bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 15
John 15
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
1
“Nze muzabbibu gwennyini; Kitange ye mulimi.
2
Buli ttabi eriri ku nze eritabala bibala, aliwawaagulako; ate buli ttabi eribala ebibala alisalira liryoke lyongere okubala ebibala.
3
Kaakano mmwe muli balongoofu olw'okubeera ekigambo kye nababuulira.
4
Mubeere mu nze nange mbeere mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo, wabula nga liri ku muzabbibu, nammwe bwe mutayinza, wabula nga muli ku nze.
5
Nze muzabbibu, mmwe matabi. Abeera mu nze, nange mu ye, oyo y'abala ebibala ebingi; kubanga nga temuli nange, temuliiko kye muyinza kukola.
6
Oli atabeera mu nze, akanyugibwa ebweru ng'ettabi n'akala; amatabi ago gakuŋŋaanyizibwa ne gasuulibwa mu muliro, ne gookebwa.
7
Bwe mubeera mu nze, n'ekigambo kyange ne kibeera mu mmwe, musabanga kyonna kye mwagala, kiribakolerwa.
8
Bwe mubala ebibala ebingi, ne mufuukira ddala abayigirizwa bange, Taata lw'afuna ekitiibwa.
9
Nga Taata bwe yanjagala, nange bwe mbaagadde bwe ntyo. Musigale nno mu kwagala kwange.
10
Bwe munaakwata ebiragiro byange, mujja kusigala nga mbaagala, nga nze bwe nkwata ebiragiro bya Kitange ne nsigala ng'anjagala.
11
Ebyo mbibagambye essanyu lyange libeere ne mummwe, ate essanyu lyammwe lituukirire.
12
“Kino kye kiragiro kyange: mwagalanenga nga nze bwe mbaagadde.
13
Tewali alina kwagala kusinga kuno, oli okuwaayo obulamu bwe okubeera mikwano gye.
14
Mmwe kasita munaakolanga kye mbalagira, munaabanga mikwano gyange.
15
Sikyabayita baddu, kubanga omuddu tamanyi mukama we ky'akola. Naye nze mbayita mikwano gyange, kubanga byonna bye nawulira ewa Kitange nabibamanyisa.
16
Si mmwe mwalonda nze, wabula nze nalonda mmwe, ne mbateekawo mugende mubale ebibala, ebibala byammwe bibeerere, na buli kyonna kye muliba musabye Taata mu linnya lyange, akibawe.
17
Kino kye mbalagira: mwagalanenga.
18
“Ensi bw'ebakyawanga, mumanyanga nga yasooka kukyawa nze mmwe nga tennabakyawa.
19
Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, anti nga nabalonda ne mbaggya mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.
20
Mujjukire ekigambo kye nabagamba nti: ‘Omuweereza takira mukama we.’ Obanga nze banjigganya, nammwe balibayigganya; obanga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe balikikwata.
21
Ebyo byonna balibibakola olw'okubeera erinnya lyange, kubanga eyantuma tebamumanyi.
22
Singa sajja ne mbagamba, tebandibadde na kibi. Naye kati tebalina we bawampanyiza kibi kyabwe.
23
Ankyaye aba akyaye ne Kitange.
24
Singa saabakoleramu bikolwa omuntu omulala by'atakola, tebandibadde na kibi; naye kati baabiraba, ne bankyawa ko ne Kitange.
25
Kwali kutuukiriza ekyawandiikibwa mu tteeka lyabwe nti: ‘Bankyayira bwereere.’
26
Naye Omuwolereza bw'alijja, oyo gwe ndibatumira okuva ewa Taata, ye Mwoyo ow'amazima, asibuka mu Taata, oyo alinjulira.
27
Era nammwe muli bajulirwa, kubanga mubadde nange okuva olubereberye.
← Chapter 14
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 16 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21