bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 19
Isaiah 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 20 →
1
Obubaka ku Misiri: Laba: Omukama yeebagadde ekire ekidduka emisinde, ayingira mu Misiri; Bw'anaalabika, ebifaananyi bya balubaale ba Misiri binaakankana, n'emitima gy'Abamisiri ginaabatekemuka munda.
2
“Nzija kusiikulira Omumisiri Mumisiri munne, balirwanagana buli muntu ne muganda we; omuntu ne mukwano gwe, ekibuga n'ekibuga kinnaakyo, obwakabaka n'obwakabaka bunnaabwo.
3
Abamisiri baliggwaamu omutima, n'entegeka zaabwe ndizitabula. Bagenda kwebuuza ku bifaananyi bya balubaale, ku basamize, ku mizimu ne ku ndagu.
4
Abamisiri ŋŋenda kubawaayo mu mikono gy'omufuzi omukambwe, kabaka ow'entiisa agenda kubafuga,” Omukama Katonda w'Amagye bw'agamba.
5
Amazzi g'omu mugga galikalira, era n'ekiwonvu ky'omugga kyonna kirikalira ne kikala.
6
Emyala giriwunya ekivundu, n'obugga bw'e Misiri bulitonewa ne bukalira; ebitoogo n'ebiwuuwa birikala.
7
Ebimera ku Kiyira, ku mugga we guyiira n'ebirime byonna ku lubalama lwa Kiyira birikala; birifuumuuka ne bibulawo.
8
Abavubi balikaaba ne balaajana, bonna abasuula amalobo mu Kiyira baliwooba, n'abasuula obutimba mu mazzi baliyongobera.
9
Abaluka engoye eza kitaani baliterebuka, n'abalanga engoye eza ppamba nabo bwe batyo.
10
Abatunzi b'engoye balyetamwa, n'abo bonna abakolera empeera baliwulira ennyiike.
11
Abakungu b'e Zowani nga basiru! Ababuulirizi ba Faraawo abagezi amagezi bamuwa ga kisiru. Mugamba mutya Faraawo nti: “Nze ndi mwana wa bagezi, mwana wa bakabaka ab'edda?”
12
Kale abasajja bo abagezi kati baluwa? Kale bakubuulire bakumanyise Omukama w'Amagye by'ategekedde Misiri.
13
Abakungu b'e Zowani bafuuse basiru, abakungu b'e Memfi bawubisiddwa; abo ebikonge by'ebika byayo bawubisizza Misiri.
14
Omukama abasiyeemu omwoyo ogw'okuzunga; baleetedde Misiri okutaga mu byonna by'akola, ng'omutamiivu bw'atagira mu bisesemye bye.
15
Misiri tegenda kubaako kyesobola kukola, ye ng'omutwe, omukira, olusansa oba olumuli.
16
Ku olwo Abamisiri baliba ng'abakazi; balikankana olw'okutya nga balaba Omukama w'Amagye awanise omukono n'agubagololerako.
17
Ensi ya Yuda eriba ya ntiisa ku Bamisiri; buli gwe banaagambanga ku linnya lya Yuda, balyesisiwala nga balabye entegeka Omukama w'Amagye gy'akoze okubalwanyisa.
18
Ku olwo, mu nsi Misiri mulibaamu ebibuga bitaano ebyogera olulimi lwa Kanaani; biryeyama okukolagana n'Omukama w'Amagye; ekimu ku byo kiyitibwa Kibuga kya Njuba.
19
Ku olwo, mu makkati ga Misiri mulibaamu omwaliiro olw'Omukama, n'ejjinja ery'ekijjukizo ku nsalo.
20
bye biribeera akabonero n'obujulizi bw'Omukama w'Amagye mu nsi y'e Misiri. Bwe balitemera Omukama omulanga olw'abababonyaabonya, alibasindikira omununuzi, alibawolereza n'abanunula.
21
Omukama alyemanyisa mu Misiri. Ku olwo Abamisiri balikkiririza mu Mukama; balimusinza ne bamuweereza ebitambiro n'ebirabo eby'obuwunga. Balyeyama ew'Omukama, bye beeyamye ne babituukiriza.
22
Omukama alikuba Misiri, alibakuba ate n'abawonya. Balikyukira eri Omukama, naye n'abaanukula okwegayirira kwabwe n'abawonya.
23
Ku olwo walibaawo oluguudo olunene oluva mu Misiri okulaga mu Assuri; Abassuri balijja mu Misiri, n'Abamisiri ne bagenda mu Assuri; Abamisiri n'Abassuri banaasinzizanga wamu.
24
Ku olwo Yisirayeli y'eriba eyookusatu ku Misiri ne Assuri; kino kiriba kya mukisa wakati mu nsi.
25
Omukama w'Amagye alibawa omukisa ng'agamba nti: “Omukisa gubeere ku Misiri abantu bange, ne ku Assuri omulimu gw'omukono gwange, ne ku Yisirayeli obusika bwange.” Ku Misiri ne Kuusi olw'okuwambibwa kwa Asudodi
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66