bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 19
John 19
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
1
Awo Pilato n'akwata Yezu n'amuswanyuula.
2
Ate abaserikale ne bazinga omuge ogw'amaggwa ne bagumutikkira ku mutwe, ne bamwambaza omunagiro ogwa kakobe;
3
ne bajja gy'ali nga bagamba nti: “Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya.” Ne bamukuba empi.
4
Awo Pilato n'afuluma nate, n'abagamba nti: “Wuuno mmubaleetedde, mulyoke mutegeere nga simulabamu nsonga n'emu.”
5
Yezu n'afuluma bw'atyo ng'alina omuge gw'amaggwa, n'omunagiro ogwa kakobe. Pilato n'abagamba nti: “Omuntu wuuno!”
6
Bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba ne baleekaana nti: “Mukomerere ku musaalaba.” Pilato n'abagamba nti: “Mumutwale mmwe mmwennyini mumukomerere kubanga nze simusanzeeko musango.”
7
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Ffe tulina etteeka, okulabira ku tteeka eryo ateekwa okufa, kubanga yeefudde Mwana wa Katonda.”
8
Pilato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya;
9
n'adda ate mu Purayitoriyo n'agamba Yezu nti: “Oli waawa?” Naye Yezu n'atawuuna.
10
Pilato kwe kumugamba nti: “Tonnyega kantu? Tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta era nga nnina n'obuyinza obw'okukukomerera ku musaalaba?”
11
Yezu n'amuddamu nti: “Tewandibadde na buyinza ku nze singa tebwakuweebwa kuva waggulu; olw'ekyo nno ampadde gy'oli y'alina omusango ogusinga.”
12
Okuva olwo Pilato n'ateganira ddala okumuta, naye Abayudaaya ne baleekaana nti: “Oyo bw'omuta nga tokyali mukwano gwa Kayisari; buli eyeeyita kabaka, aba ajeemedde Kayisari.”
13
Pilato bwe yawulira ebigambo ebyo, n'afulumya Yezu, n'atuula ku ntebe ey'obulamuzi eyali mu kifo ekiyitibwa Lisosituroto, ate mu Lwebureeyi Gabbata.
14
Lwe lwali Olunaku olw'Okuteekateeka Pasika; essaawa yali nga ya mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti: “Kabaka wammwe wuuno!”
15
Bo ne baleekaana nti: “Ggyawo, ggyawo, mukomerere ku musaalaba.” Pilato n'abagamba nti: “Kabaka wammwe gwe mba nkomerera ku musaalaba?” Bakabona abakulu ne baddamu nti: “Tetulina kabaka mulala wabula Kayisari.”
16
Awo n'amuwaayo gye bali bamukomerere ku musaalaba. Ne bakwata Yezu ne bamutwala.
17
N'avaayo nga yeetisse omusaalaba gwe, n'alaga ku kifo ky'Akawanga, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Golugota.
18
Eyo gye baamukomerera, era n'abalala babiri wamu naye, omu ku buli ludda, Yezu ng'ali wakati.
19
Pilato era n'awandiika ekipande n'akiteeka ku musaalaba. Kyali kiwandiikiddwako nti: YEZU OW'E NAZARETI, KABAKA W'ABAYUDAAYA.
20
Abayudaaya bangi ne basoma ekipande ekyo, kubanga ekifo Yezu we yakomererwa kyali kumpi n'ekibuga; ate kyali kiwandiikiddwa mu Lwebureeyi, mu Lulatini ne mu Lugereeki.
21
Bakabona abakulu ab'Abayudaaya ne bagamba Pilato nti: “Leka kuwandiika nti: ‘Kabaka w'Abayudaaya’ wabula nti: ‘Eyeeyita nti nze kabaka w'Abayudaaya.’ ”
22
Pilato n'addamu nti: “Kye mpandiise, nkiwandiise.”
23
Naye abaserikale bwe baamala okukomerera Yezu ku musaalaba, ne bakwata ebyambalo bye ne babyawuzaamu emiteeko ena; buli muserikale omuteeko, ate n'ekkanzu ye. Ekkanzu ye teyalina lukindo, yali nduke bulusi yonna okuviira ddala waggulu.
24
Ne bagambagana nti: “Tuleme kugiyuzaamu, wabula tugikubeko akalulu, tulabe eneeba y'ani.” Ekiwandiiko kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Ebyambalo byange baabigabana; olugoye lwange ne balukubako akalulu.” Ekyo abaserikale kye baakola.
25
Okumpi n'omusaalaba gwa Yezu waali wayimiriddewo nnyina ne muganda wa nnyina, Mariya muka Kulopa, ne Mariya Magudalena.
26
Yezu bwe yalaba nnyina n'omuyigirizwa gwe yali aganzizza ng'ayimiridde awo kumpi, n'agamba nnyina nti: “Mukazi, omwana wo wuuno!”
27
Ate n'agamba omuyigirizwa nti: “Nnyoko wuuno!” Okuva mu kaseera ako omuyigirizwa n'amutwala ewuwe.
28
Oluvannyuma lw'ebyo, Yezu ng'ategedde nga byonna biwedde, olw'okutuukiriza Ebiwandiiko, n'agamba nti: “Ennyonta ennuma.”
29
Awo waaliwo ebbakuli ejjudde enkaatu; ne batunga ekyangwe ekijjudde enkaatu ku lumuli, ne bakisembeza ku mumwa gwe.
30
Yezu bwe yamala okufuna enkaatu, n'agamba nti: “Kituukiridde;” n'awunzika omutwe n'awaayo omwoyo gwe.
31
Naye kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka, emirambo obutasigala ku musaalaba ku Sabbaato, kubanga Sabbaato eyo lwali lunaku lukulu, Abayudaaya ne basaba Pilato abakomerere babamenye amagulu, babaggyewo.
32
Abaserikale ne bajja, ne bamenya amagulu ag'omubereberye n'ag'omulala eyali akomereddwa naye.
33
Bwe baatuuka ku Yezu, ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu;
34
naye omu ku baserikale n'amufumita effumu mu lubiriizi, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
35
Eyalabirako ddala y'ayogera bino, n'okujulira kwe kwa mazima, era amanyi ng'ayogera mazima nammwe mulyoke mukkirize.
36
Kubanga ebyo byabaawo Ebiwandiiko biryoke bituukirire nti: “Talimenyebwa ggumba lye na limu;”
37
era n'Ekiwandiiko ekirala kigamba nti: “Balitunula kw'oyo gwe baafumita.”
38
Ebyo bwe byaggwa, Yozefu ow'e Arimateya, naye yali muyigirizwa wa Yezu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, n'asaba Pilato amukkirize aggyewo omubiri gwa Yezu. Pilato n'akkiriza. Awo n'ajja n'aggyawo omubiri gwe.
39
Ne Nikodemo, eyagenda olumu gy'ali ekiro, n'ajja ng'aleese ebyakaloosa ebitabule ebya mirra n'ekigaji, laatiri nga kikumi.
40
Ne baddira omubiri gwa Yezu ne baguzinga mu ssuuka awamu n'ebyakaloosa ng'empisa y'Abayudaaya mu kuziika bwe yali.
41
Mu kifo we yakomererwa waaliwo ennimiro, ate mu nnimiro nga mulimu entaana empya eyali teteekebwangamu muntu.
42
Omwo nno, olw'ensonga y'Olunaku lw'Abayudaaya olw'Okuteekateeka, ate ng'entaana yali awo kumpi, mwe baateeka Yezu.
← Chapter 18
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 20 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21