bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 13
Isaiah 13
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
1
Obubaka ku Babiloni Yisaaya mutabani wa Amozi bwe yalaba:
2
Musitule bendera ku ntikko y'olusozi enjereere, muleekaanire gye bali, mubawenyeko; bayingire mu miryango gy'abakungu.
3
Nze ndagidde abatukuvu bange, mpise abazira bange batuukirize obusungu bwange, abajaguliza mu buwanguzi bwange.
4
Wulira, okuleekaana mu nsozi, kuli ng'okw'abantu abangi. Wulira, oluyoogaano mu mawanga, luli ng'olw'amawanga ageekuŋŋaanya awamu. Omukama w'Amagye akunga eggye.
5
Bava mu nsi ey'ewala, eri ku nkingi z'eggulu, Omukama n'ebyokulwanyisa by'obusungu bwe, bazikirize ensi yonna.
6
Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lw'Omukama lutuuse; lujja kujja ng'okwaya okuva ew'Omuyinza wa buli kantu.
7
Olw'ekyo, emikono gyonna giriragaya, na buli mutima gwa muntu gulimutekemuka.
8
Balitekemuka; obuyinike n'obulumi biribakwata; balyenyoola ng'omukazi mu kulumwa; buli omu alitunuulira munne ng'awuniikiridde; ng'amaaso gabaaka omuliro.
9
Olunaku lw'Omukama luulwo lujja; olw'obukambwe, obukaali n'obusungu obwesera; ensi lwa kugifuula matongo, aboonoonyi abalimu bazikirizibwe.
10
Kubanga emmunyeenye n'ebibinja byazo, tebiriwa kitangaala kyabyo; enjuba evaayo erifuulwa kizikiza, n'omwezi teguliwa kitangaala kyagwo.
11
Ensi ndigibonereza olw'ebibi byayo, n'ababi olw'ebyonoono byabwe; ndikomya olunkulu lw'abeekuza, ndikakkanya amampaati g'abakambwe.
12
Omuntu ndimufuula wa kkekwa okukira zaabu omukuŋŋunte, aliba wa munyoto okukira zaabu we Ofiri.
13
N'olw'ekyo ndikankanya eggulu, n'ensi erinyeenya okuva mu kifo kyayo, olw'obuswandi bw'Omukama w'Amagye, ku lunaku lw'obusungu obwesera.
14
Ng'ennangaazi gye bayigga, oba endiga etaliiko musumba, balidda buli omu mu bantu be, balidda buli omu mu nsi ye.
15
Buli yenna alisangirizibwa, alifumitibwa; buli yenna alikwatibwa, alifa kitala.
16
Abaana baabwe baliseseggulwa obulere mu maaso gaabwe; amaka gaabwe galinyagibwa ne bakazi baabwe baligwagwawazibwa.
17
Laba, nzija kubasiikuulira Abamedi, abatafa ku ffeeza, yadde okusanyukira zaabu.
18
Obusaale bwabwe buliseseggula abavubuka; ezzadde ly'olubuto tebalirikwasa kisa, n'amaaso gaabwe tegalisaasira mabujje.
19
Ne Babiloni, eddulu ly'obwakabaka, ettendo ly'ekitiibwa ky'Abakaludeya, kirizikirizibwa Katonda nga bwe yakola Sodoma ne Gomorra.
20
Tekiribeeramu bantu yadde okusengebwamu omulundi omulala; tewaliba Muwarabu asimbamu weema, yadde omusumba awummulizaamu eggana lye.
21
Wabula bisolo bya mu ddungu bye birigalamira eyo; ennyumba zaamu zirijjula ebiwuugulu; maaya ze zirisulangamu, n'emisambwa gye giryebuukizanga omwo.
22
Empisi ziriwoowooleranga mu bigo byamu, n'emisege mu mbiri zaamu ezisanyusa; obudde bwakyo busemberedde ddala; ennaku zaakyo tezijja kuwanvuyirizibwa.
← Chapter 12
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 14 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66