bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 4
John 4
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
1
Omukama bwe yamanya ng'Abafarisaayo bawulidde nti Yezu agunze era abatiza abayigirizwa bangi n'okusinga Yowanna -
2
sso Yezu yennyini si ye yali abatiza, wabula abayigirizwa be -
3
n'ava mu Buyudaaya n'addayo mu Galilaaya.
4
Yali wa kuyitira mu Samariya.
5
Awo n'atuuka ku kibuga kya Samariya ekiyitibwa Sikari, ekiriraanye ennimiro Yakobo gye yali awadde mutabani we Yozefu.
6
Oluzzi lwa Yakobo lwali awo. Yezu bw'atyo olugendo nga lumukooyezza, n'atuula awo ku luzzi. Essaawa yali nga ya mukaaga.
7
Awo omukazi ow'omu Samariya n'ajja okukima amazzi. Yezu n'amugamba nti: “Mpa nnyweko.”
8
Abatume baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9
Omukazi Omusamariya n'amugamba nti: “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze omukazi Omusamariya okunywa?” - anti Abayudaaya tebakkaanya na Basamariya. -
10
Yezu n'amwanukula nti: “Oba kutegeera kirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti: ‘Mpa nnyweko,’ wamma ggwe wandimusabye, ye n'akuwa amazzi amalamu.”
11
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, tolina kya kusenesaamu, n'oluzzi nalwo luwanvu; kale amazzi amalamu onoogaggya wa?
12
Leero ggwe onookira jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno, yennyini mwe yanywanga n'abaana be n'amagana ge?”
13
Yezu n'amuddamu nti: “Buli anywa ku mazzi gano aliddamu n'alumwa ennyonta;
14
naye alinywa ku mazzi ge ndimuwa, taliddayo kulumwa nnyonta; amazzi ge ndimuwa, mu ye galifuuka nsulo ya mazzi agaligenda gatumbiira okutuusa mu bulamu obutaggwaawo.”
15
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, mpa ku mazzi ago nneme kulumwa nnyonta na kujjanga kukima wano mazzi.”
16
Yezu n'amugamba nti: “Genda oyite balo, okomewo wano.”
17
Omukazi n'amuddamu nti: “Sirina baze.” Yezu n'amugamba nti: “Oyogedde bulungi nti: ‘Sirina baze,’
18
kubanga waakafuna abasajja bataano, era n'oyo gw'oli naye si balo; ekyo oyogedde kya mazima.”
19
Omukazi n'amugamba nti: “Ssebo, ndaba ng'oli mulanzi.
20
Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno, sso nga mmwe mugamba nti Yeruzaalemu kye kifo abantu mwe balagiddwa okusinziza.”
21
Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, kkiriza nze; kubanga obudde bujja Taata nga temukyamusinziza ku lusozi luno, newandibadde mu Yeruzaalemu.
22
Mmwe musinza kye mutamanyi, naye ffe tusinza kye tumanyi, kubanga obulokofu bufuluma mu Bayudaaya.
23
Kyokka obudde buli kumpi, n'okutuuka butuuse abasinza abatuufu mwe bagenda okusinziza Taata mu mwoyo ne mu mazima; ne Taata abamusinza bwe batyo b'anoonya.
24
Kubanga Katonda mwoyo, n'abamusinza bateekwa kumusinziza mu mwoyo ne mu mazima.”
25
Omukazi n'amugamba nti: “Mmanyi nga Messiya, ayitibwa Kristu, ajja. Oyo bw'alijja alitutegeeza byonna.”
26
Yezu n'amugamba nti: “Nze ayogera naawe nze wuuyo.”
27
Mu kaseera ako kennyini n'abayigirizwa be ne batuuka; ne bamwewuunya okwogera n'omukazi. Sso tewaali yagamba nti: “Obadde oyagala ki?” oba nti: “Obadde oyogera ki naye?”
28
Awo omukazi n'aleka awo ensuwa ye n'addayo mu kibuga, n'agamba abantu nti:
29
“Mujje mulabe omuntu aŋŋambye byonna bye nakola. Teyandiba nga ye Kristu?”
30
Awo ne bava mu kibuga ne bagenda gy'ali.
31
Mu bbanga eryo abayigirizwa be ne bamusindirira nti: “Rabbi, lya ku mmere.”
32
Ye n'abagamba nti: “Nnina emmere gye ndya mmwe gye mutamanyi.”
33
Abayigirizwa be ne bagambagana nti: “Waliwo amuleetedde ekyokulya?”
34
Yezu n'abagamba nti: “Emmere yange, kwe kukola eyantuma ky'ayagala n'okumaliriza omulimu gwe.
35
Kale mmwe temugamba nti: ‘Esigadde emyezi ena amakungula gatuuke?’ Naye nze mbagamba nti muyimuse amaaso, mutunuulire ennimiro bwe zitukudde, zirinze makungula.
36
Omukunguzi afuna empeera ate ebibala n'abikuŋŋaanyiza obulamu obutaggwaawo; olwo omusizi n'omukunguzi ne bagatta essanyu lyabwe.
37
Wano enjogera w'etuukira, nti: ‘Omu asiga, omulala n'akungula.’
38
Nze mbatumye okukungula kye mutaateganira; abalala baategana; nammwe muyingidde mu kutegana kwabwe.”
39
Abasamariya bangi ab'omu kibuga ekyo, ne bamukkiriza ku lw'okujulira kw'omukazi nti: “Aŋŋambye byonna bye nakola.”
40
Abasamariya bwe bajja gy'ali, ne bamusaba asigale nabo; n'asulayo ennaku bbiri.
41
Bangi n'okusingawo ne bamukkiriza olw'ebigambo bye.
42
Ne bagamba omukazi nti: “Tetukyakkiriza lwa kubeera bigambo byo, kubanga naffe ffennyini twewuliridde, kati tumanyi ng'ono ddala ye mulokozi w'ensi.”
43
Oluvannyuma lw'ennaku ezo ebbiri, n'avaayo n'agenda mu Galilaaya.
44
Sso nno yennyini yali ajulidde nti: “Omulanzi taba na kitiibwa mu nsi ya boobwe.”
45
Bwe yatuuka mu Galilaaya, Abagalilaaya ne bamwaniriza, kubanga baali balabye byonna bye yakola mu Yeruzaalemu ku mbaga enkulu, kubanga nabo baali bagenze ku mbaga enkulu.
46
Awo n'addayo ate e Kana eky'e Galilaaya, amazzi gye yagafuulira evviini. Mu Kafarunawumu waaliyo omukungu eyali alwazizza mutabani we.
47
Bwe yawulira nga Yezu avudde mu Buyudaaya n'ajja mu Galilaaya, n'agenda gy'ali n'amwegayirira aserengeteyo awonye mutabani we eyali okumpi n'okufa.
48
Yezu n'amugamba nti: “Bwe mutalaba ku bubonero na byamagero, temukkiriza.”
49
Omukungu n'amugamba nti: “Ssebo, serengetayo ng'omwana wange tannafa.”
50
Yezu n'amugamba nti: “Weddireyo, mutabani wo ajja kulamuka.” Omusajja n'akkiriza ekigambo Yezu ky'amugambye, n'addayo.
51
Bwe yali aserengeta, abaweereza be ne bamusisinkana, ne bamubuulira ng'omwana we bwe yalamuse.
52
Ye n'ababuuza essaawa mwe yasookedde okuwulira obulungi. Ne bamugamba nti: “Omusujja gwamuta jjo ku ssaawa eyoomusanvu.”
53
Awo kitaawe n'ategeera nga ye ssaawa eyo Yezu gye yamugambiramu nti: “Mutabani wo ajja kulamuka.” Naye yennyini n'akkiriza, n'amaka ge gonna.
54
Kano ke kabonero akookubiri Yezu ke yakola ng'amaze okudda mu Galilaaya ng'ava mu Buyudaaya.
← Chapter 3
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 5 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21