bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
Isaiah 60
Isaiah 60
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 59
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 61 →
1
“Situka, yakaayakana, kubanga ekitangaala kyo kizze, n'ekitiibwa ky'Omukama kisitukidde ku ggwe.
2
Laba, newandibadde ng'enzikiza ebuutikidde ensi, nga ne kazigizigi akutte abisse abantu, Omukama alisituka ku ggwe, n'ekitiibwa kye kirirabikira ku ggwe.
3
N'amawanga galijja eri ekitangaala kyo, ne bakabaka eri okutangalijja kw'okusituka kwo.
4
“Situla amaaso ogeebunguluze: bonna bakuŋŋaana, bajja gy'oli; batabani bo bava ewala, ne bawala bo baweekeddwa.
5
Oliraba n'oyakaayakana, omutima gwo gulitujja ne gujaguza; kubanga nnamunkukumbo w'ennyanja alikuleeterwa, obugagga bw'amawanga bulijja gy'oli.
6
Nnamungi w'eŋŋamiya alikubuutikira, eŋŋamiya envubuka ez'e Midiyaani ne Efa. Bonna okuva e Saba balijja, nga baleeta zaabu n'obubaani, nga balangirira ettendo ly'Omukama.
7
Amagana gonna ag'e Kedari baligakuŋŋaanyiza w'oli, endiga z'e Nebayoti zirikuweereza; zirikkirizibwa ku mwaliiro gwange ne zitambirwa, nange ndigulumiza ennyumba yange ey'ekitiibwa.
8
“B'ani abo abaseeyeeya ng'ekire, ng'amayiba agadda mu bisu byago?
9
Wuuno ebizinga binnindirira, amaato g'e Tarusisi ge gakulembedde, galeeta abaana bo okuva ewala wamu ne ffeeza ne zaabu waabwe, olw'okubeera erinnya ly'Omukama Katonda wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kubanga abagulumizza.
10
“Abagwira, balizimba bbugwe wo, bakabaka baabwe balikuweereza; okukukuba nakukubisa busungu, naye kati olw'okukwagala nkusaasidde.
11
Emiryango gyo bulijjo ginaabanga miggule, tegiggalwenga emisana n'ekiro, abantu basobole okukuleetera obugagga bw'ensi nga bakabaka baabwe baleetebwa mu nnyiriri.
12
Kubanga eggwanga n'obwakabaka ebitalikuweereza birizikirira, birisaanirawo ddala.
13
Ekitiibwa kya Lebanoni kirikujjako, ne faraawo, omuyovu ne sipulaasi byonna wamu, okuwoomya ekifo ky'Ekitukuvu kyange; era ekifo ky'ebigere byange ndikigulumiza.
14
Abaakutulugunya balijja ne bakufukaamirira; ne bonna abaakugayanga balivunnama ku bigere byo, balikuyita Ekibuga ky'Omukama, Siyoni w'Omutuukirivu wa Yisirayeli.
15
“Newandibadde wayabulirwa n'okyayibwa, nga tewakyali n'omu akuyitamu, ndikufuula wa kitiibwa emirembe gyonna, ensibuko y'essanyu eri amazadde n'amazadde.
16
Oliyonka amata g'amawanga, oliyonka amabeere ga bakabaka; olwo olitegeera nti nze Omukama nze Mulokozi wo, Omununuzi wo, Omuyinza wa Yakobo.
17
Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu; mu kifo ky'ekyuma, ffeeza; mu kifo ky'emiti, kikomo; mu kifo ky'amayinja, kyuma. Ndikussaako abalabirizi bo nga lye ddembe, abakufuga nga bwe butuukirivu.
18
Obukambwe tebuliddayo kuwulirwa ku ttaka lyo, okwonoona n'okuzikiriza tebiriba mu nsi yo; bbugwe wo olimuyita Bulokofu, n'emiryango gyo, Ttendo.
19
Enjuba yo tekyaddayo kubeera kitangaala kyo emisana, yadde ekitangaala ky'omwezi okukwakira, kubanga Omukama y'aliba ekitangaala kyo eky'olubeerera; Katonda y'alibeera ekitiibwa kyo.
20
Enjuba yo tekyaddayo kugwa, yadde omwezi gwo okukkirira, kubanga Omukama y'aliba ekitangaala kyo eky'olubeerera; n'ennaku zo ez'okukungubaga zirikoma.
21
Olwo abantu bo bonna balibeera batuukirivu, balitwala ensi emirembe gyonna; bo gwe mutunsi gwe nsimbye, gwe mulimu gw'omukono gwange, ndyoke ngulumizibwe.
22
Asembayo obutono alifuuka olukumi, asinga obutene alifuuka eggwanga ery'obuyinza; nze Mukama; kino nzija kwanguwa okukituukiriza mu budde bwakyo.”
← Chapter 59
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 22
Chapter 23
Chapter 24
Chapter 25
Chapter 26
Chapter 27
Chapter 28
Chapter 29
Chapter 30
Chapter 31
Chapter 32
Chapter 33
Chapter 34
Chapter 35
Chapter 36
Chapter 37
Chapter 38
Chapter 39
Chapter 40
Chapter 41
Chapter 42
Chapter 43
Chapter 44
Chapter 45
Chapter 46
Chapter 47
Chapter 48
Chapter 49
Chapter 50
Chapter 51
Chapter 52
Chapter 53
Chapter 54
Chapter 55
Chapter 56
Chapter 57
Chapter 58
Chapter 59
Chapter 60
Chapter 61
Chapter 62
Chapter 63
Chapter 64
Chapter 65
Chapter 66
Chapter 61 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21
22
23
24
25
26
27
28
29
30
31
32
33
34
35
36
37
38
39
40
41
42
43
44
45
46
47
48
49
50
51
52
53
54
55
56
57
58
59
60
61
62
63
64
65
66