bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 37
Isaiah 37
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 38 →
1
Kabaka Kezekiya olwabiwulira, n'ayuza ebyambalo bye, n'ayambala ekikutiya n'ayingira mu Kiggwa ky'Omukama.
2
Yasindika ewa Yisaaya omulanzi mutabani wa Amozi Eliyakimu katikkiro w'olubiri, ne Sebuna omuwandiisi na bonna abakulembera mu bakabona, nga bambadde ebikutiya.
3
Ne bamugamba nti: “Kezekiya kino ky'agamba: ‘Luno olunaku lwa buyinike, lwa kugugumbulwa, lwa nsonyi ng'abaana abatuuse ku kuzaalibwa naye nga temuli twanyi tubazaala.
4
Oboolyawo ng'Omukama Katonda wo awulidde ebigambo byonna eby'omusenero omukulu, mukama we kabaka wa Assuri gw'atumye okuvuma Katonda omulamu. Oboolyawo Omukama Katonda wo anaabonereza ebigambo by'awulidde. Kale nno sabira kaawonawo akyasigaddewo.’ ”
5
Abaweereza ba kabaka Kezekiya bwe bajja ewa Yisaaya,
6
Yisaaya n'abagamba nti: “Kino kye munaagamba mukama wammwe: ‘Omukama kino ky'agamba: Leka kutya bigambo by'owulidde, ebyo obulenzi bwa kabaka wa Assuri bye bunvumye.
7
Laba, nzija kumussaamu omwoyo nti olunaawulira olugambo, ng'addayo mu nsi ye; eyo mu nsi gye nnaamukubira n'ekitala.’ ”
8
Omusenero omukulu n'addayo, kubanga yali awulidde nti kabaka wa Assuri yali avuddeyo mu Lakisi; yasanga kabaka wa Assuri alumbye Libuna.
9
Sennakeribu yali awulidde nti: “Tiruwaka kabaka w'e Kuusi asitudde, ajja okukutabaala,” n'asindika ababaka ewa Kezekiya ng'abagambye nti:
10
“Bino mubigambe Kezekiya kabaka wa Yuda nti: ‘Katonda wo gwe weesiga takuyinula ng'ogamba nti: “Yeruzaalemu tekiweebwe mu mikono gya kabaka wa Assuri.”
11
Ggwe wennyini weewulirira bakabaka ba Assuri bye baakola ensi zonna, nga bwe baazisaanyaawo. Ggwe onoowona?
12
Balubaale b'amawanga bajjajjange ge baaleka amatongo baasobola okubawonya? Nga Gozani, Karani, ne Rezefi, n'abantu ba Edeni abaali mu Teli Assari?
13
Kabaka w'e Kamati ali ludda wa? Ate ow'e Arupadi, ne kabaka w'ekibuga Sefaruvayimu, owa Ena n'ow'e Yivva?’ ”
14
Kezekiya n'aggya ebbaluwa eyo mu mikono gy'ababaka n'agisoma, n'ayambuka mu Kiggwa ky'Omukama, n'agyanjululiza mu maaso g'Omukama.
15
Kezekiya ne yeegayirira mu maaso g'Omukama ng'agamba nti:
16
“Ayi Mukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, awaŋŋamye wakati mu bakerubi, wekka ggwe Katonda afuga obwakabaka bwonna ku nsi. Ggwe wakola eggulu n'ensi.
17
Tega okutu kwo, ayi Mukama, owulire; zibula amaaso, ayi Mukama, olabe; wulira ebigambo byonna ebya Sennakeribu by'aweerezza okuvuma Katonda omulamu.
18
Kituufu, ayi Mukama, bakabaka ba Assuri baazikiriza amawanga n'ensi zaabwe.
19
Balubaale baabwe baabasuula mu muliro ne babengeya, kubanga anti tebaali balubaale, wabula biti na mayinja, abantu obuntu bye baakola n'emikono gyabwe.
20
Naye nno, ayi Mukama Katonda waffe, tulokole mu mikono gye, buli bwakabaka bwonna obw'ensi bumanye nti wekka, ayi Mukama, ggwe Katonda.”
21
Yisaaya mutabani wa Amozi n'aweereza Kezekiya obubaka ng'agamba nti: “Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Olw'essaala gy'osabye gye ndi ku lwa Sennakeribu kabaka wa Assuri,
22
kino kye kigambo Omukama ky'amwogeddeko: “ ‘Embeerera muwala wa Siyoni akugaye n'akusekerera; muwala wa Yeruzaalemu anyeenya mutwe emabega wo.
23
Ani gw'ojooze? Ani gw'ovumye? Ani gw'owogganidde? Ani gw'okimbye? Ye Mutuukirivu wa Yisirayeli!
24
Oyise mu baweereza bo n'ovuma Omukama. N'ogamba nti: “N'enkumuliitu y'ebigaali byange mpalampye entikko z'ensozi, mu masosso ga Lebanoni. Natema entolookyo zaakwo empagguufu, ne sipulaasi waakwo omulungi. Nakyesonseka okutuuka gye kikoma ekibira gye kibisse.
25
Nasima enzizi ne nnywa amazzi; n'ebigere byange ne nkaza emigga gyonna egy'e Misiri.”
26
“ ‘Towuliranga nti nakitegeka kuva dda? Obwedda n'obwedda nga nkitegeka. Kati nkituukirizza: Nti ojja kuzikiriza ebibuga okuli ebigo bifuuke ntuumu za mayinja.
27
Ababibeeramu obuyinza bubawedde; batekemuse, baswadde. Bafuuse ng'omuddo gw'ettale, ng'omuddo ogwakamera, ng'essubi ly'oku kasolya, erikala nga terinnakula.
28
Mmanyi bw'otuula, bw'ogenda ne bw'odda, ko n'obusungu bw'onninako.
29
Olw'okubeera obusungu bw'onninako, nga n'okwekuza kwo kutuuse mu matu gange, kale nno nzija kussa empeta mu nnyindo zo n'eddobo mu kamwa ko, nkuddizzeeyo mu kkubo mwe wafuluma ng'ojja.’
30
“Kati ggwe, Kezekiya, kano ke kabonero kw'onoolabira: “Mu mwaka guno ojja kulya ebyemeza byokka; mu mwaka ogwokubiri olye ebimererezi. Naye mu gwokusatu musige, mukungule, musimbe emizabbibu, mulye ebibala byakwo.
31
Kaawonawo asumattuse mu nnyumba ya Yuda alisimba emirandira wansi, n'assaako ebibala waggulu.
32
Kubanga mu Yeruzaalemu mulivaamu abalisigalawo, ne ku lusozi Siyoni bakaawonawo abasumattuse. Okutakabana kw'Omukama w'Amagye kwe kulikola ekyo.
33
“Kale nno Omukama kino ky'ayogera ku kabaka wa Assuri: “ ‘Tajja kuyingira kibuga kino, yadde okukirasaamu akasaale. Talikisemberera ng'akutte engabo, yadde okukituumako embibiro.
34
Mu kkubo eryamuleeta mw'aliddirayo; ekibuga kino talikiyingira;’ bw'agambye Omukama,
35
‘nzija kutaasa ekibuga kino nkiwonye ku lwange ne ku lwa Dawudi omuweereza wange.’ ”
36
Mu kiro ekyo kyennyini, malayika w'Omukama yagenda mu lusiisira lw'Abassuri n'attamu abasajja akasiriivu kamu mu emitwalo munaana mu enkumi ttaano. Abantu bwe baazuukuka ku makya, bonna nga mirambo, bafu!
37
Sennakeribu kabaka wa Assuri n'amenya olusiisira, n'agenda. Yaddayo mu Nineve, n'abeera eyo.
38
Olumu bwe yali ng'asinza mu kiggwa kya Nisuroki lubaale we, batabani be Adurameleki ne Sareezeri ne bamutta n'ekitala, ne baddukira mu nsi y'e Ararati; Esari-Kaddoni mutabani we n'amusikira ku bwakabaka.
← Chapter 36
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 38 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66