bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 10
John 10
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
1
“Mbagambira ddala mazima nti atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, n'awalampa ayingirire awalala, omuntu oyo mubbi, munyazi;
2
naye ayita mu mulyango, ye musumba w'eggana.
3
Omuggazi amuggulirawo, n'endiga ze ziwulira eddoboozi lye; endiga ze ezo aziyita amannya gaazo kinneemu, n'azifulumya.
4
Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulemberamu, endiga ne zimugoberera; kubanga zimanyi eddoboozi lye.
5
Ow'ebweru tezimugoberera; zimudduka buddusi, kubanga tezimanyi ddoboozi lya bantu b'ebweru.”
6
Yezu yabagerera olugero olwo; naye bo tebaategeera ky'abagambye.
7
Yezu n'ayongera okubagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti nze mulyango gw'endiga.
8
Bonna abansooka okujja babbi, banyazi; n'endiga tezaabawulira.
9
Nze mulyango; oli bw'ayingirira mu nze alirokoka; aliyingira n'afuluma, n'asanga eddundiro.
10
Omubbi taliiko ky'ajjirira kirala wabula okubba n'okutemula n'okuzikiriza; naye nze nzize zifune obulamu, ate zibufune mu bujjuvu.
11
“Nze musumba omulungi. Omusumba omulungi awaayo obulamu bwe okubeera endiga ze.
12
Akolerera empeera, atali musumba yennyini, endiga nga si zize ku bubwe, bw'alaba omusege nga gujja, endiga azireka awo n'adduka; omusege ne gulumba endiga ne guzibunya emiwabo.
13
Kyava adduka, kubanga akolerera mpeera, endiga tazeeraliikirira.
14
Nze musumba omulungi; mmanyi ezange n'ezange zimmanyi,
15
kyenkana nga Taata bw'ammanyi nange bwe mmanyi Taata; mpaayo n'obulamu bwange okubeera endiga zange.
16
Nninayo n'endiga endala ezitali mu kisibo kino; era nazo sirema kuzireeta; ziriwulira eddoboozi lyange. Olwo eggana liribeera limu n'omusumba omu.
17
Taata kyava anjagala, kubanga mpaayo obulamu bwange ndyoke mbweddize ate.
18
Tewali abunzigyako, wabula nze mbuwaayo ku bwange. Nnina obuyinza obw'okubweddiza. Ekiragiro ekyo nakiggya wa Taata.”
19
Empaka ne zisituka buto mu Bayudaaya olw'okubeera ebigambo ebyo,
20
kubanga bangi mu bo baagambanga nti: “Alimu omwoyo omubi, mulalu n'obulalu; ye lwaki mumuwuliriza?”
21
Abalala ne bagamba nti: “Ebigambo ebyo si bya muntu akwatiddwa omwoyo omubi; omwoyo omubi guyinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?”
22
E Yeruzaalemu yali mbaga nkulu ya Kutukuzibwa,
23
bwali budde bwa mpewo; Yezu yali ng'atambulatambula mu Kiggwa, mu kisasi kya Solomoni.
24
Awo Abayudaaya ne bamwebungulula, ne bamugamba nti: “Olituusa wa okutwewanisa emitima? Obanga ggwe Kristu, tubuulire ddala kyere.”
25
Yezu n'abaddamu nti: “Mbabuulidde naye temukkiriza; ebikolwa bye nkola mu linnya lya Kitange bye binjulira;
26
temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27
Endiga zange zo ziwulira eddoboozi lyange; nze nzimanyi, nazo zingoberera,
28
era nze nziwa obulamu obutaggwaawo. Tezigenda kuzikirira emirembe gyonna, era tewaliba ayinza kuzinzigya mu mikono.
29
Kitange, oyo eyazimpa, akira byonna; era tewali ayinza kuziggya mu mikono gya Taata;
30
nze ne Taata tuli omu.”
31
Abayudaaya ne bakwata amayinja okugamukasuukirira.
32
Yezu n'abaddamu nti: “Nabalaga ebikolwa ebirungi bingi okuva ewa Taata; kikolwa ki ku ebyo kye munnanga okunkuba amayinja?”
33
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Okukukuba amayinja tetukulanga kikolwa kirungi, tukulanga kuvuma Katonda; kubanga ggwe omuntu obuntu weefuula Katonda.”
34
Yezu n'abaddamu nti: “Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti: ‘Nze nagamba nti: Muli bakatonda’?
35
Kale nno oba abo ekigambo kya Katonda be kyabuulirwa bayitibwa bakatonda, ate Ebiwandiiko Ebitukuvu tebiyinza kujjulukuka,
36
olwo mmwe ate ne mugamba ku oyo Taata gwe yatukuza nti avumye Katonda, kubanga ŋŋambye nti: ‘Ndi mwana wa Katonda’?
37
Obanga sikola bikolwa bya Kitange, mulekeyo okunzikiriza.
38
Naye oba mbikola, nga nze temwagala kunzikiriza, byo ebikolwa mubikkirize, lwe munaamanya ne mutegeera nti Taata ali mu nze nange ndi mu Taata.”
39
Era baali baagala okumukwata, naye ye ne yeesumattula mu ngalo zaabwe.
40
Ate n'addayo emitala wa Yorudani mu kifo Yowanna mwe yasookera okubatiza, n'asigala eyo.
41
Bangi ne bajja gy'ali. Baagambanga nti: “Yowanna kituufu teyakolayo kabonero na kamu, naye byonna Yowanna bye yayogera ku ono byali bya mazima.”
42
Eyo bangi ne bamukkiriza.
← Chapter 9
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 11 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21