bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 8
Isaiah 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
1
Omukama n'aŋŋamba nti: “Kwata omuzingo omunene owandiikeko n'ekkalamu eya bulijjo nti: Maweri-Salali-Kasi-Bazi.
2
Era nzija kweyitira n'abajulirwa bange abeesigwa: Wuriya kabona ne Zakariya mutabani wa Yeberekiya.”
3
Ne ŋŋenda eri omukazi omulanzi, n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi. Omukama n'aŋŋamba nti: “Mutuume erinnya Maweri-Salali-Kasi-Bazi,
4
kubanga omwana aliba tannayiga kukowoola nti: ‘Taata’ oba ‘Maama’, obugagga bwa Damasiko n'omunyago gwa Samariya biriba bitwaliddwa kabaka wa Assuri.”
5
Omukama era n'ayongera n'aŋŋamba nti:
6
“Kubanga abantu bano bagaanyi amazzi ga Silowa agakulukuta n'eddembe, ne bakankanira mu maaso ga Rezini n'aga mutabani wa Remaliya,
7
Omukama ajja kubasindikira amazzi g'Omugga ag'amaanyi, ag'ettumbiizi, ye kabaka wa Assuri n'ekitiibwa kye kyonna; galyalaala wonna mu myala gyagwo, gabooge ne ku mbalama zaagwo zonna.
8
Galikulukutira mu Yuda, gaalaale, gakutule mu nsi, gatumbiire okutuukira ddala mu bulago; ate ebikono byagwo biryanjaala ne bibikka ensi yonna, ggwe Yimmanweli.”
9
Muleekaane, mmwe abantu, naye mutekemuke. Muwulire, mmwe ensi ez'ewala; mwesibe, naye mutekemuke. Mwesibe, naye mutekemuke.
10
Musale amagezi, kyokka galifululwa, muwe ebirowoozo, naye tebirikola, kubanga Katonda ali naffe.
11
Omukama yaŋŋamba bw'ati ng'antaddeko omukono gwe ogw'amaanyi, n'ampabula nneme kugoberera kkubo ly'abantu bano. Yagamba nti:
12
“Temukiyita lukwe buli kyonna abantu bano kye bayita olukwe; temutya kye batya, temwesisiwala.”
13
Wabula Omukama w'Amagye, oyo gwe mutwalanga ng'omutuukirivu, oyo gwe mubanga mutya, oyo y'abanga abeesisiwaza.
14
Alifuuka kitukuvu; naye ku lw'ennyumba zombi eza Yisirayeli aliba olwazi olubeesittaza ne bagwa; ate ku batuuze b'omu Yeruzaalemu alibeera kitimba na mutego.
15
Era bangi balisirittuka; baligwa ne bamenyeka, bagenda kutegebwa, bakwasibwe.
16
Obujulizi busibire ddala, n'etteeka linywereze ddala mu mitima gy'abayigirizwa bange.
17
Nzija kulindirira Omukama akisizza amaaso ge ennyumba ya Yakobo, nzija kusuubira mu ye.
18
Nzuuno n'abaana bange Katonda be yampa; tuli bubonero na byewuunyo mu Yisirayeli ebiva eri Katonda w'Amagye, asula ku lusozi Siyoni.
19
Era bwe bakugambanga nti: “Weebuuze ku ndagu ne ku balanzi aboogera obwama n'okumuumuunya,” ggwe wamma abantu tebasaanye okwebuuza ku lubaale waabwe? Naye lwaki ensonga z'abalamu zeebuuzibwa ku bafu?
20
Ku tteeka ne ku bujulizi! Bye boogera bwe biba tebyesigamiziddwa ku bino, tebaliraba ku kitangaala kya mmambya.
21
Balibungeetera mu nsi, nga bayala, nga badooba; enjala ng'ebalumye, baliswakiira, baliralamya emitwe gyabwe ne bavuma kabaka waabwe ne Katonda waabwe.
22
Ate bwe baligikoteka ku ttaka, baliraba buyinike na nzikiza byokka, era ne kazigizigi ow'entiisa; balikanyugibwa mu nzikiza ekutte.
23
Kyokka taliba na kazigizigi oyo abadde mu kunyolwa. Mu budde obwayita yatoowaza ensi ya Zebuluni n'ensi ya Nafutali, naye gye bujja aligulumiza Ekkubo ly'oku Nnyanja, emitala wa Yorudani, Galilaaya ey'Amawanga.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66