti, “Ebitundu bya ffeeza lukumi mu kikumi (1,100), bye baakutwalako n'okolima nga mpulira, nze n'abitwala era mbirina.” Nnyina n'ayogera nti, “Omwana wange aweebwe omukisa Mukama.”
3
Omusajja n'addiza nnyina ebitundu biri ebya ffeeza olukumi mu ekikumi (1,100). Nnyina n'agamba nti, “Okuggya ekikolimo ku mwana wange, mponga eri Mukama ffeeza eno, ekolebwemu ekifaananyi ekyole ekibikiddwako ffeeza ensanuuse, kale kaakano ffeeza ngikuddiza.”
4
Awo Mikka bwe yazza ebitundu bya ffeeza eri nnyina, nnyina n'atoolako ebitundu bibiri (200), n'abiwa omukozi asaanuusa, oyo n'akola ekifaananyi ekyole, n'akibikkako ffeeza, ekifaananyi ekyo ne kiteekebwa mu nnyumba ya Mikka.
5
Omusajja oyo Mikka yalina essabo lye, n'atunga ekkanzu ey'obwakabona, ne baterafi, n'ayawula omu ku batabani be n'amufuula kabona we.
6
Mu nnaku ezo nga tewali kabaka mu Isiraeri nga buli muntu akola nga bw'alaba.
7
Era waaliwo omuvubuka eyava mu Besirekemuyuda, ow'ekika kya Yuda, Omuleevi najja eyo.
8
Omusajja oyo n'ava mu kibuga eky'e Besirekemuyuda n'anoonya ekifo wanaayinza okubeera, n'atambula n'atuuka mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi awali ennyumba ya Mikka.
9
Mikka n'amubuuza nti, “Ova wa?” N'amuddamu nti, “Ndi Muleevi ow'e Besirekemuyuda, era noonya ekifo wennyinza okubeera.”
10
Mikka n'amugamba nti, “Beera nange obeere nga kitange era kabona wange. Nnaakuwanga ebitundu kkumi ebya ffeeza buli mwaka, n'eby'okwambala omuteeko gumu n'eby'okulya.”
11
Awo Omuleevi n'akkiriza okubeera mu nnyumba y'omusajja oyo; era n'abeerera ddala ng'omu ku batabani be.
12
Mikka n'ayawula omulenzi oyo Omuleevi okuba kabona we, n'abeerera ddala mu nnyumba ye.
13
Mikka n'ayogera nti, “Kaakano nga bwe nnina Omuleevi nga ye kabona wange, mmanyi nga Mukama ajja ku nkolera ebirungi.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21