bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 24
Isaiah 24
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 25 →
1
Laba, Omukama ajja ensi okugireka ettayo, agivunjage; aligyonoona endabika yaayo, asaasaanye abagirimu,
2
ng'abantu bwe bali, ne kabona bw'aliba; ng'omuddu bw'ali, ne mukama we bw'aliba; ng'omuzaana bw'ali, ne mugole we bw'aliba; ng'omuguzi bw'ali, n'omutunzi bw'aliba; ng'omuwozi bw'ali, n'omwewozi bw'aliba; ng'abanja bw'ali, n'abanjibwa bw'aliba.
3
Ensi erifuukira ddala matongo, eriyayibwa n'enyagibwa, kubanga Omukama y'ayogedde ekigambo ekyo.
4
Ensi ekaaba, ewotose, ensi eyongobedde, ekala; abatutumufu mu nsi bayongobedde.
5
Ensi ejaajaamiziddwa abantu baayo, kubanga bamenye amateeka, boonoonye ebiragiro, bamenye endagaano ey'olubeerera.
6
N'olw'ekyo ekikolimo ensi kigimazeewo, n'abantu baayo bazzizza omusango; n'olw'ekyo abagirimu bookeddwa, musigadde batono.
7
Evviini ensu ekalira n'omuzabbibu guwotose; bonna abaali ab'omutima omusanyufu basinda;
8
Essanyu ly'eŋŋoma lyakoma, emizira gy'ababinuka gyalekera awo; essanyu ly'entongooli lyakoma.
9
Tebanywa mwenge nga bwe bayimba; n'abanywa omwenge gubakaayirira.
10
Ekibuga ekyaseseggulwa kati matongo, buli nnyumba nzigale, tekyayingirwa.
11
Mu nguudo baleekaana olw'ebbula ly'omwenge; essanyu lyonna obudde bulizibiridde, okusanyuka kuggweeredde ddala mu nsi.
12
Ekibuga kyonna matongo, wankaaki w'ekibuga ayasiddwayasiddwa.
13
Bwe kiriba kityo mu nsi, era ne mu mawanga, kyenkana nga bwe banyeenya omuti gw'oliva, ng'okulondalonda emizabbibu ng'amakungula gaagyo gawedde.
14
Bakangula ku maloboozi gaabwe, ne bayimba n'essanyu, baliyima ebuvanjuba ne babbiramu ekitiibwa ky'Omukama.
15
Olw'ekyo, ebuvanjuba mugulumize Omukama; mutendereze erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli ku lubalama lw'ennyanja.
16
Tuwulira ennyimba eziva mu nsonda z'ensi nti: “Ekitiibwa kibeere eri Oyo Omutuukirivu.” Naye nze ŋŋamba nti: “Nzigwekerera, nzigwekerera! Zinsanze! Abalimba balyamu nkwe; n'obulimba bwabwe beeyongedde okulyamu enkwe.”
17
Entiisa, bunnya, na bitimba bye bitulindiridde, ggwe ali mu nsi.
18
Alidduka ng'awulidde ekyekango, aligwa mu bunnya; aliva mu bunnya, aligwa mu kitimba. Ebiyiriro by'eggulu bigguse, n'omusingi gw'ensi gukankana.
19
Ensi esesegguse, ensi eyatiseyatise ensi enyeenyezeddwa yonna.
20
Ensi etagala butagazi ng'omutamiivu, eyuuga ng'akasiisira k'omukuumi; obujeemu bwayo bugizitoowerera; bw'eneegwa, teddeyo kusituka.
21
Ku olwo Omukama alibonereza ab'obuyinza waggulu mu ggulu, ne bakabaka b'ensi ku nsi.
22
Balisibirwa wamu ng'abasibe abasibire mu nvuba, baliggalirwa mu kkomera, ate nga wayise ennaku nnyingi balibonerezebwa.
23
Omwezi guliswala n'enjuba ensonyi zirigikwata; kubanga Omukama w'Amagye aliramula ku lusozi Siyoni ne mu Yeruzaalemu, alyoleka abakadde ekitiibwa kye.
← Chapter 23
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 25 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66