bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 21
John 21
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
1
Oluvannyuma, Yezu era n'alabikira abayigirizwa ku nnyanja y'e Tiberiya. Yabalabikira bw'ati:
2
Simoni Petero, Toma ayitibwa Omulongo, Natanayeli ow'e Kana mu Galilaaya, batabani ba Zebedaayo ko n'abalala babiri ku bayigirizwa be baali wamu;
3
Simoni Petero n'abagamba nti: “Ŋŋenda kuvubako.” Ne bamugamba nti: “Naffe tugenda naawe.” Ne bagenda ne basaabala eryato; naye ekiro ekyo tebaakwasa kantu.
4
Obudde bwe bwali bukya, Yezu n'ayimirira ku lubalama; naye abayigirizwa nga tebamanyi nga ye Yezu.
5
Yezu n'abagamba nti: “Abaana, mulinawo ku byennyanja?” Ne baddamu nti: “Nedda.”
6
N'agamba nti: “Musuule akatimba ku ludda olwa ddyo olw'eryato, mujja kukwasa.” Ne bakasuula; olwo nga tebakyayinza na kukawalula olw'obungi bw'ebyennyanja.
7
Omuyigirizwa oli Yezu gwe yayagalanga n'agamba Petero nti: “Ye Mukama.” Simoni Petero bwe yawulira nti ye Mukama, ne yeebagika ekikanzu kye, kubanga yali bwereere, ne yeesuula mu nnyanja.
8
Abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato nga bawalula akatimba akaalimu ebyennyanja, kubanga tebaali wala n'olukalu, mpozzi emikono ng'ebikumi bibiri.
9
Bwe baagoba ku lukalu, ne balaba amanda, nga kuliko ebyennyanja, ko n'omugaati.
10
Yezu n'abagamba nti: “Muleete ku byennyanja bye mwakakwasa kati.”
11
Simoni Petero n'asaabala mu lyato, n'awalula akatimba n'akakuba ettale. Kaali kajjudde ebyennyanja ebinene kikumi mu ataano mu bisatu. Nandibadde byali nkumu bityo, akatimba tekaayulika.
12
Yezu n'abagamba nti: “Mujje mulyeko.” Naye ku bayigirizwa ne kubula ageza okumubuuza nti: “Ggwe ani?” Baali bategedde nga ye Mukama.
13
Yezu n'ajja, n'akwata omugaati n'abawa, era n'ebyennyanja.
14
Ogwo gwe gwali omulundi ogwokusatu Yezu gwe yalabikira abayigirizwa ng'amaze okuzuukira mu bafu.
15
Bwe baamala okulya, Yezu n'agamba Simoni Petero nti: “Simoni mutabani wa Yowanna, onjagala okusinga bano?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Liisa obuliga bwange.”
16
Era n'amugamba ogwokubiri nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” N'amugamba nti: “Yee, Mukama; omanyi nga nkwagala.” N'amugamba nti: “Lunda endiga zange.”
17
Era n'amugamba ogwokusatu nti: “Simoni, mutabani wa Yowanna, onjagala?” Simoni Petero n'anakuwala olw'okumubuuza ogwokusatu nti: “Onjagala?”; n'amugamba nti: “Mukama, ggwe omanyi byonna; omanyi nga nkwagala.” Yezu n'amugamba nti: “Liisa endiga zange.
18
Nkugambira ddala mazima nti bwe wali okyali muto, weesibanga n'olaga gye wayagalanga; naye ng'okaddiye, oligolola emikono gyo, omulala n'akusiba n'akutwala gy'otoyagala.”
19
Ekyo yakimugamba okutegeeza enfa gy'aligulumizaamu Katonda. Bwe yamala okwogera ebyo, n'amugamba nti: “Ngoberera.”
20
Petero n'akebuka, n'alaba omuyigirizwa oli Yezu gwe yali ayagala ng'ajja agoberera, ye oli eyeewunzika ku kifuba kye ku mbaga eri enkulu n'amugamba nti: “Mukama, ani agenda okukuwaayo?”
21
Petero bwe yamulaba, n'agamba Yezu nti: “Mukama, ng'ono aliba atya?”
22
Yezu n'amugamba nti: “Obanga nze njagala abeerewo okutuusa lwe ndijja, ofaayo ki? Ggwe ngoberera.”
23
We waava olugambo okubuna mu booluganda nti omuyigirizwa oyo teyali wa kufa. Sso Yezu teyamugamba nti teyali wa kufa, wabula nti: “Obanga nze njagala abeerewo okutuusa lwe ndijja, ofaayo ki?”
24
Omuyigirizwa oyo ye wuuyo ayogera bino, era awandiise bino, era tumanyi ng'okujulira kwe kwa mazima.
25
Eriyo ate n'ebirala bingi Yezu bye yakola; nabyo singa byawandiikibwa kinnakimu, ndowooza ng'ensi teyandisobodde kuggweeramu bitabo byandiwandiikiddwa.
← Chapter 20
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21