bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 10
Isaiah 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 11 →
1
Zibasanze abateeka amateeka amabi, n'abo abafulumya ebiwandiiko ebinyigiriza;
2
abaavu ne babamma ennamula entuufu, abanaku mu bantu bange ne babaggyako eddembe lyabwe, bannamwandu ne babafuula omunyago gwabwe, ne bamulekwa ne babanyagulula.
3
Mulikola mutya ku lunaku lw'ekibonerezo, okuzikirira lwe kuliva ewala? Muliddukira w'ani abayambe, obugagga bwammwe mulibuleka wa?
4
Tewaliba kirala, wabula okusitama mu basibe, oba okugwa mu battiddwa. Olw'ebyo byonna obusungu bwe tebunnaggwa, n'omukono gwe gukyagoloddwa.
5
Assuri zimusanze, embuukuuli y'obukambwe bwange, mu ngalo ze akutte omuggo gw'obusungu bwange!
6
Mmusindise okulwanyisa eggwanga omutali ddiini; mmutumye okulwanyisa abantu abannyiizizza, akole ogw'okwaya, yeekuŋŋaanyize omunyago, n'okubalinnyirira ng'ebitoomi by'omu nguudo.
7
Naye kino si ky'agenderera, n'omutima gwe kino si kye gulowooza; ky'ayagala kwe kuzikiriza, kwe kusaanyaawo amawanga ate nga si matono.
8
Agamba nti: “Abagabe bange bonna si bakabaka?
9
Kalune tali nga Kerucemisi? Kamati tali nga Arupadi? Samariya tali nga Damasiko?
10
Ng'omukono gwange bwe gutuuse ku bwakabaka obulina balubaale, abalina ebifaananyi bya balubaale ebibajje, ebisinga n'eby'omu Yeruzaalemu ne Samariya,
11
siikole kye kimu ku Yeruzaalemu n'ebifaananyi byakyo ebya balubaale, nga bwe nakola ku Samariya n'ebifaananyi byakyo ebya balubaale?”
12
Omukama bw'alimala okumaliriza omulimu gwe gwonna ku lusozi Siyoni ne mu Yeruzaalemu, olwo alibonereza kabaka wa Assuri olw'ebikolwa by'okwekuza kw'omutima gwe awamu n'entunula ey'olunkulu mu maaso ge.
13
Kubanga agamba nti: “Ekyo nkikoze n'amaanyi g'emikono gyange, n'amagezi gange, kubanga ntegeera. Nzijuludde ensalo z'amawanga, obugagga bwabwe mbunyaze; nga kirimaanyi, nfufuggazza abawaŋŋamye ku nnamulondo.
14
Omukono gwange gukutte obugagga bw'amawanga ng'agwikirizza ekisu; ng'amagi agalekeddwa awo bwe gakuŋŋaanyizibwa, nange ensi yonna bwe ngikuŋŋaanyizza ntyo; tewabadde apaapaaza biwaawaatiro, ayasamya kamwa yadde akkokkoleza.”
15
Embazzi eyinza okwewanika ku oyo agiwuuba, yadde omusumeeni okwewaanira ku oyo agusazisa? Kyandibadde ng'embuukuuli okuwuuba oyo agisitudde, oba ng'omuggo okugalula oyo atali muti.
16
Olw'ekyo nno Omukama Katonda w'Amagye, agenda kusindikira abatabaazi be abaggumivu endwadde ezikonvubya; ate wansi w'ekitiibwa kye walyaka omuliro ng'okwaka kw'omuliro.
17
Ekitangaala kya Yisirayeli kirifuuka omuliro, n'Omutuukirivu waabwe n'afuuka olulimi lw'omuliro; gulikoleera ne gwokya amaggwa ge n'enkandwa ku lunaku lumu.
18
Alizikiriza ettendo ly'ekibira kye n'ettaka eggimu, omubiri n'omwoyo, ng'omulwadde bw'agenda akogga.
19
Emiti egirisigalawo giriba mitono, nga n'omwana omuto asobola okugibala.
20
Ku olwo abaliba basigaddewo mu Yisirayeli ne bakaawonawo ba Yakobo, tebaliddayo kwesiga oyo eyabakuba, wabula bajjanga kwesiga Mukama mu mazima, Oyo Omutuukirivu wa Yisirayeli.
21
Abaliba basigaddewo balikomawo, abaliba basigaddewo mu nnyumba ya Yakobo, balidda eri Katonda ow'Amaanyi.
22
Yisirayeli, abantu bo ne bwe baliba ng'omusenyu gw'oku nnyanja, abaliba basigaddewo be balidda. Okumalirizibwa okulangiriddwa, obutuukirivu bulibooga.
23
Omukama Katonda w'Amagye, wa kutuukiriza ekirangiriro kino ku nsi yonna.
24
Olw'okubeera ekyo, Omukama Katonda w'Amagye agamba nti: “Bantu bange, mmwe abali mu Siyoni, muleke kutya Bassuri; bajja kubakubisa mbuukuuli, babagalulire omuggo nga Abamisiri bwe baakola,
25
naye mu kabanga katono ddala obusungu bwange bujja kukoma, ate nkyusize obuswandi ku bo okubazikiriza.”
26
Era Omukama w'Amagye alibayisaako obuswanyu, nga bwe yakuba Midiyaani ku Lwazi lwa Nnamuŋŋoona; aligalulira omuggo gwe ku nnyanja nga bwe yakola mu Misiri.
27
Ku olwo omugugu guliggyibwa ku bibegabega byammwe, n'ekikoligo kyabwe ku nsingo yammwe; ekikoligo kyabwe kirimenyebwa ku bibegabega byammwe.
28
Atuuse e Ayati, ayise mu Miguroni; engugu ye agiterese e Mikumasi.
29
Basomose omukutu, ne bagamba nti: “Tunaasula Geba;” Rama atekemuse, Gibeya ekya Sawulo kidduse.
30
Muwala wa Gallimu, kuba enduulu! Ggwe Layisa, tegereza! Muddemu Anatoti.
31
Madumena adduse, ab'omu Gebimu beekukumye.
32
Ku luno ajja kuwummulira Nobu; ajja kufunya ekikonde kye ku lusozi lwa muwala wa Siyoni, ku kasozi ka Yeruzaalemu.
33
Anti laba Omukama Katonda w'Amagye, aliwawaagulako amatabi n'amaanyi ag'entiisa, emiti emiwanvu gijja kutemebwa, emirangavvu giriyimpayizibwa.
34
Alitema n'embazzi ebisaka by'ekibira; Lebanoni aligwa mu maaso g'Owaamaanyi.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66