bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 2
John 2
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
1
Ku lunaku olwokusatu, waaliwo embaga y'obugole mu Kana eky'e Galilaaya; nnyina Yezu yaliyo;
2
Yezu naye baamuyita ku mbaga wamu n'abayigirizwa be.
3
Evviini bwe yaggwaawo, nnyina Yezu n'amugamba nti: “Evviini tebakyalina.”
4
Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, ogubadde nze naawe! Akadde kange tekannatuuka.”
5
Nnyina n'agamba abaweereza nti: “Kyonna ky'anaabagamba, mukikole.”
6
Awo waaliwo amatogero ag'amayinja mukaaga nga gateekeddwawo olw'emikolo gy'Abayudaaya egy'okwetukuza; buli ttogero nga liweza ebita bibiri oba bisatu.
7
Yezu n'abagamba nti: “Amatogero mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku mugo.
8
N'abagamba nti: “Kaakano musene, mutwalire katikkiro w'embaga.” Ne batwala.
9
Naye katikkiro w'embaga bwe yalegako ku mazzi agafuuse evviini, gy'ataamanya na gy'evudde, sso abaweereza abaasena amazzi bo nga bamanyi, n'ayita awasizza,
10
n'amugamba nti: “Omuntu yenna asooka kugabula vviini nnungi; naye abantu bwe bamala okutamiira n'aleeta esingako obubi. Sso ggwe waleseeyo evviini ennungi okutuusa kati.”
11
Mu bubonero bwa Yezu ako ke kabereberye; yakakolera mu Kana eky'e Galilaaya, n'ayolesa ekitiibwa kye, n'abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12
Oluvannyuma, Yezu n'aserengeta e Kafarunawumu wamu ne nnyina, baganda be n'abayigirizwa be; ne bamalayo ennaku si nnyingi.
13
Pasika y'Abayudaaya yali kumpi; Yezu n'ayambuka e Yeruzaalemu.
14
Mu Kiggwa n'asangamu abatunda ente, endiga, n'enjiibwa, era n'abawaanyisa ensimbi nga batudde.
15
N'akwata obuguwa n'abukolamu akaswanyu, bonna n'abagoba mu Kiggwa, era n'endiga n'ente; n'ensimbi z'abawaanyisa n'aziyiwa, n'emmeeza zaabwe n'azivuunika.
16
N'agamba abaali batunda enjiibwa nti: “Bino mubiggye wano; ennyumba ya Kitange muleke kugifuula katale.”
17
Awo abayigirizwa be ne bajjukira nti kyawandiikibwa nti: “Okutakabanira ennyumba yo kwandyamu omwoyo.”
18
Awo Abayudaaya ne baanukula ne bamugamba nti: “Kabonero ki k'otuwa akakukoza bino?”
19
Yezu n'ayanukula nti: “Mumenye Ekiggwa kino, mu nnaku ssatu nzija kukisitula.”
20
Abayudaaya ne bagamba nti: “Okuzimba Ekiggwa kino kwatwala emyaka ana mu mukaaga. Ggwe n'okisitula mu nnaku essatu?”
21
Ye sso yali ayogera ku Kiggwa eky'omubiri gwe.
22
Bwe yamala okuzuukira mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nga kino yakyogera; ne bakkiriza ebyawandiikibwa n'ekigambo Yezu kye yagamba.
23
Bwe yali e Yeruzaalemu ku mbaga enkulu eya Pasika, bangi ne bakkiriza mu linnya lye bwe baalaba obubonero bwe yakola.
24
Naye Yezu ye n'atabeemaliza, kubanga bonna yali abamanyi; ate kubanga yali teyeetaaga n'omu kuwa bujulizi ku muntu,
25
kubanga ye yali amanyi ekiri mu muntu.
← Chapter 1
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 3 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21