bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 66
Isaiah 66
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 65
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
1
Omukama kino ky'agamba: “Eggulu ye nnamulondo yange, ate ensi ke katebe k'ebigere byange; nnyumba ki gye munanzimbira? Kifo ki mwe nnaawummulira?
2
Bino byonna mukono gwange si gwe gwabikola, era bino byonna si byange?” Omukama bw'agamba. “Kyokka omuntu asikiriza amaaso gange y'ono: omwetoowaze ate eyeenenyezza mu mwoyo, ajugumira awali ekigambo kyange.
3
“Atambira ente ennume ali ng'oyo atta omuntu; atambira endiga, ng'oyo amenya ensingo y'embwa; aweereza ebitambiro, ng'oyo aweereza omusaayi gw'embizzi; n'anyookeza obubaani obw'ekijjukizo, ng'oyo asinza ebitaliimu. Bano beerondeddewo amakubo gaabwe, emyoyo gyabwe gisanyukira mu byenyinyalwa byabwe;
4
nange nno ndibalonderawo kubajooga, ne mbaleetera bye basinga okutya, kubanga bwe nakoowoola, tewali yayanukula, bwe nayogera, tewali yawuliriza; wabula baakola bibi mu maaso gange, ne balondawo ebitansanyusa.”
5
Muwulire ekigambo ky'Omukama mmwe abajugumira awali ekigambo kye: “Baganda bammwe ababakyaye, ababasosola olw'okubeera erinnya lyange, bagambye nti: ‘Ka Omukama agulumizibwe, tulabe bwe musanyuka.’ Naye bajja kuswaluka.
6
“Muwulire, oluyoogaano okuva mu kibuga. Eddoboozi okuva mu Kiggwa. Lye ddoboozi ly'Omukama ng'aweera abalabe be ekibagwanidde.
7
“Nga tannaba na kulumwa, n'azaala; nga tannakwatibwa na bulumi bwa kuzaala, n'azaala omwana wa bulenzi.
8
Ani yali awulidde ekiri ng'ekyo? Ani yali alabye ekiri ng'ekyo? Ensi eyinza okuzaalibwa mu lunaku olumu, oba eggwanga okuzaalibwa mu kaseera obuseera? Kubanga Siyoni olwali okulumwa, n'azaala abaana be.
9
Ntuusa omuntu ku kuzaala ate ne simuwa kuwona?” Omukama bw'agamba. “Oba nze awa okuzaala ate nzigalira olubuto?” Katonda wammwe bw'agamba.
10
“Musanyukire wamu ne Yeruzaalemu, mumujagulizeeko mmwe abamwagala; musanyuke, mwenna ababadde bamukaabira,
11
mulyoke muyonke mukkute ku mabeere ge agakubagiza, mulyoke munywe nga bwe musanyuka ku mabeere ge agagabizza.”
12
Anti Omukama kino ky'agamba: “Nzija kukireetera eddembe eriri ng'omugga, n'ekitiibwa ky'amawanga ekiri ng'engezi ey'amaanyi; muliyonka ne musitulirwa mu mikono gye, mulibuusibwabuusibwa ku maviivi ge.
13
Ng'oli nnyina bw'amugumya, nange bwe ndibagumya; mulikubagizibwa mu Yeruzaalemu.
14
Bwe mulikiraba, emitima gyammwe girijaganya, amagumba gammwe galiyala ng'omuddo; omukono gw'Omukama gulimanyisibwa abaweereza be, naye abalabe alibalaga obusungu bwe.
15
Laba, Omukama ajjira mu muliro, ekigaali kye kiri nga kibuyaga, alage obusungu bwe n'obukambwe, era akomeko n'ennimi z'omuliro,
16
kubanga Omukama aliwa ensala ye n'omuliro, aliramula abantu bonna n'ekitala, era bangi Omukama b'alisanjaga.”
17
“Abo abeetukuza ne beewoomya balyoke bagende mu nnimiro, nga bagoberera oyo ali wakati, abalya ennyama y'embizzi, ebyenyinyalwa n'emmese, baliggwaawo lumu,” Omukama bw'agamba.
18
“Nze, olw'ebikolwa byabwe n'ebirowoozo byabwe, nzija kujja nkuŋŋaanye amawanga n'ennimi; balijja ne balaba ekitiibwa kyange.
19
“Ndibassaamu n'akabonero, era abamu ku bakaawonawo ndibasindika mu mawanga: e Tarusisi, Puli, Ludi, Meseke, Rosi, Tubali, mu Yavani ne mu bizinga ebiri ewala ebitawuliranga ku ttutumu lyange yadde okulaba ku kitiibwa kyange. Balirangirira mu mawanga gonna ekitiibwa kyange.
20
Era baliggya baganda bammwe bonna mu mawanga gonna ne babaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, mu Yeruzaalemu eri Omukama, ku mbalaasi, mu bigaali, ku nnyinyo, ku nnyumbu ne ku ŋŋamiya,” Omukama bw'agamba, “nga Abayisirayeli bwe batwalira mu kibya ekiyonjo ebitone byabwe eby'obuwunga mu nnyumba y'Omukama.
21
Era abamu mu bo ndibafuula bakabona n'Abaleevi,” Omukama bw'agamba.
22
“Kubanga ng'eggulu eriggya n'ensi empya, bye ndikola, bwe birinywerera mu maaso gange,” Omukama bw'agamba, “n'ezzadde lyammwe awamu n'erinnya lyammwe bwe birisigalawo.
23
“Okuva ku Kuboneka kw'Omwezi okumu okutuusa ku kulala, n'okuva ku Sabbaato emu okutuusa ku ndala, buli muntu alijja avunname mu maaso gange,” Omukama bw'agamba.
24
“Balifuluma ne batunula ku mirambo gy'abantu abanjeemeranga; envunyu yaabwe tegenda kufa, n'omuliro gwabwe tegulizikira, era baliba kyenyinyalwa eri abantu bonna.”
← Chapter 65
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66