bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 10
Judges 10
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
1
Awo Abimereki bweyamala okufa, Tola mutabani wa Puwa muzzukulu wa Dodo, ow'omukika kya Isakaali n'agolokoka okulokola Isiraeri; yabeera nga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi.
2
N'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu esatu (23), n'afa, ne bamuziika mu Samiri.
3
Oluvannyuma lwa Tola newaddawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri (22).
4
Era yalina batabani be asatu (30), abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu (30), nabo baalina ebibuga asatu (30), bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi.
5
Yayiri n'afa ne bamuziika mu Kamoni.
6
Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama, ne baweereza bakatonda abalala, Babaali, Asutaloosi, bakatonda be Busuuli, bakatonda be Sidoni, bakatonda ba Mowaabu, bakatonda ba Amoni, ne bakatonda b'Abafirisuuti; ne bava ku Mukama ne batamuweereza.
7
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mukono gw'Abafirisuuti n'ogw'Abamoni ne babafuga.
8
Omwaka ogwo ne banyigiriza era ne bajooga abaana ba Isiraeri, ne baajoogera abaana ba Isiraeri emyaka kkumi na munaana (18), bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi.
9
Abaana ba Amoni ne basomoka Yoludaani okulwanyisa Yuda, Benyamini n'ekika kya Efulayimu; abaana ba Isiraeri ne beeraliikirira nnyo.
10
Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama nga boogera nti, “Twakusobya kubanga twava ku Katonda waffe ne tuweereza Babaali.”
11
Mukama n'agamba abaana ba Isiraeri nti, “Saabalokola eri Abamisiri n'eri Abamoli, eri abaana ba Amoni n'eri Abafirisuuti?
12
Era Abasidoni, Abamaleki n'Abamoni bwe baabajooga, ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe.
13
Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala; kyennava nnema okubalokola nate.
14
Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe.”
15
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti, “Twayonoona; tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi, kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde.”
16
Ne beggyako bakatonda abalala be baweerezanga; Omwoyo gwa Mukama ne gumuluma olw'okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri.
17
Awo abaana ba Amoni ne balyoka bakuŋŋaana ne basiisira mu Gireyaadi. Abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaana ne basiisira mu Mizupa.
18
Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti, “Ani anaakulembera olutalo okulwanyisa abaana ba Amoni? Oyo y'anaafuga Gireyaadi.”
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21