bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 12
John 12
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
1
Waali wasigadde ennaku mukaaga Pasika okutuuka, Yezu n'ajja e Betaniya, Lazaro Yezu gwe yazuukiza mu bafu gye yali,
2
ne bamufumbirayo ekyeggulo. Marita n'aweereza; Lazaro yali omu ku baali batudde naye ku lujjuliro.
3
Awo Mariya n'akwata laatiri emu ey'omuzigo narudo ogw'omuwendo omunene, n'agusiiga ebigere bya Yezu, n'abisiimuuza n'enviiri ze. Ennyumba n'ebuna akawoowo k'omuzigo.
4
Naye Yuda Yisikariyoti omu ku bayigirizwa be, eyali agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti:
5
“Omuzigo ogwo lwaki tegutundiddwa dinaari ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?”
6
Ekyo yakyogera si lwa kubeera ng'abaavu yali abassaako omwoyo, wabula kubanga yali mubbi; ye yayitanga n'ensawo; bye baasuulangamu ng'abitwala.
7
Yezu n'agamba nti: “Mumuleke, k'agukuume okutuusa olunaku lwe ndiziikirwako.
8
Abaavu muli nabo bulijjo, sso nze temujja kubeeranga nange bulijjo.”
9
Ekibiina kinene eky'Abayudaaya ne kitegeera ng'ali awo, ne bajja, si lwa kubeera Yezu yekka, naye n'okulaba Lazaro Yezu gwe yali azuukizza mu bafu.
10
Bakabona abakulu ne bateesa okutta ne Lazaro,
11
kubanga Abayudaaya bangi baali basinziira ku ye okubavaako n'okukkiriza Yezu.
12
Naye ku lunaku olwaddako, abantu bangi abaali bazze ku mbaga enkulu ne bawulira nga Yezu yali ajja e Yeruzaalemu,
13
ne baddira ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti: “Hosanna! Agulumizibwe oyo ajja mu linnya ly'Omukama, Kabaka wa Yisirayeli!
14
Awo Yezu n'asanga akalogoyi, n'akeebagala, nga bwe kyawandiikibwa nti:
15
“Muwala wa Siyoni, leka kutya. Wuuyo kabaka wo ajja nga yeebagadde omwana gw'endogoyi.”
16
Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo; naye Yezu bwe yamala okugulumizibwa, awo ne bajjukira ng'ebyo byali bimuwandiikiddwako era byamukolwako.
17
Ekibiina ekyali naye luli lwe yakoowoola Lazaro okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kiwa obujulizi.
18
N'ekibiina okujja okumusisinkana, kubanga baali bawulidde nga yakola akabonero ako.
19
Abafarisaayo ne bagambagana nti: “Mulabe nga bwe mutalina kye mufunyeemu; yiino ensi eggweredde gy'ali.”
20
Mu abo abaali bambuse okusoma ku mbaga enkulu mwalimu Abagereeki abamu.
21
Abo baagenda eri Filippo eyali ow'e Betisayida mu Galilaaya ne bamusaba nga bagamba nti: “Ssebo, twagala kulaba Yezu.”
22
Filippo n'agenda abuulira Andureya, ate Andureya ne Filippo ne babuulira Yezu.
23
Yezu n'abaddamu nti: “Akadde katuuse Omwana w'Omuntu agulumizibwe.
24
Mbagambira ddala mazima nti empeke y'eŋŋano bw'etegwa mu ttaka n'efa, esigala yokka; naye bw'efa, ereeta ebibala bingi.
25
Ayagala obulamu bwe, alibubuza; naye akyawa obulamu bwe mu nsi, abweterekera mu bulamu obutaggwaawo.
26
Ampeereza, angoberere; nze we ndi n'omuweereza wange w'alibeera. Buli aliba ampeerezza Taata alimuwa ekitiibwa.
27
“Kaakano omutima gwange gutabanguse. Nkyagamba ki? Taata, mponya akadde kano? Nedda, anti akadde kano kyenvudde nkatuukako.
28
Taata, gulumiza erinnya lyo.” Eddoboozi ne liva mu ggulu nti: “Naligulumiza dda, era ndiddamu okuligulumiza.”
29
Ekibiina ekyali kiyimiridde awo ne kiwulira, ne kigamba nti enjota y'ebwatuse; abalala ne bagamba nti: “Malayika y'abadde ayogera naye.”
30
Yezu n'abaddamu nti: “Eddoboozi eryo terizze kubeera nze, wabula kubeera mmwe.
31
Kaakano ensi etuuse okulamulibwa; kaakano omufuzi w'ensi eno agenda okugoberwa ebweru.
32
Nange bwe ndimala okuwanikibwa okuva ku nsi, byonna ndibyesembereza. ”
33
Ekyo yakyogera okutegeeza enfa gye yali agenda okufaamu.
34
Ekibiina ne kimuddamu nti: “Ffe mu tteeka twawulira nga Kristu alibeera wa lubeerera. Kale ggwe ekikugambya nti Omwana w'Omuntu ateekeddwa okuwanikibwa waggulu kiki? Omwana w'Omuntu oyo ye ani?”
35
Yezu n'abagamba nti: “Ekitangaala kikyali nammwe akabanga katono; mutambule nga mukyalina ekitangaala, ekizikiza kireme kubakwata; anti atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
36
Nga mukyalina ekitangaala, mukkirize ekitangaala, mulyoke mubeere abaana b'ekitangaala.” Yezu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda n'abeekweka.
37
Newandibadde yali akoze obubonero bungi mu maaso gaabwe, era bo baagaana okumukkiriza.
38
Ekigambo Yisaaya kye yayogera kiryoke kituukirire nti: “Ayi Mukama, ani yakkiriza bye baawulira okuva gye tuli? N'omukono gw'Omukama ani gwe gwayolekebwa?”
39
Kyebaava balema okutegeera, kubanga Yisaaya yagamba era nti:
40
“Amaaso gaabwe yagaziba n'omutima gwabwe yagugugubya; baleme kulaba na maaso gaabwe, na kuwulira na mitima gyabwe, baleme kukyukira gye ndi mbawonye.”
41
Ebyo Yisaaya yabyogera luli kubanga yalaba ekitiibwa kye n'amwogerako.
42
Sso era bangi, nandibadde mu bakungu, ne bamukkiriza; naye nga tebakyatula olw'okutya Abayudaaya, sikulwa nga bagobebwa mu sinaagooga,
43
kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
44
Awo Yezu n'ayogerera waggulu, n'agamba nti: “Anzikiriza, takkiriza nze, wabula akkiriza oli eyantuma.
45
Era alaba nze alaba oli eyantuma.
46
Najja mu nsi ng'ekitangaala, buli anzikiriza aleme kusigala mu nzikiza.
47
Ate buli awulira ebigambo byange n'atabikwata, si nze mmulamula, kubanga sajja kulamula nsi, wabula okulokola ensi.
48
Buli angaya n'atakkiriza bigambo byange, alina alimulamula; ekigambo kye njogedde kye kirimulamula ku lunaku olw'oluvannyuma.
49
Kubanga nze soogedde ku bwange, wabula Taata eyantuma yennyini ye yandagira kye mba ŋŋamba ne kye mba njogera.
50
Era mmanyi ng'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo. Awo nno bye njogera, mbyogera nga Taata bwe yabiŋŋamba.”
← Chapter 11
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 13 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21