bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 65
Isaiah 65
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 64
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 66 →
1
“Neeraga abo abatanneebuuzanga, nazuulibwa abo abatannoonyangako. Nagamba eggwanga eritakowoolanga linnya lyange nti: ‘Nzuuno wano, nzuuno wano!’
2
Olunaku lwonna emikono gyange nagyanjululiriza abantu abajeemu, abatambulira mu kkubo eritali ttuufu, abagoberera ebirowoozo byabwe,
3
abantu abannyiiza nga ndaba bwe nti: abaweereza ebitambiro mu nnimiro, abanyookeza obubaani ku myaliiro egy'amataffaali,
4
abatuula eyo mu malaalo, ne basula mu bifo ebyekusifu, abalya ennyama y'embizzi, ne mu nsaka zaabwe omuli omucuuzi gw'ennyama eyeenyinyalwa,
5
abagamba nti: ‘Dda eri, tonsemberera, sikulwa nga nkusiiga obutukuvu.’ Abantu abo mukka mu nnyindo zange, muliro ogwaka olunaku lwonna.
6
Laba, kyawandiikibwa mu kyenyi kyange nti: Sigenda kusirika, wabula ndibaddiza mu bujjuvu, nzija kubaddiza mu kikondoolo kyabwe:
7
ebibi byabwe wamu n'ebya bakitaabwe,” Omukama bw'agamba, “kubanga batambiririra ku nsozi ne banvumira ku busozi, nzija kubapimira mu kikondoolo kyabwe ekisasula mu bujjuvu bye baakola.”
8
Omukama kino ky'agamba: “Ng'omubisi bwe gusangibwa nga gukyali mu kirimba ky'emizabbibu, abantu ne bagamba nti: ‘Togwonoona, gulimu omukisa,’ bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaweereza bange, siribazikiriza bonna.
9
Ndisitusa ezzadde mu Yakobo, ne mu Yuda abo abalitwala ensozi zange; abantu bange be neeroboza be balizisikira; eyo abaweereza bange gye banaabeeranga.
10
Saroni kirifuuka ddundiro lya magana, ate Ekiwonvu Akori kye kiriba obuwummuliro bw'ente, ez'abantu bange abannoonya.
11
Naye mmwe abayabulira Omukama, ne mwerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Gaadi olujjuliro, ne mujjuliza Meni empaawo z'omwenge omutabule,
12
mbategekedde ekitala, era mwenna mulikutamira okusanjaga, kubanga bwe nakoowoola, temwayanukula; bwe nayogera, temwawuliriza, wabula mwakola bibi mu maaso gange, ne mulondawo ebitansanyusa.”
13
N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Mulabe, abaweereza bange bagenda kulya, naye mmwe muligenda njala; abaweereza bange balinywa, naye mmwe mulisigala muli bayonta; abaweereza bange bagenda kusanyuka, naye mmwe mugenda kuswazibwa.
14
Abaweereza bange bagenda kuyimba olw'essanyu mu mitima, naye mmwe mulisinda olw'obulumi mu mutima; mulikuba ebiwoobe olw'ennaku mu mwoyo.
15
Erinnya lyange mujja kulirekera abalondemu bange balyeyambise okuvumirira nti: ‘Omukama Katonda akukube akutte,’ naye abaweereza be alibayita erinnya eddala.
16
Buli alyesabira emikisa ku nsi, alyesabira mu Katonda ow'amazima; na buli yenna alayira mu nsi, alirayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obunaku obwasooka bulyerabirwa, bulinkwekebwa amaaso gange.”
17
“Laba, kati ntondawo eggulu eriggya n'ensi empya; ebyakulembera tebikyaddayo kujjukirwa, yadde okuddamu okulowoozebwako.
18
Kyokka sanyuka bulijjo ojagulize mu ebyo bye ntonda, kubanga nditonda Yeruzaalemu abeere Ssanyu, n'abantu baakyo Kujaguza.
19
Nnaasanyukiranga mu Yeruzaalemu ne njaguliza mu bantu bange; eddoboozi ly'ebiwoobe terikyaddayo kuwulirwamu, yadde eddoboozi ly'okukaaba.
20
Mu kyo temulisangibwamu kaana kamala nnaku bunaku, yadde omukadde atawangadde kumalako kiseera kye, kubanga oyo aliba mwana anaafiiranga mu myaka ekikumi; oyo ataawezenga kikumi aliyitibwanga muvumirire.
21
Balizimba amayumba ne bagasulamu, balisimba emizabbibu ne balya ku bibala byagyo.
22
Tebalizimba mayumba ate ne gasulwamu balala, tebalisimba ate omulala n'alya; anti ng'emiti bwe giwangaala, n'abantu bange bwe banaawangaalanga, abalondemu bange balyeyagaliranga ebbanga ggwanvu mu bibala by'emikono gyabwe.
23
Tebaliteganira bwereere, era tebalizaala baana ba kulaba bikangabwa, kubanga baliba baana ba Mukama be yawa omukisa, bo wamu n'abaana baabwe.
24
Banaabanga tebannayita, nze ne nnyanukula; banaabanga bakyayogera, nze nga nawulidde dda.
25
Omusege n'akaliga biririira wamu; empologoma erirya essubi ng'ente; naye enfuufu y'eriba emmere y'omusota. Tebirikolera bubi oba okulumya ku lusozi lwange olutukuvu,” Omukama bw'agamba.
← Chapter 64
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 66 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66