bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 17
John 17
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
1
Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'ayimusa amaaso ku ggulu, n'agamba nti: “Taata, akadde katuuse; gulumiza Omwana wo n'Omwana wo alyoke akugulumize,
2
kubanga anti wamuwa obuyinza ku buli muntu yenna; alyoke awe obulamu obutaggwaawo be wamuwa.
3
Obulamu obutaggwaawo bwe buno: bonna okukumanya nga ggwe Katonda wekka ow'amazima ne Yezu Kristu gwe watuma.
4
Nze nakugulumiza ku nsi; omulimu gwe wampa okukola ngumalirizza.
5
Kaakano nno, Taata, ngulumiza gy'oli n'ekitiibwa kye nalimu w'oli ensi nga tennaba kubaawo.
6
“Erinnya lyo nalimanyisa abantu be wampa ng'obaggya mu nsi. Baali babo, n'obampa, era bakutte ebigambo byo.
7
Kaakano bategedde nga byonna bye wampa byava gy'oli;
8
kubanga nababuulira ebigambo bye wampa, ne babikwata, ne bamanya mu mazima bwe nava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9
Nze abo be nsabira; sinnasabira ba nsi, wabula abo be wampa, kubanga babo;
10
byonna ebyange bibyo, n'ebibyo byange, era ngulumiziddwa mu byo.
11
Kaakano nze sikyali ku nsi, sso bo bakyali ku nsi; nze nzija gy'oli. Taata Omutuukirivu, bakuumire mu linnya lyo lye wampa, balyoke babeere kimu nga ffe bwe tuli ekimu.
12
Bwe nali nga nkyali nabo, nabakuumira mu linnya lyo lye wali ompadde; nabakuuma, era ku bo tewali yabula, wabula omwana w'okuzikirira, Ebiwandiiko biryoke bituukirire.
13
Kaakano nzija gy'oli; bino mbyogedde kati mu nsi, essanyu lyange lituukirire mu bo.
14
Mbawadde ekigambo kyo, ensi n'ebakyawa, kubanga si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
15
Sisaba obaggye mu nsi, wabula nti obatalize omubi.
16
Bo si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
17
Batukuze mu mazima; ekigambo kyo ge mazima.
18
Nga nze bwe wantuma mu nsi, nange bwe ntyo bwe mbatumye mu nsi.
19
Olw'okubeera bo neetukuza, nabo balyoke beetukuze mu mazima.
20
“Sisabira abo bokka, naye nsabira n'abalinzikiriza ku lw'ekigambo kyabwe,
21
bonna balyoke babeere kimu, nga ggwe Taata bw'oli mu nze nange bwe ndi mu ggwe, balyoke babeere mu ffe, ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22
Ekitiibwa kye wampa nange nkibawadde, balyoke babeere kimu, nga ffe bwe tuli ekimu;
23
nze mu bo naawe mu nze, bafuukire ddala kimu, ensi etegeere nga ggwe wantuma, ate nga wabaagala nga nze bwe wanjagala.
24
Taata, njagala abo be wampa nabo babe nange awo we ndi, balabe ekitiibwa kyange kye wampa, kubanga wanjagala nga n'ensi tennabangibwawo.
25
Ayi Taata Omutuukirivu, ensi teyakumanya, naye nze nakumanya, na bano baamanya nga ggwe wantuma.
26
Nabamanyisa erinnya lyo, era nzija kwongera okulimanyisa, okwagala kwe wanjagalamu kulyoke kubabeeremu, nange mbeere mu bo.”
← Chapter 16
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 18 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21