bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 57
Isaiah 57
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 56
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 58 →
1
Abatuukirivu bazikirira, naye tewali n'omu akissaako mutima; abantu abalungi babuzibwawo, naye tewali ategeera, nti omutuufu abuzibwawo okumuwonya akabi,
2
ayingira mu ddembe; abo abatambula obutereevu bawummula mu bitanda byabwe.
3
“Naye mmwe musembere kumpi wano, mmwe batabani b'omukazi omulaguzi, ezzadde ly'omukazi omwenzi era malaaya.
4
Ani gwe muzannyirako? Ani gwe mwasamiza mutyo akamwa ne musowolayo ennimi? Temuli zzadde jjeemu, abaana b'abalimba?
5
Mmwe abababirirwa amaddu wansi w'emivule, wansi wa buli muti oguggumizza; abaana bammwe mubatambiririra mu biwonvu, ne mu mpampagama z'enjazi.
6
“Ebifaananyi bya balubaale mu mayinja amanyirivu mu biwonvu gwe mugabo gwo; byo kye kitundu kyo; bye muwongedde ebitone eby'okuyiwa, ne mubiweereza ebitone eby'obuwunga. Olwa bino ne nzikkakkana?
7
Ku lusozi oluwanvu ate olugulumivu kwe wateeka ekitanda kyo; eyo gye walinnya okuweereza ebitambiro.
8
Emabega w'enzigi n'emyango eyo gy'otadde ekijjukizo kyo; wanjabulira, n'obikkula ekitanda kyo, wakiwalampa, n'okibikkulira ddala; wakuba endagaano n'abo ebitanda byabwe by'oyagala, n'otunuulira obwereere bwabwe.
9
Wagenda eri Moleki ng'otutte omuzigo, ebyakaloosa byo n'obyongera obungi; watuma ababaka bo ewala, ggwe wennyini n'okkirira emagombe.
10
Wakoowa mu lugendo lwo oluwanvu, naye tewagamba nti: ‘Bya busa!’ Wazuula amaanyi amaggya, kyewava toyenjebuka.
11
“Ani gwe watya n'akukwasa ensisi okutuusa okunnimba, nange n'otonzijukira, n'otokissaako mutima? Okumala ebbanga eggwanvu nga nsirise si kye kikuleetedde obutakyantya?
12
Ŋŋenda kwogera obutuukirivu bwo ne bye wakola, naye tebijja kukugasa.
13
Bw'oliraajana, kale bye wakuŋŋaanya bikuwonye! Empewo ejja kubifuumuula, ekikkowe obukkowe kigenda kubikunguzza; naye oyo addukira gy'endi, alirya ensi, y'alifuna olusozi lwange olutukuvu.”
14
Baligamba nti: “Muzimbe, muzimbe; muteeketeeke ekkubo. Muggye buli musanvu mu kkubo ly'abantu bange.”
15
Kubanga kino ky'agamba, Oyo Oweekitiibwa, Asukkulumye, oyo Aliwo emirembe gyonna, ow'erinnya ettukuvu nti: “Nsula waggulu mu kifo ekitukuvu, naye era wamu n'eyeemenye, omwetoowaze mu mwoyo, nzize obulamu mu mwoyo gw'omwetoowaze, nzize obulamu mu mutima gw'ayeemenye.
16
Sigenda kuvunaana emirembe gyonna, era sirisunguwala kutuusa ddi na ddi, kubanga omwoyo gw'omuntu gwandiyenjebukidde we ndi, omukka gw'obulamu gwe nakola.
17
Nanyiiga olw'obubi bw'amaddu ge; namukuba ne mmukweka amaaso gange olw'obusungu, naye yayongera mu bujeemu bw'amakubo g'omutima gwe.
18
Ndabye amakubo ge, kyokka nzija kumuwonya, nzija kumukulemberamu, muzzeemu omutima, abo abamukungubagira
19
mbateeke ettendo ku mimwa gyabwe. Ddembe, ddembe eri ab'okumpi n'ewala,” Omukama y'agamba, “era nzija kubawonya.
20
Naye ababi bali ng'ennyanja esiikuuse; teyinza kuteeka; amayengo gaayo gasiikuula ettosi n'ebitoomi.
21
Ababi tebaba na mirembe,” Katonda wange bw'agamba.
← Chapter 56
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 58 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66