bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 43
Isaiah 43
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 44 →
1
Kale nno bino by'agamba Omukama, oyo eyakutonda, ggwe Yakobo, oyo eyakubumba, ggwe Yisirayeli: “Totya, kubanga nkununudde; nkuyise n'erinnya lyo, oli wange.
2
Bw'onooyitanga mu mazzi, nnaabeeranga naawe; bw'onooyitanga mu migga, tegirikusaanyaawo; ne bw'olitambulira mu muliro togenda kwokebwa, n'ennimi zaagwo tezirikusenkenya.
3
Kubanga nze Mukama Katonda wo, Omutuukirivu owa Yisirayeli, Omulokozi wo; mpaayo Misiri ng'omutango, ne Kuusi ne Seba mu kifo kyo;
4
kubanga oli wa muwendo mu maaso gange; ossibwamu ekitiibwa era nkwagala; mpaayo abantu mu kifo kyo, mpaayo amawanga olw'obulamu bwo.
5
Totya, kubanga ndi naawe; abaana bo ndibaggya ebuvanjuba, ndikukuŋŋaanya okuva ebugwanjuba.
6
Ndigamba amambuka nti: ‘Baweeyo.’ N'amaserengeta nti: ‘Tobaziyiza.’ Batabani bange baggye ewala, ne bawala bange ku nkuzi y'ensi,
7
buli yenna ayitibwa erinnya lyange, gwe natonda olw'ekitiibwa kyange, gwe nabumba ne mmukola.
8
“Fulumya abantu bamuzibe, sso ng'amaaso balina, bakiggala sso ng'amatu balina.
9
Amawanga gonna gakuŋŋaane, abantu bajje wamu. Ani mu bo ayinza okulanga kino, n'alangirira gye tuli ebyakulembera? Kale baleete abajulirwa baabwe bakakase obutuufu bwabwe, n'abalala bawulire, bagambe nti: ‘Kituufu.’
10
Muli bajulirwa bange,” Omukama bw'agamba, “omuweereza wange gwe neeroboza, musobole okummanya n'okunzikiriza, n'okutegeera nti nze nzuuyo. Tewali lubaale yansooka kukolebwa, era teriba mulala alinzirira.
11
Nze, nze Mukama; tewali mulokozi mulala wabula nze.
12
Nabuulira ne mponya, ne nnangirira; nze, sso si lubaale w'ebweru mu mmwe; muli bajulirwa bange.” Omukama bw'agamba, “Nze Katonda,
13
okuva edda lyonna, ye Nze; tewali ayinza kuggya mu mikono gyange; bwe nkola, ani ayinza okukijjulula?”
14
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wammwe, Omutuukirivu wa Yisirayeli: “Olw'okubeera mmwe, nnaasindika mu Babiloni ne nzigyayo Abakaludeya bonna abaddukirayo mu maato mwe beewaanira; okuleekaana kw'Abakaludeya kulifuuka kukungubaga.
15
Nze Mukama, Omutuukirivu wammwe, Omutonzi wa Yisirayeli, Kabaka wammwe.”
16
Omukama kino ky'agamba, eyakola ekkubo mu nnyanja, eyakola akakubo mu mazzi ag'amaanyi,
17
eyaggyayo ebigaali n'embalaasi n'eggye ly'abatabaazi, bonna baagwa wansi, tebalisitukawo, bafuuyiddwa, bazikidde ng'enfuuzi:
18
“Leka kujjukira byayita, yadde obutaggya mwoyo ku by'edda.
19
Laba, nkola ekiggya, kigenda kivaayo; gwe tokiraba? Nkola oluguudo mu ddungu, n'emigga mu nkoola,
20
Ebisolo eby'ettale bingulumiza, ebibe ne maaya, kubanga ntadde amazzi mu ddungu; nkola oluguudo mu ddungu, n'emigga mu nkoola, mpe ekyokunywa abantu bange be neerondera,
21
abantu be neekolera, balangirire ettendo lyange.
22
“Naye, ggwe Yakobo, tewankoowoola; ggwe Yisirayeli, wanneetamwa bwetamwa.
23
Tewandeetera buliga bwa bitambiro ebyokye, yadde okungulumiza n'ebyonziira byo. Nze sikukaluubirizanga na bitone bya buwunga, yadde okukuzitoowereza nga nkusaba obubaani.
24
Tonguliranga na ssente zo lumuli lwa kawoowo, yadde okunzikusa amasavu ag'ebitambiro byo. Wabula onzisizza mugugu gwa bibi byo, onkooyezza na misango gyo.
25
“Nze, nze wuuyo asangulawo emisango gyo ku lwange, era sirijjukira bibi byo.
26
Nzijukiza, gira twogeranye; wa empoza yo olyoke wejjeerere.
27
Jjajjaawo eyasooka yasobya, n'abataputa bo baakola ekibi gye ndi.
28
Kyennava nnyonoona abakungu b'omu Kitukuvu kyange, Yakobo ne mmuwaayo asalirwe okuzikirizibwa, ne Yisirayeli ajolongebwe.”
← Chapter 42
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 44 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66