bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 49
Isaiah 49
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 50 →
1
Mmwe ebizinga, mumpulire, nammwe abantu abali ewala, mutegereze: Omukama yampita nga sinnazaalibwa, yampita erinnya lyange nga nkyali mu lubuto lwa nnyabo;
2
akamwa kange yakafuula ng'ekitala ekyogi, n'ankweka mu kisiikirize ky'omukono gwe; yanfuula akasaale akazigule, n'ankweka mu mufuko gwe.
3
Yaŋŋamba nti: “Ggwe oli muweereza wange, Yisirayeli, mwe ndigulumizibwa.”
4
Nze ne ŋŋamba nti: “Nateganira bwereere; amaanyi gange nagoonoonera busa, omutaava kantu. Ssonga mu mazima, omugabo gwange guli mu Mukama, era empeera yange eri ne Katonda wange.”
5
Kati Omukama ayogedde, oyo eyankola mu lubuto lwa nnyabo mbeere muweereza we, nzize Yakobo gy'ali ne Yisirayeli mmukuŋŋaanyize w'ali__ kubanga nafuna ekitiibwa mu maaso g'Omukama, ne Katonda wange y'abadde amaanyi gange__
6
n'agamba nti: “Kintu kitono gy'oli ggwe okubeera omuweereza wange, okuzzaawo ebika bya Yakobo, n'okubbula abaatalizibwa ba Yisirayeli. Ŋŋenda nno kukufuula kitangaala ky'amawanga, otuuse obulokozi bwange ku nkingi z'ensi.”
7
Omukama kino ky'agamba, Omununuzi wa Yisirayeli, Omutuukirivu we, eri oyo gwe baagaya, oyo amawanga gwe geetamwa, eri omuddu w'abafuzi: “Bakabaka baliraba ne basituka, n'abalangira baliraba ne bagwa wansi; olw'okubeera Omukama omwesigwa, Omutuukirivu wa Yisirayeli, eyakulonda.”
8
Omukama kino ky'agamba: “Nakwanukula mu budde obw'omukisa, nakuyamba ku lunaku olw'obulokofu; nakutaliza ne nkussaawo obeere endagaano eri abantu, obbule ensi, ogabanye obusika obufuuse amatongo;
9
ogambe abasibe nti: ‘Muveeyo,’ n'abali mu kizikiza nti: ‘Mweyoleke.’ Banaaliiranga ku makubo, ku busozi bwonna obwereere kwe kunaabeeranga amalundiro gaabwe.
10
Tebalirumwa njala yadde ennyonta, empewo eyokya yadde enjuba tebiribakoonako, kubanga oyo abasaasira y'alibakulembera, alibatuusa ku nzizi z'amazzi.
11
Ensozi zange zonna ndizifuula makubo, n'enguudo zange zirigulumira.
12
Laba, baliva ewala; abamu baliva emambuka n'abalala ebugwanjuba, n'abandi baliva mu nsi y'e Sinimu.”
13
Yimba n'essanyu ggwe eggulu, naawe ensi jaganya; mmwe ensozi, musaakaanye ennyimba; kubanga Omukama akubagizza abantu be, era ajja kusaasira abanaku be.
14
Naye Siyoni yagamba nti: “Omukama anjabulidde, Omukama anneerabidde.”
15
“Omukazi ayinza okwerabira omwana gw'ayonsa, oba obutasaasira mwana gwe yazaala? Ye nno yandiyinza okumwerabira, naye nze sigenda kukwerabira.
16
Laba, nakwola mu kibatu ky'omukono gwange; ebisenge byo bindi mu maaso buli kaseera.
17
Abanaakuzimba obuggya baabo banguwako, ate bo abaakuzikiriza ne bakuleka matongo bakuddukamu.
18
Situla amaaso ogeebunguluze olabe: bonna bakuŋŋaana, bajja gy'oli. Nze nga ndi mulamu,” Omukama y'agamba, “bonna ogenda kubambala ng'amajjolobera, olibeesiba ng'omugole bw'akola.”
19
Olw'ebifulukwa byo n'amatongo go, n'ensi yo yonna yayonoonebwa, ojja kufunda olw'obungi bw'abalikusengamu, n'abo abaakuvunjaga balibeera wala.
20
Abaana abaazaalibwa ng'oli mu kufiirwa, balyogera mu matu go nti: “Ekifo kitufundiridde, twongere ekifo we tunaabeera.”
21
Olwo oligamba mu mutima gwo nti: “Bano ani yabanzaalira? Saalina baana, nga ndi mugumba; nali muwaŋŋanguse nga nsuuliddwa, ate bano ani yaboola? Nayabulirwa ne nsigala bw'omu, ate kati bano bavudde wa?”
22
Kino Omukama Katonda ky'agamba: “Nzija kutemya ku mawanga, nzija kusitula akabonero kange eri abantu; balikuleetera batabani bo nga babawambaatidde, ate ne bawala bo nga babakongojja ku bibegabega byabwe.
23
Bakabaka bo baliba abakuza bo, ne bakyala baabwe abambejja be balikulera; balikuvunnamira nga beevuunise ku ttaka; balikomba enfuufu y'ebigere byo. Olwo nno olitegeera nti nze Mukama; abo abasuubira mu nze, tebagenda kuswazibwa.
24
Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi, oba abasibe okubaggya ku mukambwe?”
25
Naye Omukama kino ky'agamba: “Mazima ddala abasibe baliggyibwa ku mutabaazi, n'omunyago gulinunulibwa ku mukambwe; ndirwanyisa abakulwanyisa, abaana bo ndibanunula.
26
Abakuyigganya ndibaliisa ennyama yaabwe; balitamiira omusaayi gwabwe ng'abatamiira evviini ensu. Olwo abantu bonna balitegeera nti nze Mukama Omulokozi wo, Omumunuzi wo, Omuyinza wa Yakobo.”
← Chapter 48
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 50 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66