bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 14
John 14
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
1
“Emitima gyammwe gireme kweraliikirira. Mukkiriza Katonda, nange munzikirize.
2
Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebisenge bingi. Singa si bwe kiri, nandibagambye nti ŋŋenda okubategekera ekifo?
3
Bwe ndiba mmaze okugenda, nga mmaze n'okubategekera ekifo, ndidda nate ne mbatwala ewange; nze gye ndi nammwe gye muba mubeera.
4
Gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.”
5
Toma kwe kumugamba nti: “Mukama, gy'ogenda tetumanyiiyo; tuyinza tutya okumanya ekkubo?”
6
Yezu n'amugamba nti: “Nze kkubo, nze mazima, nze bulamu. Tewali atuuka eri Taata, wabula ng'ayise mu nze.
7
Singa nze mummanyi, ne Kitange mwandimumanye. Era n'okuva kati mumumanyi n'okumulaba mumulabye.”
8
Filippo kwe kumugamba nti: “Mukama, tulage ku Taata, kinaatumala.”
9
Yezu n'amugamba nti: “Filippo, mbadde nammwe ebbanga lino lyonna era temunnammanya? Anti alaba nze ng'alabye Taata; obadde otya okuŋŋamba nti: ‘Tulage ku Taata?’
10
Temukkiriza nga ndi mu Taata ne Taata ng'ali mu nze? Ebigambo nze bye njogera sibyogera ku bwange. Taata ali mu nze yennyini y'akola ebikolwa.
11
Mukkirize nga ndi mu Taata ne Taata ng'ali mu nze. Waakiri mukkirize olw'ebikolwa byennyini.
12
Mbagambira ddala mazima nti anzikiriza ebikolwa bye nkola naye alibikola, era alikola n'ebisingawo; kubanga nze ŋŋenda ewa Taata.
13
Na buli kye munaasabanga Taata mu linnya lyange, ndikikola, Kitange alyoke agulumizibwe mu Mwana.
14
Bwe munaasabanga ekintu mu linnya lyange, ndikikola.
15
“Obanga munjagala, mulikwata ebiragiro byange.
16
Nange ndisaba Taata, n'abawa Omuwolereza omulala, abeerere ddala nammwe emirembe gyonna;
17
ye Mwoyo ow'amazima ensi gw'eteyinza kufuna, kubanga temulaba n'okumumanya temumanyi. Mmwe mumumanyi, kubanga asula mu mmwe, alibabeeramu.
18
“Sijja kubaleka nga bamulekwa; ndikomawo gye muli.
19
Mu bbanga ttono ensi eneeba tekyandaba, naye mmwe mulindaba; kubanga nze ndi mulamu, nammwe muliba balamu.
20
Ku lunaku olwo mulimanya nga bwe ndi mu Kitange, nammwe mu nze, ate nange mu mmwe.
21
Alina ebiragiro byange n'abikwata, oyo y'anjagala. Ate anjagala, ne Kitange alimwagala, nange ndimwagala, era ndimweyoleka.”
22
Yuda, atali oli Yisikariyoti, n'amugamba nti: “Mukama, ffe olitweyoleka otya n'oteeyoleka nsi?”
23
Yezu n'amuddamu nti: “Oba oli anjagala, alikwata ekigambo kyange, ne Kitange alimwagala; tulijja gy'ali ne tukuba ekisulo kyaffe mu ye.
24
Atanjagala, ebigambo byange tabikwata; ekigambo kye mwawulira si kyange, wabula kya Taata oli eyantuma.
25
“Ebyo mbibabuulidde nga nkyali nammwe,
26
naye Omuwolereza, ye Mwoyo Mutuukirivu, Taata gw'alituma mu linnya lyange, alibayigiriza byonna n'abajjukiza byonna bye mbagambye.
27
Mbalekedde emirembe, mbawadde emirembe gyange; sigibawadde ng'ensi bw'egiwa. Emitima gyammwe gireke kweraliikirira na kutya.
28
Muwulidde nga bwe mbagambye nti: ‘Ŋŋenda ate ndikomawo gye muli.’ Singa mubadde munjagala, mwandisanyuse, kubanga ŋŋenda ewa Taata; anti Taata mukulu okunsinga.
29
Kale nno ekyo nkibagambye tekinnatuuka; bwe kirituuka, mulyoke mukkirize.
30
Sikyayogedde bingi nammwe, kubanga omufuzi w'ensi eno ajja; nze tandiiko buyinza.
31
Naye ensi etegeere nga njagala Taata, era nga nkola nga bwe yandagira. Musituke, mugire tuve wano.
← Chapter 13
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 15 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21