bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 48
Isaiah 48
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 49 →
1
“Muwulirize kino, ggwe ennyumba ya Yakobo, mmwe abayitibwa erinnya Yisirayeli, mmwe omusaayi gwa Yuda, abalayira mu linnya ly'Omukama, abakoowoola Katonda wa Yisirayeli__ sso si mu mazima, yadde mu butuukirivu__
2
mmwe abeeyita ekibuga ekitukuvu, abanyweredde ku Katonda wa Yisirayeli; erinnya lye ye Mukama w'Amagye.
3
Ebintu ebyayita nabirangirira dda, akamwa kange kaabiranga dda ne mbimanyisa; ate amangu ago ne nkolerawo, ne bituukirira.
4
Kubanga mmanyi bw'oli omukakanyavu, kubanga ebikya by'ensingo yo bya kyuma, ate ekyenyi kyo kya kikomo.
5
Ebintu bino kyennava mbirangirira okuva edda, nabikubuulira nga tebinnatuuka, oleme kugamba nti: ‘Lubaale wange ye yabikola; ebifaananyi byange ebyole n'ebisaanuuse bye byabiragira.’
6
“Bino wabiwulira, birabe byonna. Tobikkiriza? N'okuva kati nzija kukubuulira, ebintu ebyali bikisiddwa, by'otomanyanga nako.
7
Byakatondebwa kati, si bbanga ggwanvu emabega. Tobiwulirangako okuggyako olwa leero; awo nno toyinza kugamba nti: ‘Mazima nabimanya.’
8
Towulirangako, tomanyangako, okuva edda okutu kwo tekuggukanga; kubanga nali mmanyi bw'oli ow'enkwe, era ng'okuva lwe wazaalibwa oyitibwa mujeemu.
9
Olw'okubeera erinnya lyange nfuze obusungu bwange, olw'ekitiibwa kyange mbuziyizza okukutuukirira, nneme kukukutulako.
10
Laba, nkutukuzza, sso si nga ffeeza; nkugerezza mu kabiga ak'ennaku.
11
Ku lwange, ku lwange nzija kukikola, ggwe lwaki nandirese erinnya lyange ne lyonoonebwa? Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
12
“Ggwe Yakobo, mpuliriza, naawe Yisirayeli, gwe nayita: Nze wuuyo; nze mubereberye, era nze muvannyuma.
13
Omukono gwange gwe gwabangawo ensi, ddyo wange ye yabamba olubaale; bwe mbiyita, byonna biyimirira lumu.
14
“Mukuŋŋaane mwenna, muwulire. Ku abo ani yali alanze ebintu bino? Omukama amwagala; alituukiriza entegeka ye ku Babiloni; omukono gwe gulirwanyisa Abakaludeya.
15
Nze, nze kennyini, njogedde; mazima namuyita; namuleeta, amakubo ge gajja kumulamira.
16
“Musembere kumpi we ndi, muwulire kino: okuviira ddala mu masooka soogeranga nammwe mu kyama; lwe kyakolebwa, naliwo.” Kale nno Omukama antumye, wamu ne Mwoyo we.
17
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli: “Nze Mukama Katonda wo, nze nkuyigiriza ebinaakugasa, akukulembera mu kkubo mwe wanditambulidde.
18
Singa nno wali otegerezza ebiragiro byange! Olwo eddembe lyo lyandibadde ng'omugga, n'obutuukirivu bwo ng'amayengo g'oku nnyanja.
19
Ezzadde lyo lyandibadde ng'omusenyu, abazzukulu bo bandibadde ng'obuweke bwagwo. Erinnya lyabwe teryandikutuddwako, yadde okusangulibwawo mu maaso gange.”
20
Mufulume Babiloni, badduke Abakaludeya; kino mukibuulire mu maloboozi ag'essanyu, mukirangirire, mukiraalaase okutuuka ku nsonda z'ensi; mugambe nti: “Omukama anunudde omuweereza we Yakobo.”
21
Tebaalumwa ku nnyonta bwe yali abayisa mu ddungu; yabakulukusiza amazzi okuva mu lwazi; yayasa olwazi amazzi ne gafumbukuka.
22
Omukama agamba nti: “Ababi tebaba na mirembe.”
← Chapter 47
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 49 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66