bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
/
Judges 13
Judges 13
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
1
Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekibi mu maaso ga Mukama; Mukama n'abawaayo okufugibwa Abafirisuuti okumala emyaka ana (40).
2
Waaliwo omusajja ow'e Zola ow'omukika kya Daani, erinnya lye Manowa; eyalina mukazi we nga mugumba.
3
Malayika wa Mukama n'alabikira omukazi n'amugamba nti, “Laba nno, oli mugumba so tozaala; naye oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi.
4
Kale nno weekuume, nkwegayiridde, oleme okunywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu,
5
kubanga, laba, oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; taamwebwengako nviiri kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto; era yalitandika okulokola Isiraeri mu mukono gw'Abafirisuuti.”
6
Awo omukazi n'alyoka ajja n'abuulira bba, ng'agamba nti, “Omusajja wa Katonda azze gye ndi, amaaso ge gabadde nga aga malayika wa Katonda, nga ga ntiisa nnyo. Simubuuzizza gy'avudde naye tambuulidde linnya lye;
7
era aŋŋambye nti, ‘oliba olubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; okuva kaakano tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, so tolyanga ku kintu ekitali kirongoofu; kubanga omwana aliba Muwonge eri Katonda okuva mu lubuto okutuusa ku lunaku lw'alifa.’ ”
8
Awo Manowa n'alyoka yeegayirira Mukama n'ayogera nti, “Ayi Mukama, nkwegayirira, omusajja wa Katonda gwe watuma akomewo gyetuli omulundi ogwokubiri atuyigirize bwe tulikola omwana agenda okuzaalibwa.”
9
Katonda n'awulira eddoboozi lya Manowa; malayika wa Katonda najja eri omukazi omulundi ogwokubiri bwe yali nga atudde mu nnimiro; naye Manowa, bba, teyali naye.
10
Omukazi n'agenda ng'adduka n'abuulira bba ng'agamba nti, “omusajja oli eyandabikira olulala era akomyewo gyendi.”
11
Manowa n'asituka n'agoberera mukazi we, n'agenda eri omusajja n'amubuuza nti, “Ggwe musajja oli eyayogera ne mukazi wange?” N'amuddamu nti, “Ye nze.”
12
Manowa n'amubuuza nti, “Ebigambo byo bwe birituukirira, omwana alikola omulimu ki? Era obulamu bwe buliba bwa ngeri ki?”
13
Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “Byonna bye nnagamba mukaziwo abyekuumanga.
14
Talyanga ku kintu ekiva ku muzabbibu, so tanywanga mwenge newakubadde ekitamiiza so talyanga kintu kyonna ekitali kirongoofu; byonna bye nnamulagira abikwatanga.”
15
Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Nkwegayiridde lindako tukuteekereteekere omwana gw'embuzi omale okulya.”
16
Malayika wa Mukama n'agamba Manowa nti, “ Nnebwenalindako sijja kulya ku mmere yo, naye bw'oba oyagala okuteekateeka ekiweebwayo ekyokebwa, kikugwanira kukiwa Mukama.” Manowa yali tamanyi nga oyo yali malayika wa Mukama.
17
Manowa n'agamba malayika wa Mukama nti, “Tubuulire erinnya lyo, ebigambo byo bwe birituukirira tulyoke tukusseemu ekitiibwa.”
18
Malayika wa Mukama n'agamba nti, “Obuuliza ki erinnya lyange? Olabye nga lya kitalo?”
19
Awo Manowa n'addira omwana gw'embuzi wamu n'ekiweebwayo eky'obutta, n'akiweerayo ku jjinja eri Mukama; malayika n'akola eby'ekitalo, Manowa ne mukazi we nga balaba.
20
Awo olwatuuka omuliro bwe gwava ku kyoto ne gulinnya mu bbanga, malayika wa Mukama n'ayambukira mu muliro ogwo, Manowa ne mukazi nga balaba, ne bavuunama amaaso gaabwe ku ttaka.
21
Malayika wa Mukama teyaddayo nate kulabikira Manowa newakubadde mukazi we. Awo Manowa n'alyoka amanya nga ye malayika wa Mukama.
22
Manowa n'agamba mukazi we nti, “Tetuuleme kufa, kubanga tulabye Katonda.”
23
Naye mukazi we n'amugamba nti, “Singa Mukama abadde ayagala kututta, teyandikkirizza ekiweebwayo kyaffe ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta, so teyanditubuulidde bigambo ebyo byonna.”
24
Omukazi n'azaala omwana wa bulenzi, n'amutuuma erinnya Samusooni; omwana n'akula, Mukama n'amuwa omukisa.
25
Omwoyo gwa Mukama ne gusooka okumutwala mu Makanedani, ekiri wakati wa Zola ne Esutaoli.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21