bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 16
John 16
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
1
“Ebyo mbibagambye, muleme okwesittala.
2
Balibagoba mu sinaagooga; n'obudde bujja buli abatta lw'alirowooza nti mu ky'akola aweereza Katonda.
3
Balibakola bwe batyo kubanga Taata tebamumanyi, newandibadde nze.
4
Ebyo mbibagambye kati akadde kaabyo bwe kalituuka, mujjukire nga nabibagamba. “Bino saabibagambirawo olubereberye kubanga nali nkyali nammwe.
5
Kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; ate mu mmwe temuli ambuuza nti: ‘Ogenda wa?’
6
Naye kubanga bino mbibagambye emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7
Kyokka nze mbabuulira amazima nti kibagasa nze okugenda; kubanga bwe sigenda, Omuwolereza talijja gye muli; naye bwe ŋŋenda, ndimubatumira.
8
Oyo bw'alijja, alinenya ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'okulamulibwa:
9
olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza;
10
olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda ewa Kitange, temuliddamu na kundaba;
11
ate n'olw'okulamulibwa, kubanga omufuzi w'ensi eno yamala dda okulamulibwa.
12
“Nkyalina bingi eby'okubabuulira, kyokka temuyinza kubikwata kati.
13
Naye Mwoyo oyo ow'amazima bw'alituuka, alibatuusa ku mazima gonna, kubanga talyogera ku bubwe yekka, naye by'anaawuliranga anaabyogeranga, n'ebirijja alibibabuulira.
14
Alingulumiza, kubanga alitoolanga ku byange n'ababuulira.
15
Byonna Kitange by'alina byange; kyenvudde ŋŋamba nti alitoolanga ku byange n'ababuulira.
16
“Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba.”
17
Awo abamu ku bayigirizwa be ne bagambagana nti: “Atugamba ki ekyo nti: ‘Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba,’ ate nti: ‘Ŋŋenda ewa Taata’?”
18
Ne bagamba nti: “Kiki ekyo ky'agamba nti: ‘Akabanga katono’? Tetumanyi ky'agamba.”
19
Yezu n'amanya nga baagala okumubuuza; n'abagamba nti: “Ekyo kye mwebuuzaganya kubanga ŋŋambye nti: ‘Mu kabanga katono munaaba temukyandaba, ate mu kabanga katono muliddamu ne mundaba’?
20
Mbagambira ddala mazima nti mulikaaba, mulikuba ebiwoobe, ensi yo ng'esanyuka; mulikabirirwa, naye okukabirirwa kwammwe kulifuuka essanyu.
21
Omukazi ng'azaala alumwa, kubanga entuuko ze zituuse; naye bw'amala okuzaala omwana, nga takyajjukira bulumi olw'essanyu, kubanga omuntu azaaliddwa ku nsi.
22
Nammwe nno kaakano mukabiriddwa, naye ndibalaba ogwokubiri, olwo emitima gyammwe girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewaliba alibaggyako.
23
Ku lunaku olwo temulimbuuza kantu. Mbagambira ddala mazima nti bwe munaabangako kye musaba Taata, alikibawa mu linnya lyange.
24
N'okutuusa kati mubadde temunnasaba kantu mu linnya lyange; musabe, mujja kufuna, essanyu lyammwe lituukirire.
25
“Ebyo mbibagambye mu ngero. Akadde kajja nga sikyayogera nammwe mu ngero, wabula nga mbabuulira kyere ku Taata.
26
Ku lunaku olwo mulisaba mu linnya lyange; sso sibagamba nti ndibasabira ewa Taata;
27
anti Taata abaagala, kubanga nammwe mwanjagala ne mukkiriza nga nava wa Taata.
28
Nava ewa Taata ne nzija mu nsi; era ate ndeka ensi, ŋŋenda ewa Taata.”
29
Abayigirizwa be ne bamugamba nti: “Ggwe wamma kaakano oyogera kyere, sso si mu ngero n'akatono.
30
Kaakano tutegedde ng'omanyi byonna; teweetaaga muntu akubuuze. Olwa kino kyetuva tukkiriza nga wava wa Katonda.”
31
Yezu n'abaddamu nti: “Kaakano mukkiriza?
32
Kale akadde kajja, n'okutuuka katuuse, mubune emiwabo, buli omu adde ewuwe, mundeke bw'omu. Sso era siri bw'omu, kubanga Taata ali wamu nange.
33
Bino mbibagambye, mulyoke mubeere n'emirembe mu nze. Ku nsi mulisanga ebizibu; naye mubeere bagumu, nze ensi ngiwangudde.”
← Chapter 15
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 17 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21