bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 16
Isaiah 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 17 →
1
Musindike akaliga eri abafuga ensi okuva e Sela mu ddungu okutuusa ku lusozi lwa muwala wa Siyoni.
2
Ng'ebinyonyi ebipaapaala nga bigobeddwa mu kisu, ne bawala ba Mowabu bwe bali ku misomoko gya Arunoni:
3
“Tusalire ku magezi, tusalirewo. Ekisiikirize kyo kifuule ng'ekiro mu ttuntu wakati; abadduka bakweke, ababungeeta tobawaayo.
4
Abadduse mu Mowabu babudame mu ggwe; babeerere obwewogomo ku bazikiriza.” Abonyaabonya ng'awedde, n'okuzikiriza nga kukomye, n'oyo abadde alinnyirira abuzeewo mu nsi.
5
Nnamulondo erissibwawo mu kwagala, era aligituulako mu bwesigwa oyo eyava mu weema ya Dawudi, agoberera obwenkanya ng'alamula, era ayanguwa okukola ebikolwa eby'obutuukirivu.
6
Twawulira ku kwekuza kwa Mowabu, ku kwekuza kwe okungi n'olwetumbu lwe, okwekuza kwe n'amampaati ge, naye okwewaana kwe temuli.
7
N'olw'ekyo Mowabu akuba ebiwoobe; bonna bakubira Mowabu ebiwoobe. Bakaabira obugaati bw'emizabbibu emiwotose obw'omu Kiri-Kareseti.
8
Ennimiro z'e Kesuboni ziwotose era n'emizabbibu gy'e Sibuma; abafuzi b'amawanga basambiridde emizabbibu gye emimyufu, egyatuukanga n'e Yazeri, ne girandira ne mu ddungu; obulokolerwa bwagyo bwabuna wonna, ne butuuka ne ku nnyanja.
9
Kyenva ngatta amaziga ne Yazeri okukaabira emizabbibu gya Sibuma; nkutobezza n'amaziga gange, O Kesuboni! O Eleyale! kubanga ku bibala byo eby'ekyeya ne ku makungula go obuluulu bukomye.
10
Era essanyu n'okweyagala bigiddwawo mu nnimiro z'ebibala; tewakyali luyimba na kuyoogaana kwa ssanyu mu nnimiro y'emizabbibu, tekyali asogola ku ssogolero, kubanga okukuba obuluulu kukomye.
11
Omutima gwange kyeguva gulirira Mowabu ng'ennanga, enda yange n'enkaabira Kiri-Kareseti.
12
Mowabu bw'alabika ku bifo ebigulumivu yeekooyeza bwerere; bw'ayingira mu kiggwa kye okwegayirira, talina ky'agasirwa.
13
Ekyo kye kigambo Omukama kye yayogera luli ku Mowabu.
14
Kale nno Omukama agamba nti: “Mu myaka asatu, ng'omupakasi bw'agibalirira, ekitiibwa ky'e Mowabu kijja kunyoomebwa wamu ne nnamungi yenna ow'abantu be; abalisigalawo baliba batono ate nga bayenjebufu.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66