bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 1
John 1
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
1
Mu masooka Kigambo yaliwo, era Kigambo ng'ali ne Katonda, era Kigambo nga Katonda.
2
Yalinga ne Katonda mu masooka;
3
Byonna byabaawo ga biyita mu ye; tewali na kimu kyabaawo nga tekiyise mu ye.
4
Mu ye obulamu mwe bwalinga; obulamu bwabanga kitangaala kya bantu.
5
Ekitangaala ne kyakira mu kizikiza, naye ekizikiza tekyakitegeera.
6
Ne wabaawo omuntu eyatumibwa Katonda, erinnya lye Yowanna.
7
Oyo yajja okukakasa, amanyise ekitangaala, bonna bakkirize okubeera ye.
8
Ye, si ye yali ekitangaala, wabula yajja okumanyisa ekitangaala.
9
Ekitangaala eky'amazima ekitangaaza buli muntu kyajja mu nsi muno.
10
Yalinga mu nsi, ensi eyakolebwa mu ye, kyokka ensi n'etemumanya.
11
Yajja omumwe, ababe ne batamwaniriza.
12
Naye bonna abaamwaniriza, abo abakkiriza mu linnya lye, yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda;
13
abo abataazaalibwa mu kuzaalibwa kwa musaayi, wadde mu kwagala okw'omubiri, oba mu kwagala okw'omuntu, naye abaazaalibwa mu Katonda.
14
Kigambo n'afuuka omuntu, n'asula mu ffe; twalaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'eky'Omwana omu yekka ava ewa Taata, ajjudde eneema n'amazima.
15
Ono Yowanna yamujulira ng'ayogerera waggulu nti: “Ye wuuyo gwe nayogerako nti ajja emabega wange y'ansinga, kubanga ye yansooka okubaawo.”
16
Era ku musera gwe ffenna kwe twagabana, eneema ku neema.
17
Kuba Etteeka lyaweebwa mu Musa, naye eneema n'amazima byajjira mu Yezu Kristu.
18
Katonda mpaawo yali amulabye; Omwana omu yekka ate Katonda, ali ddala mu Taata, oyo ye yamumanyisa.
19
Kuno kwe kujulira kwa Yowanna kwe yajuliramu eri Abayudaaya bwe baatuma gy'ali bakabona n'Abaleevi okuva e Yeruzaalemu okumubuuza nti: “Ggwe ani?”
20
N'ayatula, n'atagaana, n'ayatula nti: “Si nze Kristu.”
21
Ne bamubuuza nti: “Kiri kitya kale? Ggwe Eliya?” N'agamba nti: “Si ye nze.” “Ggwe mulanzi oli?” N'addamu nti: “Nedda.”
22
Awo kwe kumugamba nti: “Ggwe ani? Abatutumye tunaabagamba tutya? Weeyita otya?”
23
N'abagamba nti: “Nze ddoboozi ly'oyo aleekaana mu ddungu nti: ‘Muluŋŋamye ekkubo ly'Omukama,’ nga Yisaaya omulanzi bwe yagamba.”
24
Abaali batumiddwa baali ba mu Bafarisaayo,
25
ne bamubuuza nti: “Kale ekikubatizisa kiki obanga si ggwe Kristu, si ggwe Eliya, si ggwe mulanzi oli?”
26
Yowanna n'abaanukula nti: “Nze mbatiza na mazzi, naye wakati mu mmwe wayimiriddewo gwe mutamanyi;
27
ye oyo ananziririra, nze gwe sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze.”
28
Ebyo byaliwo Betaniya, emitala wa Yorudani, Yowanna gye yali ng'abatiza.
29
Ku lunaku olwaddako, n'alaba Yezu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti: “Wuuyo, akaliga ka Katonda; ke ko akaggyawo ekibi ky'ensi!
30
Ye wuuyo gwe nayogerako nti emabega wange ejjayo eyansooka okubaawo, kubanga yabaawo nga nze sinnaba kubaawo.
31
Nange nali simumanyi; naye kye kyandeeta okubatiza n'amazzi, ye alyoke ayolekebwe Yisirayeli.”
32
Yowanna n'ajulira nti: “Nalaba Mwoyo ng'akkirira ng'ava mu ggulu ng'enjiibwa, n'amubeerako.
33
Nze nange nali simumanyi, naye oli eyantuma okubatiza n'amazzi ye yaŋŋamba nti: ‘Gw'onoolaba Mwoyo ng'amukkako n'amubeerako, nga ye wuuyo abatiza ne Mwoyo Mutuukirivu.’
34
Kale nze nalaba, era njulira nti Oyo ye Mwana wa Katonda.”
35
Ku lunaku olwaddako, nate Yowanna yali ayimiridde awo wamu n'ababiri ku bayigirizwa be,
36
n'alaba Yezu ng'ayita, n'agamba nti: “Wuuyo, akaliga ka Katonda!”
37
Abayigirizwa ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yezu.
38
Yezu n'akebuka, n'alaba nga bamugoberera, n'abagamba nti: “Munyoonya ki?” Ne bamugamba nti: “Rabbi (ekivvuunulwa nti Muyigiriza), obeera wa?”
39
N'abagamba nti: “Mujje mulabe.” Ne bagenda, ne balaba we yali abeera, ne bamala ewuwe olunaku olwo; essaawa yali nga ya kkumi.
40
Omu ku babiri abaawulira Yowanna ne bamugoberera yali Andureya muganda wa Simoni Petero.
41
Yasooka kusisinkana muganda we Simoni, n'amugamba nti: “Messiya (kwe kugamba nti Kristu) tumugguseeko.”
42
N'amutwala eri Yezu. Yezu n'amwekaliriza, n'agamba nti: “Ggwe Simoni, mutabani wa Yowanna; kale onooyitibwanga Kefa,” – ekivvuunulwa nti 'Petero'.
43
Ku lunaku olwaddako n'ayagala okugenda e Galilaaya, n'asisinkana Filippo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
44
Kati nno Filippo yali w'e Betisayida ekibuga kya Andureya ne Petero.
45
Filippo n'asanga Natanayeli, n'amugamba nti: “Musa gwe yawandiikako mu Kitabo ky'Etteeka, n'abalanzi gwe baawandiikako tumugguseeko, Yezu ow'e Nazareti mutabani wa Yozefu.”
46
Natanayeli n'amugamba nti: “E Nazareti eyinza okuvaayo akalungi?” Filippo n'amugamba nti: “Jjangu olabe.”
47
Yezu bwe yalaba Natanayeli ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti: “Wuuyo, Omuyisirayeli ddala, ataliimu bulimba.”
48
Natanayeli n'amugamba nti: “Ommanyi otya?” Yezu n'ayanukula nti: “Filippo abadde tannakuyita, w'obeeredde wansi w'omukunyu, nga nakulabye dda.”
49
Natanayeli n'amwanukula nti: “Rabbi, ggwe Mwana wa Katonda, ggwe Kabaka wa Yisirayeli!”
50
Yezu n'ayanukula nti: “Okkiriza kubanga nkugambye nti nakulabye wansi w'omukunyu? Ojja kulaba n'ebisinga kw'ekyo.”
51
Era n'amugamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya ate nga bakka ku Mwana w'omuntu.”
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 2 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21