bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 22
Isaiah 22
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 23 →
1
Obubaka ku Kiwonvu ky'Okulabikirwa: Kiki ekibatuuseeko, mulyoke mwenna mulinnye ku busolya waggulu,
2
ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano, ekibuga eky'akabuguutano, ekijjudde amasanyu? Abantu bo abafumitiddwa, tebafumitiddwa kitala, era tebafiiridde mu lutalo.
3
Abafuzi bammwe bonna baddukidde wamu, bawambiddwa awatali na kasaale kalasiddwa; mwenna abaawambibwa, mwatwalibwa wamu mu busibe newandibadde nga baali baddukidde wala.
4
Kyenvudde ŋŋamba nti: “Munveeko, mutunule eri; ka nkaabe n'ennyiike; muleke kunkubagiza olw'okuzikirira kw'abaana bange.”
5
Kubanga Omukama Katonda w'Amagye ategeseewo olunaku olw'akasattiro, okulinnyirira n'entiisa mu Kiwonvu ky'Okulabikirwa; olunaku olw'okumenya ebigo n'okuyoogaanira ku nsozi.
6
Ate Elamu akutte omufuko gw'obusaale, ebigaali n'abeebagadde embalaasi, ne Kiri abikkudde engabo.
7
Ebiwonvu byo ebirungi ddala bijjudde ebigaali, ate abeebagadde embalaasi basimbiddwa ku miryango.
8
Aggyeewo ebitaasa Yuda. Ku olwo mwerabirako ku byokulwanyisa by'Olubiri lw'Ekibira;
9
mwalaba ebifulukwa bwe byali ebingi mu Kibuga kya Dawudi, era mwekuŋŋaanyiza amazzi mu Kidiba ky'Emmanga;
10
mwabala amayumba g'omu Yeruzaalemu, ne mumenya amayumba okunyweza bbugwe.
11
Wakati w'ebigo ebibiri mwakolawo akayanja okukuŋŋanyizaamu amazzi g'Ekidiba Ekikadde. Kyokka temwatunuulira Oyo Eyakola ebyo, yadde okulowooza ku oyo eyabitegeka okuva ddi.
12
Ku olwo Omukama Katonda w'Amagye yakuyita okukaaba n'okukungubaga, okwemwa enviiri n'okwambala ebikutiya.
13
Naye laba, ate kati ssanyu na kujaganya, kubaaga nte na kutta ndiga, kulya nnyama na kunywa mwenge: “Ka tulye, tunywe, anti enkya tujja kufa.”
14
Omukama w'Amagye yennyini y'ambikkulidde kino mu matu gange nti: “Mazima ddala ekibi kino tekiribasonyiyibwa okutuusa lwe mulifa.” Omukama Katonda w'Amagye bw'agambye.
15
Omukama Katonda w'Amagye agamba bw'ati: “Genda ew'omuweereza ono, eri Sebuna omukulu w'olubiri, omugambe nti:
16
‘Oyagala ki wano? Ani yakuwa obuyinza olyoke weesimire wano entaana? Weesimira waggulu entaana nnyini, weewuukulira mu lwazi ekisulo.
17
Weetegereze, ggwe ow'amaanyi, Omukama ajja kukukwatamu olukwata, akumegguze eri.
18
Ddala ajja kukuzingazinga ng'omupiira, akukanyuge eri mu nsi eyeetadde; eyo gy'olifiira; era eyo ebigaali byo ebirungi obulala gye biribeera, ggwe ensonyi eri ennyumba ya mukama wo.
19
Nzija kukugoba ku kifo kyo, ojja kusiguukululwa ku buweereza bwo.’
20
“Ku olwo ndiyita omuweereza wange Eliyakimu, mutabani wa Kilukiya,
21
ne mmwambika omunagiro gwo, ne mmusiba ekimyu kyo, obuyinza bwo ne mbussa mu mikono gye. Y'alibeera kitaawe w'abatuuze b'omu Yeruzaalemu n'ab'omu nnyumba ya Yuda.
22
Nzija kussa ku kibegabega kye ekisumuluzo ky'Ennyumba ya Dawudi; bw'aliggulawo tewaliba aggalawo; bw'aliggalawo tewaliba aggulawo.
23
Nzija kumusimba ng'enkondo mu kifo ekinywevu, aliba nnamulondo ey'ettendo eri ennyumba ya kitaawe.
24
Ekitiibwa kyonna eky'ennyumba ya kitaawe kyesigamye ku ye, abaana n'abazzukulu, buli bibumbe byayo byonna, okuva ku bikopo okutuuka ku nsumbi.
25
Ku olwo,” Omukama w'Amagye y'ayogera, “enkondo ekomereddwa mu kifo ekinywevu erisimbuka; egenda kukuulibwa egwe, n'obuzito bwonna obugiwanikiddwako bulitemwawo.” Omukama y'ayogedde.
← Chapter 21
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 23 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66