bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 8
John 8
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
1
Ye Yezu n'alaga ku Lusozi lw'Oliva;
2
mu makya n'adda mu Kiggwa. Abantu bonna ne bajja gy'ali, n'atuula n'abayigiriza.
3
Abawandiisi n'Abafarisaayo ne bamuleetera omukazi eyakwatirwa mu bwenzi, ne bamussa wakati,
4
ne bamugamba nti: “Muyigiriza, omukazi ono akwatiddwa kaakano mu kikolwa eky'obwenzi.
5
Kati nno Musa mu tteeka yatulagira ow'engeri eyo okumukuba amayinja. Kale ggwe ogamba ki?”
6
Ekyo baakyogera kumukema bukemi bafunewo ensonga ey'okumuwawaabira. Yezu n'akutama, n'awandiika ku ttaka n'olunwe lwe.
7
Kubanga baali tebatadde kumuteeteza, n'akutaamulukuka, n'abagamba nti: “Mu mmwe ataliiko kibi y'aba asooka okumukasuukirira ejjinja.”
8
N'addamu okukutama, era n'awandiika ku ttaka.
9
Bwe baawulira ekyo, ne beeseebulula kinnoomu nga basookera ku basinga obukulu. Yezu n'asigala yekka ng'omukazi ayimiridde awo.
10
Yezu n'akutaamulukuka, n'amugamba nti: “Mukazi, baluwa? Tewali akusalidde musango?”
11
Omukazi n'agamba nti: “Ssebo, tewali.” Yezu n'agamba nti: “Nange sijja kukusalira musango; genda, naye koma okwo, n'okuva kati togezanga kwonoona.”
12
Era Yezu n'ayongera okwogera nabo, n'agamba nti: “Nze kitangaala ky'ensi; angoberera tatambulira mu kizikiza; alibeera n'ekitangaala eky'obulamu.”
13
Abafarisaayo ne bamugamba nti: “Ggwe weejulira wennyini; okujulira kwo si kwa mazima.”
14
Yezu n'abaddamu nti: “Newandibadde neejulira nzennyini, okujulira kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nsibuka ne gye ndaga; sso mmwe temumanyi gye nva na gye ndaga.
15
Mmwe mulamula ng'abantu, naye nze siriiko gwe nnamula.
16
Singa mba nnamudde, ensala yange eba ya mazima, kubanga siba bw'omu nga nnamula, wabula tuba nze n'oyo eyantuma.
17
Ne mu tteeka lyammwe baawandiika nti: ‘Obujulizi bw'ababiri buba bwa mazima.’
18
Nze neejulira nzennyini, ate ne Taata eyantuma anjulira.”
19
Awo ne bamugamba nti: “Kitaawo ali luuyi wa?” Yezu n'abaddamu nti: “Nange temummanyi ne Kitange temumumanyi; muba kummanya, ne Kitange mwandimumanye.”
20
Ebigambo bino Yezu yabyogerera mu kifo ky'eggwanika bwe yali ng'ayigiriza mu Kiggwa; tewaali n'omu amukwata, kubanga akadde ke kaali tekannatuuka.
21
Yezu ate n'abagamba nti: “Nze ŋŋenda, mulinnoonya, naye mulifiira mu kibi kyammwe; gye ŋŋenda temuyinza kujjayo.”
22
Abayudaaya ne bagamba nti: “Agenda kwetta, anti agambye nti: ‘Gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo.’ ”
23
Yezu n'abagamba nti: “Mmwe muli ba wansi, nze ndi wa waggulu. Mmwe muli ba mu nsi eno, nze siri wa mu nsi eno.
24
Kyenvudde mbagamba nti mulifiira mu kibi kyammwe.”
25
Ne bamugamba nti: “Ggwe ani?” Ye n'abagamba nti: “Ky'ekyo kye mbadde mbagamba okuva olubereberye.
26
Nnina bingi eby'okuboogerako n'eby'okubalamulamu; ye oli eyantuma wa mazima, nange bye naggya gy'ali bye mbuulira ensi.”
27
Ne batategeera nga yali ababuulira ku Taata.
28
Yezu n'abagamba nti: “Bwe muliba mumaze okuwanika Omwana w'Omuntu, olwo lwe mulitegeera nga nze wuuyo; era nga sikola bintu ku bwange, wabula nga njogera ebyo nga Taata bwe yanjigiriza.
29
Oli eyantuma ali nange, tandese bw'omu, kubanga bulijjo nkola ebyo ebimusanyusa.”
30
Bwe yayogera ebyo, bangi ne bamukkiriza.
31
Abayudaaya abaamukkiriza Yezu n'abagamba nti: “Bwe mulinywerera ku kigambo kyange, mulibeera bayigirizwa bange ddala;
32
mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ab'eddembe.”
33
Bo ne bamuddamu nti: “Tuli bazzukulu ba Yiburayimu, tetubeerangako baddu ba muntu; lwaki ogamba nti: ‘Muliba ba ddembe’?”
34
Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambira ddala mazima nti buli akola ekibi, abeera muddu wa kibi.
35
Omuddu taba wa lubeerera mu nnyumba; omwana ye aba wa lubeerera.
36
Omwana bw'aliba abanunudde, mulibeerera ddala ba ddembe.
37
Mmanyi nga muli bazzukulu ba Yiburayimu, sso munoonya okunzita, kubanga ekigambo kyange tekirina kifo mu mmwe.
38
Nze njogera kye nalaba ewa Kitange; nammwe mukola kye mwalaba ewa kitammwe.”
39
Bo ne bamuddamu nti: “Kitaffe ye Yiburayimu.” Yezu n'abagamba nti: “Singa mubadde baana ba Yiburayimu, mwandikoze nga Yiburayimu.
40
Naye kaakano mwagala okunzita, nze omuntu ababuulidde amazima ge naggya ewa Katonda; ekyo Yiburayimu si kye yakola.
41
Mukola kitammwe kye yakola.” Bo ne bamugamba nti: “Ffe tetuzaalibwanga mu bukaba, tulina Kitaffe omu, Katonda.”
42
Yezu n'abagamba nti: “Katonda aba kubeera Kitammwe, nange mwandinjagadde, kubanga nze nasibuka mu Katonda era mwe nava; sajja ku bwange nzekka, wabula ye ye yantuma.
43
Lwaki temutegeera kye ŋŋamba? Kubanga temwetegese kuwulira kigambo kyange.
44
Mmwe muva mu kitammwe Sitaani; kitammwe bye yeegomba bye mwagala okukola. Ye okuviira ddala mu masooka mutemu, amazima tagaliiko, kubanga mu ye temuli mazima n'akamu. Bw'alimba aba agoberedde enkula ye, kubanga ye mulimba era ye kitaawe w'obulimba.
45
Kubanga njogera mazima, kyemuva mutanzikiriza.
46
Mu mmwe ani annumiriza ekibi? Bwe mbabuulira amazima, lwaki temunzikiriza?
47
Owa Katonda awulira ebigambo bya Katonda. Mmwe nno kyemuva mulema okuwulira ebigambo bya Katonda kubanga temuli ba Katonda.”
48
Abayudaaya ne bamuddamu nti: “Tetuli batuufu okugamba nti oli Musamariya, olimu n'omwoyo omubi?”
49
Yezu n'addamu nti: “Nze siriimu mwoyo mubi; Kitange gwe mpa ekitiibwa; naye mmwe temumpa kitiibwa.
50
Nze seenoonyeza kitiibwa; akinnoonyeza w'ali era y'alamula.
51
Mbagambira ddala mazima nti buli alikwata ekigambo kyange, taliraba ku lumbe emirembe gyonna.”
52
Abayudaaya ne bagamba nti: “Kati tutegeeredde ddala ng'olimu omwoyo omubi; kale Yiburayimu yafa, n'abalanzi baafa, ate ggwe ogamba nti: ‘Buli akwata ekigambo kyange, taliraba ku lumbe emirembe gyonna.’
53
Kazzi ggwe mukulu okusinga kitaffe Yiburayimu eyafa? N'abalanzi baafa. Ggwe weeyita ani?”
54
Yezu n'addamu nti: “Singa nze neegulumiza nzekka, ekitiibwa kyange temwandibadde kantu; Kitange y'angulumiza, mmwe gwe muyita Katonda wammwe,
55
sso nga temumumanyi na kumumanya. Naye nze mmumanyi; singa ŋŋamba nti simumanyi, nandibadde mulimba nga mmwe; naye nze mmumanyi n'ekigambo kye nkikwata.
56
Kitammwe Yiburayimu yasagambiza olw'okulowooza ng'aliraba olunaku lwange; yalulaba n'asanyuka.”
57
Abayudaaya ne bamugamba nti: “Tonnaweza myaka ataano, n'oba nga walaba Yiburayimu?”
58
Yezu n'abaddamu nti: “Mbagambira ddala mazima nti Yiburayimu yali tannabaawo, nze nga wendi.”
59
Awo ne bakwata amayinja okugamukasuukirira; naye Yezu ne yeekweka, n'ava mu Kiggwa.
← Chapter 7
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 9 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21