bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 9
John 9
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
1
Yezu bwe yali ayitaayita, n'alaba omusajja eyazaalibwa nga muzibe.
2
Abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Rabbi, ono okuzaalibwa nga muzibe ani yayonoona, ye nandiki bazadde be?”
3
Yezu n'addamu nti: “Ono tayonoonanga newandibadde bazadde be, naye gwaba gutyo ebikolwa bya Katonda biryoke byolekebwe mu ye.
4
Ffe tetulema kukola mirimo gy'oyo eyantuma ng'obudde bukyali misana; ekiro kijja omuntu ky'atayinza kukoleramu.
5
Nga nkyali mu nsi, ndi kitangaala kyayo.”
6
Bwe yasirissa ebyo, n'awanda ku ttaka, n'akolamu obudongo n'amalusu, n'asiiga obudongo ku maaso ge,
7
n'amugamba nti: “Genda onaabe mu kidiba ky'e Silowamu,” ekivvuunulwa nti 'Atumiddwa'. Ye n'agenda, n'anaaba, n'adda ng'alaba.
8
Ab'omuliraano n'abalala abaamulabanga ng'asabiriza ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyatuulanga ng'asabiriza?”
9
Abamu ne bagamba nti: “Ye wuuwo,” ko abalala nti: “N'akatono, mpozzi amufaanana bufaananyi.”
10
Naye ye n'agamba nti: “Ye nze.” Ne bamugamba nti: “Amaaso gaazibuse gatya?”
11
Ye n'addamu nti: “Omusajja oli ayitibwa Yezu yakoze obudongo n'abusiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti: ‘Genda ku Silowamu onaabe.’ Ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne ndaba.”
12
Ne bamugamba nti: “Ali luuyi wa?” Ye n'abagamba nti: “Simanyi.”
13
Awo eyali muzibe ne bamutwala eri Abafarisaayo.
14
Kati nno Yezu lwe yakola obudongo n'azibula amaaso ge lwali lwa Sabbaato.
15
Abafarisaayo nabo era ne bamubuuza nga bwe yazzeemu okulaba. N'abagamba nti: “Yantadde obudongo ku maaso, ne nnaaba, ne ndaba.”
16
Abamu ku Bafarisaayo ne bagamba nti: “Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata Sabbaato.” Abalala ne bagamba nti: “Omuntu omwonoonyi ayinza atya okukola obubonero ng'obwo?” Ne bajjamu enjawukana.
17
Awo era ne bagamba eyali muzibe nti: “Oyo omugambako ki nga bwe yakuzibudde amaaso?” Ye n'abagamba nti: “Mulanzi.”
18
Abayudaaya ne batakkiriza ng'omuntu oyo yali muzibe n'alaba okutuusa nga batumizza bazadde b'eyali afunye okulaba.
19
Ne bababuuza nti: “Ono ye mutabani wammwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe? Kati alaba atya?”
20
Abazadde be ne babaddamu nti: “Tumanyi ng'ono mutabani waffe, era nga yazaalibwa muzibe;
21
naye okuba nga kati alaba, tetukimanyi; n'eyamuzibudde amaaso ffe tetumumanyi. Mumubuuze, anti mukulu; ajja kweyogerera.”
22
Bazadde be baayogera batyo lwa kutya Bayudaaya, kubanga Abayudaaya baali beekobye okugoba mu sinaagooga buli muntu eyandimwatudde nti ye Kristu.
23
Bazadde be kyebaava bagamba nti: “Mukulu; mumwebuulize.”
24
Awo eyali muzibe kwe kumuyita ogwokubiri ne bamugamba nti: “Wa Katonda ekitiibwa. Ffe tumanyi ng'omuntu oyo mwonoonyi.”
25
N'abagamba nti: “Oba mwonoonyi, simanyi; mmanyi kimu nti nze nali muzibe, naye kaakano ndaba.”
26
Ne bamugamba nti: “Yakukozeeko ki? Yakuzibudde atya amaaso?”
27
N'abaddamu nti: “Namaze dda okubategeeza, ne mutaagala kuwulira; mwagalira ki ate okuwulira ogwokubiri? Nammwe mwagala kufuuka bayigirizwa be?”
28
Awo ne bamuvuma, ne bagamba nti: “Ggwe muyigirizwa we, naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29
Ffe tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa; naye ono omusajja tetumanyi gy'ava.”
30
Omusajja n'addamu nti: “Kino kyewuunyisa! Temumanyi gy'ava, sso nga yanzibudde amaaso.
31
Ate tumanyi nga Katonda tawulira boonoonyi, wabula omuntu bw'atya Katonda, n'atuusa by'ayagala, oyo Katonda amuwulira.
32
Okuva edda n'edda tebawuliranga ng'omuntu yazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe.
33
Singa omuntu ono abadde tava wa Katonda, teyandibaddeko ky'akola.”
34
Ne bamuddamu nti: “Wazaalibwa mu bibi wenna, ggwe onooyigiriza ffe?” Ne bamugobera ebweru.
35
Yezu n'awulira nga bamugobedde ebweru; bwe yamusanga, n'amugamba nti: “Okkiriza Omwana w'Omuntu?”
36
N'addamu nti: “Ssebo, ye ani ndyoke mmukkirize?”
37
Yezu n'amugamba nti: “Omulabye, ye wuuyo ayogera naawe.”
38
N'agamba nti: “Mukama, nzikiriza;” n'amusinza.
39
Yezu n'agamba nti: “Najja mu nsi eno kulamula; abatalaba balabe, n'abalaba bafuuke bamuzibe.”
40
Abamu ku Bafarisaayo abaali awo naye ne bawulira, ne bamugamba nti: “Kazzi naffe tuli bamuzibe?”
41
Yezu n'abagamba nti: “Muba kubeera bamuzibe, temwandibadde na musango, naye kaakano kubanga mugamba nti: ‘Tulaba,’ omusango gwammwe gusigalawo.”
← Chapter 8
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 10 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21