bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 7
Isaiah 7
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 8 →
1
Mu mirembe gya kabaka Akazi, mutabani wa Yotamu, mutabani wa Wuzziya kabaka wa Yuda, Rezini kabaka wa Aramu ne Peka mutabani wa Remaliya, kabaka wa Yisirayeli, ne bambuka okuzinda Yeruzaalemu, naye tebaasobola kukiwangula.
2
Ne babuulira Ennyumba ya Dawudi nti: “Aramu yeekobaanye ne Efurayimu.” Omutima gwe n'egy'abantu be ne gitengera ng'emiti gy'ekibira bwe giba nga giyuguumiziddwa kibuyaga.
3
Omukama n'agamba Yisaaya nti: “Genda, ggwe ne mutabani wo Seyari-Yasubu, osisinkane Akazi ku lusalosalo oluleeta amazzi mu Kidiba ky'Emambuka gye lukoma, mu kkubo eriraga ku Nnimiro y'Omwozi,
4
omugambe nti: ‘Laba eno! Kkakkana, leka kutya; omutima gwo guleke kutengera olw'obukuggu buno obubiri obw'enku obunyooka, yadde olw'okwesera kw'obusungu bwa Rezini n'obwa mutabani wa Remaliya,
5
kubanga Aramu, Efurayimu ne mutabani wa Remaliya bakwekobedde, nga bagamba nti:
6
“Tulumbe Yuda, tumutiise, tumwabuluzeemu, tumugabane; tuddire mutabani wa Tabeeli, tumufuule kabaka waayo.”
7
Omukama Katonda agamba bw'ati: “ ‘Tekijja kuyinzika, tekijja kubaawo.
8
Kubanga omutwe gwa Aramu ye Damasiko, ate omutwe gwa Damasiko ye Rezini. Ka wayite emyaka nkaaga mu etaano, Efurayimu aliba asesegguddwa nga takyali ggwanga.
9
Omutwe gwa Efurayimu ye Samariya, omutwe gwa Samariya ye mutabani wa Remaliya. Bwe mutaasigale nga muli bagumu, temugenda kunywera n'olumu.’ ”
10
Omukama n'ayogera ne Akazi nate, n'agamba nti:
11
“Weesabire eri Omukama Katonda wo akabonero, oba kuva wansi ekkuzimu, oba waggulu mu ggulu eyo.”
12
Naye Akazi n'agamba nti: “Sijja kusaba, sijja kukema Mukama.”
13
Awo Yisaaya n'agamba nti: “Kale nno wulira, ggwe Ennyumba ya Dawudi; tekikumalira kukooya bantu, kyova okooya ne Katonda wange?
14
Olw'ekyo nno Omukama yennyini y'alibawa akabonero: Laba, omuwala embeerera anaaba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi; alimutuuma Yimmanweli.
15
Aliryanga muzigo na mubisi gwa njuki bw'aliba afunye amagezi ag'okwesammula ekibi n'okulondawo ekirungi.
16
Naye omwana aliba tannamanya kwesammula kibi na kulondawo kirungi, ensi omuli bakabaka ababiri abakutiisa eriba efuuse matongo.
17
Katonda alikuleetera, ggwe n'abantu bo n'amaka ga kitaawo, ekiseera ekitabangawo kasookedde Efurayimu ayawukana ku Yuda, kabaka wa Assuri.
18
“Ku olwo, Omukama alifuuyira oluwa ensiri okuva ku migga gy'ewala mu Misiri, n'enjuki okuva mu nsi ya Assuri.
19
Zirijja ne zikkalira mu nkonko empanvu ne mu mpampagama z'enjazi, ne mu bisaka by'amaggwa na ku buli awasenebwa amazzi.
20
“Ku olwo Omukama aliddira akamwano akeeyazikiddwa emitala w'Omugga, ne kabaka wa Assuri, n'amwa emitwe gyammwe, n'amwa n'obwoya obw'oku magulu, n'abaggyako n'ekirevu.
21
Ku olwo omuntu alisigaza ennyana y'ente n'endiga bbiri;
22
olw'obungi bw'amata amangi ge zinaawanga, ajjanga kulya muzigo; na buli muntu aliba asigadde mu nsi anaalyanga muzigo na mubisi gwa njuki.
23
“Ku olwo buli awaabanga emizabbibu olukumi egiweramu sekeli lukumi, walibaawo nkandwa na maggwa byokka.
24
Abantu baligendangayo na busaale na mitego kubanga ensi eriba emezezza wonna enkandwa n'amaggwa.
25
N'ensozi ezaali zirimiddwa n'enkumbi temuligendayo olw'okutya enkandwa n'amaggwa; birifuuka bifo ente gye ziteerwa n'endiga gye zirinnyirira.”
← Chapter 6
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 8 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66