bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 28
Isaiah 28
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 29 →
1
Zikusanze engule y'okwekuza kw'abatamiivu ba Efurayimu, n'ekimuli kyayo ekigenda kisiiwuuka eky'ekitiibwa ky'ettendo lye, ebiri waggulu w'ekiwonvu ekigimu eky'abo abameggeddwa omwenge!
2
Omukama wuuyo alinawo omu ow'obuyinza ate ow'amaanyi; nga kibuyaga ow'omuzira oba nga kikuŋŋunta ddekabusa, ng'enkuba ey'amaanyi oba ng'enkuba ey'amataba, alibamegguza n'amaanyi wansi.
3
Engule ey'okwekuza kw'abatamiivu ba Efurayimu eririnnyirirwa n'ebigere,
4
n'ekimuli ekigenda kisiiwuuka eky'ekitiibwa eky'ettendo lye, ekiri waggulu w'ekiwonvu ekigimu, kiriba ng'ekibala ky'omukunyu ekyengera ng'ekyeya tekinnaba; omuntu olukiraba n'akikwatako mu ngalo ze, alya kirye.
5
Ku olwo Omukama w'Amagye y'aliba engule ey'ekitiibwa, omuge ogw'ettendo ogw'abaliba basigaddewo ku bantu be;
6
y'aliba omwoyo ogw'obwenkanya mu oyo atudde okulamula, era amaanyi g'abo abazza olutalo ennyuma nga luli ku wankaaki.
7
Kituufu na bano bataga olw'evviini, abayenja olw'omwenge: bakabona n'abalanzi bataga olw'omwenge, evviini ebamazeemu, bayenja olw'omwenge, bawaba mu kulabikirwa, beesittala nga bawa ennamula.
8
Anti emmeeza zaabwe zonna zijjudde bisesemye, tewali kafo katabikkiddwa bugwenyufu.
9
“Ani gw'anaayigiriza okumanya? Ani gw'anannyonnyola obubaka?” Abaana abaakaleka okuyonka, oba abo abakaggyibwa ku mabeere?
10
Na bino: “Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro; tteeka ku tteeka, tteeka ku tteeka; akatono wano, akatono wali.”
11
Kubanga abantu aboogera engeri n'ab'ennimi engwira Omukama mw'aliyita okwogera n'abantu bano.
12
Kino Omukama kye yali abagambye nti: “Wano wa kuwummulira, muleke akooye awummule;” era nti “Buno buwummuliro,” naye tebaayagala kuwuliriza.
13
N'olw'ekyo nno, ekigambo ky'Omukama ku bo kirifuuka: Kiragiro ku kiragiro, kiragiro ku kiragiro; tteeka ku tteeka, tteeka ku tteeka; akatono wano, akatono wali. Balyoke bagende, basirittuke ekyennyumannyuma, bamenyeke, bagwe mu mutego, bawambibwe.
14
N'olw'ekyo, muwulire ekigambo ky'Omukama, mmwe abaduuze, mmwe abafuga abantu bange abali mu Yeruzaalemu;
15
anti mubadde mwetenda nti: “Twakola endagaano n'olumbe, twakkaanya n'amagombe, akabenje ddekabusa bwe kaliyita, tekalitutuukako, kubanga obulimba tubufudde obuddukiro bwaffe, n'obukuusa tubufudde obwewogomo.”
16
Omukama Katonda agamba kino nti: “Laba, nsimbye ejjinja mu Siyoni, ejjinja eggumu, ejjinja eryakakasibwa, erinyweza ensonda, ery'omuwendo, ejjinja eggumu olw'omusingi; alikkiriza tagenda kwesittala.
17
Obutuufu ndibufuula olukoba olupima, obutuukirivu bwe ndifuula akaliiso, omuzira gw'amayinja gwe gulimalawo obuddukiro bwo obw'obulimba; n'amazzi galyanjaalira mu bwewogomo bwo.
18
Endagaano yo n'olumbe erisangulibwawo; okukkaanya kwammwe n'amagombe tekulisigalawo; akabenje ddekabusa bwe kaliyita, kalibalinnyirira.
19
Buli lwe kanajjanga, kanaabatwalanga; kanaayitanga ku makya buli lunaku, buli misana na buli kiro.” Obubaka buno bwe bulitegeerwa, kigenda kuleeta ntiisa njereere.
20
Kubanga ekitanda kiyinze obumpi okusobola okwegololerako, n'ekyebikkwa kifunze okukubikka wenna.
21
Omukama alisituka nga bwe yakola ku lusozi Perazimu, ajja kugugumuka nga bwe kyali mu kiwonvu ky'e Gibewoni; okutuukiriza ekikolwa kye, ekikolwa eky'engeri. akole omulimu gwe, omulimu ogutali gwa bulijjo.
22
Kale nno eby'okunyooma mubiveeko, sikulwa ng'envuba zammwe zinyuunyuulibwa, kubanga mpulidde ekiragiro eky'okuzikiriza eggwanga lyonna nga kiva ew'Omukama Katonda w'Amagye.
23
Mutege amatu, muwulire eddoboozi lyange; mutegereze, muwulire bye ŋŋamba:
24
“Alima aw'okusiga, alima butamala? Abeera awo ng'akabaalirira, ng'akuubakuba amavuunike ge?
25
Bw'amala okwanjala, tasigamu mpinnamuti, n'amansaamu ne kontamiiri, eŋŋano n'agisimba mu kifo kyayo ne sayiri awawe, ate kusemesi n'abeera ku lubibiro?
26
Anti Katonda we amusomesa ennamula, amuyigiriza mu ngeri entuufu.
27
Empinnamuti tezisekulibwa na musekuzo, yadde ekigaali okuyisibwa ku kontamiiri; wabula empinnamuti zikubibwa na muggo, ne kontamiiri awuulibwa buwuulibwa.
28
Eŋŋano esekulibwa busekulibwa? Nedda, tewuulibwa butamala; bw'agiyisaako nnamuziga y'ekigaali kye n'embalaasi ze, tagisa.
29
Na kino nno kiva ew'Omukama w'Amagye; eyeewuunyisa mu kubuulirira, era omukulu mu magezi.”
← Chapter 27
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 29 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66