bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 14
Isaiah 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
1
Omukama aliddiramu Yakobo, n'addamu okulonda Yisirayeli; alibatebenkeza ku ttaka lyabwe. Ab'amawanga balibeegattako ne beeyunga ku nnyumba ya Yakobo.
2
Amawanga galibaddira ne gabatuusa mu kifo kyabwe; ennyumba ya Yisirayeli eribafuula baayo mu nsi y'Omukama ng'abaddu n'abazaana. Baliwamba abaali babawambye, ne bafuga abaali babanyigiriza.
3
Ku olwo Omukama bw'alikuwa akalembereza n'oweerako ku bulumi, obwegugungo n'agalimu amazito ge wali ossiddwako,
4
otontomanga ekitontome kino ng'ovumirira kabaka w'e Babiloni nti: “Omuwalanye akomye atya? Obusungu bwe buwedde butya?
5
Omukama amenye omuggo gw'abakola obubi, ddamula w'abafuzi,
6
oyo akuba abantu n'obusungu, n'emiggo egitasalawo, n'afuga amawanga n'obukambwe, n'ebiyigganyizo ebitaliiko kuweera.
7
Ensi yonna ewummudde, esiriikiridde, esaakaanya n'ennyimba.
8
N'emiti gya sipulaasi n'entolookyo za Lebanoni gikweyagalirako ne gigamba nti: ‘Omaze n'otoowazibwa, tewali anaasituka kujja kututema.’
9
Amagombe wansi eyo gagugumuse, gajja okukusisinkana ng'otuuka; gasitudde emizimu okukulamusa, bonna abaali abakulembeze ku nsi. Gabaggya ku nnamulondo zaabwe bakabaka bonna abaali bakabaka b'ensi.
10
Bonna balyanukula, ne bakugamba nti: ‘Naawe onafuye nga ffe; ofuuse nga ffe!’
11
Olwetumbu lwo luserengeseddwa emagombe wamu n'amaloboozi ag'entongooli zo; envunyu ze zaaliiridde wansi wo, ensiriŋŋanyi zikubisse,
12
Wawanuka otya mu ggulu, ggwe emmunyeenye y'oku makya, mutabani wa mmambya? Otemeddwa otya n'ogwa ku ttaka, ggwe eyafufuggazanga amawanga?
13
Mu mutima gwo eyagambanga nti: ‘Nzija kulinnya mu ggulu, nnamulondo yange ngisukkulumye waggulu w'emmunyeenye za Katonda; ŋŋenda kutuula ku nnamulondo, ku lusozi olukuŋŋaanirwako, ewala eyo emambuka;
14
nzija kutumbiira waggulu mpise n'ebire, nenkane oyo Ali waggulu ddala.’
15
Naye oserengeseddwa wansi mu magombe, mu nnyanga y'obunnya.
16
Abakulaba bakutunuulira ne beewuunya ekikutuuseeko nti: ‘Ono si ye musajja eyakankanyanga ensi eyayuuguumya obwakabaka?
17
Eyafuula ensi amatongo, n'asaanyaawo ebibuga byayo, atakkirizanga basibe kudda ka?’
18
“Bakabaka bonna ab'amawanga bagalamidde mu kitiibwa, buli omu mu ntaana ye;
19
wabula ggwe okasukiddwa ebweru w'entaana yo, ng'ettabi eryenyinyalwa, ovungiddwavungiddwa wamu n'abattibwa, abaasoggwa ekitala, ne bakkirira mu mayinja g'obunnya; ng'omulambo ogulinnyiriddwa.
20
Tolibeegattako mu kuzikirizibwa, kubanga wayonoona ensi yo, watta abantu bo. “Bazzukulu b'abo abakola obubi tebagenda kukoowoolwa emirembe gyonna.
21
Abaana be mubategekere aw'okusanjagirwa, olw'ebibi bya kitaabwe, baleme kuddamu kusituka na kwefuga nsi n'okubunya enkulungo y'ensi n'ebibuga byabwe.
22
“Ndibasitukiramu,” Omukama w'Amagye bw'agamba, “ne nsangulawo mu Babiloni erinnya lye n'erinnya ly'abaliba basigaddewo, ery'abaana n'abazzukulu,” Omukama bw'agamba.
23
“Ndikifuula ekisulo kya nnamunnungu, ndikifuula bidiba bya mazzi, era ndikyerawo n'olweyo olw'okuzikiriza,” Omukama w'Amagye bw'agamba.
24
Katonda w'Amagye yalayira nti: “Nga bwe nategeka, era bwe kiriba, nga bwe nateesa era bwe kirituukirizibwa,
25
nti Omwassuri ndimubetentera mu nsi yange, ndimulinnyirira ku lusozi lwange, ekikoligo kye kiriggyibwa ku bantu bange, n'eggugu lye liribaggyibwa ku kibegabega.
26
Eno ye ntegeka ekoleddwa ensi yonna, era guno gwe mukono ogugololeddwa ku mawanga gonna.”
27
Kubanga Omukama w'Amagye y'akitegese, ani anaamuziyiza? Omukono gwe gugoloddwa, ani anaaguzza?
28
Obubaka buno bwajjira mu mwaka kabaka Akazi mwe yafiira:
29
“Leka kusanyuka wenna ggwe Filisitiya, kubanga omuggo gw'oyo abadde akukuba gumenyese, kubanga ku kikolo ky'omusota kujja kusibukako enswera, ate akaana kaayo kalifuuka ebbuukizi ery'obusagwa.
30
Era abaggulanda b'abaavu balizuula amalundiro, n'abanaku baliwummula mu ddembe: naye ekikolo ekikyo ndikissa enjala, n'ababo abaliba basigaddewo ndibasanjaga.
31
Ggwe wankaaki, kuba ebiwoobe, tema emiranga, ggwe ekibuga, Buli Mufilisitiini atengere olw'okutya, kubanga omukka gufubutuse emambuka, ate mu magye ge temuli akwebera.
32
Ababaka b'eggwanga eryo balyanukulwa batya? ‘Omukama abanzeewo Siyoni; mu kyo abanaku be mwe balyewogoma.’ ”
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66