bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 20
John 20
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
1
Ku lusooka mu wiiki, Mariya Magudalena n'ajja ku ntaana mu matulutulu, enzikiza ng'ekyakutte, n'alaba ng'ejjinja liggyiddwawo ku ntaana;
2
n'adduka, n'agenda eri Simoni Petero n'eri omuyigirizwa oli omulala Yezu gwe yali ayagala, n'abagamba nti: “Omukama mu ntaana bamuggyeemu, tetumanyi gye bamutadde.”
3
Awo Petero n'afuluma n'omuyigirizwa oli omulala, ne balaga ku ntaana.
4
Bombi baagenda badduka, naye omuyigirizwa oli omulala n'asinza Petero embiro, n'amusooka okutuuka ku ntaana.
5
N'akutama alingizeemu, n'alaba essuuka nga ziri awo, naye n'atayingira.
6
Simoni Petero n'atuuka ng'ajja amugoberera; n'ayingira mu ntaana; n'alaba essuuka nga ziri awo;
7
n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe, nga tekiri na ssuuka, wabula nga kizingiddwa ne kiteekebwa waakyo.
8
N'omuyigirizwa oli omulala eyali asoose okutuuka ku ntaana, n'ayingira, n'alaba, n'akkiriza;
9
kubanga baali tebannamanya Kiwandiiko ekigamba nti yali wa kuzuukira mu bafu.
10
Abayigirizwa ne baddayo ewaabwe.
11
Naye Mariya yali ayimiridde ku ntaana wabweru ng'akaaba. Bwe yali akaaba, n'akutama alingize mu ntaana;
12
n'alabamu bamalayika babiri abaali mu ngoye enjeru, nga batudde, omu emitwetwe n'omulala emirannamiro, mu kifo omubiri gwa Yezu mwe gwali guteekeddwa.
13
Ne bamugamba nti: “Mukazi, okaabira ki?” N'abagamba nti: “Kubanga Mukama wange bamututte, simanyi na gye bamutadde.”
14
Bwe yamala okwogera ebyo, n'akebuka, n'alaba Yezu ng'ayimiridde, naye n'atamanya nti ye Yezu.
15
Yezu n'amugamba nti: “Mukazi, okaabira ki? Onoonya ani?” Ye n'alowooza nti ye nnannyini nnimiro, n'amugamba nti: “Ssebo, oba wamuggyemu, mbuulira gye wamutadde, nze mmuggyeyo.”
16
Yezu n'amugamba nti: “Mariya.” N'akebuka, n'amugamba mu Lwebureeyi nti: “Rabbuni!”, kwe kugamba nti Muyigiriza.
17
Yezu n'amugamba nti: “Tonneekwatako, kubanga sinnalinnya eri Taata; naye genda eri baganda bange obagambe nti: ‘Nninnya eri Kitange era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.’ ”
18
Mariya Magudalena n'agenda n'agamba abayigirizwa be nti: “Omukama mmulabye.” N'abagamba nti yali amugambye ebintu ebyo.
19
Obudde bwe bwali buwungedde, ku olwo oluddirira Sabbaato, abayigirizwa we baali enzigi nga nsibe olw'okutya Abayudaaya, Yezu n'ajja n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe.”
20
Bwe yamala okwogera ebyo, n'abalaga ebibatu bye n'embiriizi. Awo abayigirizwa ne basanyuka okulaba Omukama.
21
Ye n'addamu okubagamba nti: “Emirembe gibeere ku mmwe; nga Taata bwe yantuma, nange bwe mbatuma.”
22
Bwe yasirissa ebyo, n'abafuuwako omukka, n'abagamba nti: “Mufune Mwoyo Mutuukirivu.
23
Yenna ebibi bye bye munaasonyiwanga, nga bisonyiyiddwa; yenna ebibi bye bye munaasibanga, nga bisibiddwa.”
24
Toma, omu ku Kkumi n'Ababiri ayitibwa Omulongo, teyali na banne Yezu lwe yajja.
25
Abayigirizwa banne ne bamugamba nti: “Omukama tumulabye.” Ye n'abagamba nti: “Wabula nga ndabye mu bibatu bye obubonero bw'enninga, ne nzisa olunwe lwange mu nkovu z'enninga, ne nzisa n'omukono mu lubiriizi lwe, sijja kukkiriza.”
26
Nga wayise ennaku munaana, era abayigirizwa be baali mu nnyumba, ne Toma nga mw'ali nabo. Enzigi zaali nzigale; Yezu n'ajja, n'abayimiriramu wakati, n'abagamba nti: “Emirembe gibeere nammwe.”
27
Awo n'agamba Toma nti: “Olunwe lwo luyingize wano, laba n'ebibatu byange; leeta n'omukono gwo oguteeke mu lubiriizi lwange; leka butakkiriza, naye kkiriza.”
28
Toma n'addamu nti: “Mukama wange, Katonda wange.”
29
Yezu n'amugamba nti: “Toma, okkirizza kubanga ondabyeko? Beesiimye abakkiriza nga tebalabyeko.”
30
Era waaliwo n'obubonero obulala bungi Yezu bwe yakola mu maaso g'abayigirizwa be obutawandiikiddwa mu kitabo kino.
31
Buno buwandiikiddwa mulyoke mukkirize Yezu nga ye Kristu Omwana wa Katonda, ate olw'okukkiriza mufune obulamu mu linnya lye.
← Chapter 19
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 21 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21