bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 5
Judges 5
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
1
Debola ne Balaki mutabani wa Abinoamu ne bayimba oluyimba luno nti;
2
“Mumwebaze Mukama, kubanga abakulembeze mu Isiraeri baamalirira okulwana, era n'abantu ne beewaayo nga beeyagalidde.”
3
Muwulire, mmwe bakabaka; mutege amatu, mmwe abalangira; Nze, nze, nnaayimbira Mukama; Naayimba okutendereza Mukama, Katonda wa Isiraeri.
4
Mukama, bwe wafuluma mu Seyiri, Bwe wava mu nnimiro ya Edomu okutabaala, Ensi n'ekankana, eggulu ne litonnyesa enkuba ng'efukumuka okuva mu bire,
5
Ensozi nezikankanira mu maaso ga Mukama, Ggwe Sinaayi oli mu maaso ga Mukama, Katonda wa Isiraeri.
6
Mu mirembe gya Samugali mutabani wa Anasi, Mu mirembe gya Yayeeri, enguudo zeewalibwanga, ng'abatambuze bayita mu mpenda.
7
Ebyalo byafuuka matongo, Okutuusa ggwe Debola bwe wajja, nga nnyina wa Isiraeri.
8
Abaisiraeri bwe baweereza bakatonda abalala; Olwo entalo ne zibaawo mu Isiraeri. Mu basajja emitwalo ena (40,000) Isiraeri, Waliwo eyatabaala n'engabo oba n'effumu?
9
Omutima gwange gubalowooza abafuga Isiraeri, abeewaayo bokka mu bantu nga beeyagalidde. Mwebaze Mukama.
10
Mukyogereko, mmwe abeebagala ku ndogoyi enjeru, Mmwe abatuula ku biwempe ebidalize, Nammwe abatambula mu kkubo.
11
Muwulirize eddoboozi ly'abayimbi abali ku nzizi za mazzi, Boogera ku buwanguzi Mukama bwe yawa Abaisiraeri. Awo abantu ba Mukama ne bakumba nga balaga ku miryango.
12
Zuukuka, zuukuka, Debola; Zuukuka, zuukuka, okoleeze oluyimba! Golokoka Balaki mutabani wa Abinoamu, kulembeeramu abasibe b'owambye!
13
Awo abakungu abasigalawo ne baserengeta abantu ba Mukama ne baserengeta ku lulwe okulwanyisa ab'amaanyi.
14
Mu Efulayimu n'evaayo abasibuka mu Amaleki; nga bakugoberera ggwe Benyamini ne baganda bo. Abaduumizi ne baserengeta nga bava mu Makiri. Ate okuva Zebbulooni n'evaayo abakungu abakwata omuggo gw'oyo asimbisa ennyiriri.
15
N'abakulembeze ba Isakaali ne bajja ne Debola; nga bali bumu ne Balaki, ne bamugoberera mu kiwonvu. Naye ab'ekika kya Lewubeeni baateesa ne batasalawo oba nga banaagenda.
16
Baasigalira ki mu bisibo by'endiga, okuwuliriza emirere gye bafuuyira amagana? Mu bitundu bya Lewubeeni waliwo okwenoonya okukulu okw'omu mutima, ne batasalawo oba nga banaagenda.
17
Ab'omu Kika kya Gaadi baasigala mitala wa Yoludaani. Ab'omu Kika kya Ddaani baasigalira ki mu maato? Ab'omu Kika kya Aseri baasirikira eri ku lubalama lw'ennyanja, beesigalira ku mwalo.
18
Zebbulooni be bantu abawaayo obulamu bwabwe okutuusa okufa, Ne Nafutaali n'alwanira mu bifo eby'ensozi.
19
Bakabaka balwanira e Taanaki ku mazzi g'e Megiddo. Bakabaka b'e Kanani balwana, ne batafuna munyago gwa feeza.
20
Emmunyeenye mu bbanga zaalwana mu lugendo lwazo, zaalwanyisa Sisera.
21
Omugga Kisoni gwabatwalira ddala, Omugga ogwo ogw'edda, omugga Kisoni. Ggwe obulamu bwange, tambula n'amaanyi.
22
Olwo embalaasi ne ziduma, ng'ebinuulo byazo bisambirira ettaka!
23
Mukolimire Merozi, bw'ayogera malayika wa Mukama, Mukolimire nnyo abaatuula omwo; Kubanga tebadduukirira Mukama, mu kulwanyisa ab'amaanyi.
24
Aliba n'omukisa Yayeeri okusinga abakazi, Muka Keberi Omukeeni. Aliba n'omukisa okusinga abakazi mu weema.
25
Yasaba amazzi, n'amuwa amata; N'amuleetera omuzigo mu kibya eky'ekikungu.
26
Yakwasa omukono enkondo, Yakwasa omukono gwe ogwa ddyo ennyondo ey'omukozi; N'akuba Sisera ennyondo, yakomerera omutwe, Weewaawo, yamufumita ekyenyi enkondo n'eyitamu.
27
Ku bigere bye n'akutama n'agwa n'agalamira; We yakutamira we yagwira ddala ng'afudde.
28
Nnyina Sisera yalingiza mu ddirisa n'ayogerera waggulu, Nti ekirwisizza eggaali lye okujja kiki? Kiki ekirwisizza eggaali lye okudda
29
Abakyala be ab'amagezi ne bamuddamu, Weewaawo naye neyeddamu yekka,
30
Tebaluddeyo lwa munyago gwe bakuŋŋaanya bagabane? Buli musajja omuwala omu oba babiri; Engoye ennungi za Sisera, nfuneyo ez'emidalizo nange?
31
Bwe batyo, ai Mukama abalabe bo bonna bazikirirenga; Naye abo bonna abakwagala babe ng'enjuba bw'evaayo mu maanyi gaayo. Awo ensi ne baamu emirembe okumala emyaka ana (40).
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21