bible
ra
🌐 Language
English
Español
Français
Deutsch
Português
Italiano
Nederlands
Русский
中文
日本語
한국어
العربية
Türkçe
Tiếng Việt
ไทย
Indonesia
All Languages
Home
/
Luganda
/
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
/
John 5
John 5
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
1
Oluvannyuma ne wabaawo embaga enkulu ey'Abayudaaya; ne Yezu n'ayambuka e Yeruzaalemu.
2
Kati nno e Yeruzaalemu, okumpi n'omuzigo oguyitibwa ogw'Endiga, waaliwo ekidiba, mu Lwebureeyi ekiyitibwa Betizata, nga kiriko ebigango bitaano.
3
Mu bigango ebyo mwagalamirangamu abalwadde nkumu, bamuzibe, abalema, n'abakonzibye.
5
Waaliwo omusajja nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana nga mulwadde.
6
Yezu bwe yamulaba ng'agalamidde awo, n'ategeera nga yaakamala ebbanga ddene, n'amugamba nti: “Oyagala okuwona?”
7
Omulwadde n'amuddamu nti: “Ssebo, sirina muntu ankasuka mu kidiba amazzi nga gabadde gasambattuse; kubanga nze we ntuukirayo ng'omulala yakkiriddeyo dda.”
8
Yezu n'amugamba nti: “Golokoka, situla olunnyo lwo otambule.”
9
Amangu ago omusajja oyo n'awona; n'asitula olunnyo lwe, n'atambula. Kazzi olunaku lwali lwa Sabbaato.
10
Abayudaaya kwe kugamba eyali awonyezeddwa nti: “Luno lwa Sabbaato; tokkirizibwa kwetikka lunnyo lwo.”
11
Ye n'abaddamu nti: “Oli eyamponyezza ye yaŋŋambye nti: ‘Situla olunnyo lwo otambule.’ ”
12
Ne bamubuuza nti: “Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti: ‘Situla olunnyo lwo otambule’?”
13
Eyawonyezebwa yali tamumanyi; anti ne Yezu yali yeeseebuludde kubanga ekibiina kinene kyali kikuŋŋaanidde mu kifo ekyo.
14
Oluvannyuma Yezu n'amusanga ate mu Kiggwa n'amugamba nti: “Kale wuuyo kati owonye, leero togezanga n'oyonoona, sikulwa ng'ogwirwa akabi akasingawo.
15
Omusajja oyo n'agenda abuulira Abayudaaya nti eyamuwonya ye Yezu.”
16
Abayudaaya kyebaava bayigganyanga Yezu, kubanga ekyo yakikola ku Sabbaato.
17
Naye Yezu n'abaanukula nti: “Kitange n'okutuusa kati akyakola; nange nkola.”
18
Abayudaaya kyebaava banoonyeza ddala okumutta, kubanga yali tamenya Sabbaato yokka, naye nga ne Katonda amuyita Kitaawe, ne yessa bw'atyo ku lubu lumu ne Katonda.
19
Yezu n'abagamba nti: “Mbagambira ddala mazima nti Mwana ku bubwe tayinza kukola kantu, wabula era ng'alabye Taata ky'akola. Kubanga buli ky'akola ne Mwana ky'akola;
20
anti Taata ayagala Mwana, amwoleka byonna yennyini by'akola; ate alimwoleka n'ebisinga ku ebyo, nammwe ne mwewuunya.
21
Nga Taata bw'azuukiza abafu n'abazzaamu obulamu, ne Mwana bw'atyo, gw'aba ayagadde amuzzaamu obulamu.
22
Taata talina gw'alamula; okulamula kwonna yakukwasa Mwana,
23
bonna bawe Mwana ekitiibwa nga bwe bakiwa Taata. Atassaamu Mwana kitiibwa, ne Taata eyamutuma tamussaamu kitiibwa.
24
Mbagambira ddala mazima nti awulira ebigambo byange, n'akkiriza oli eyantuma, aba n'obulamu obutaggwaawo; talamulibwa, wabula avudde mu lumbe n'ayingira mu bulamu.
25
Mbagambira ddala mazima nti obudde bujja, n'okutuuka butuuse, abafu lwe baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katonda; abaliba bawulidde, baliba balamu.
26
Kubanga nga Taata bw'alina obulamu mu ye, bwe yawa bw'atyo ne Mwana okuba n'obulamu mu ye,
27
n'amuwa n'obuyinza obw'okulamula, kubanga ye Mwana w'omuntu.
28
Ekyo temukyewuunya, kubanga obudde bujja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye.
29
Abo abaayisa obulungi balivaayo okuzuukirira obulamu; abaayisa obubi ne bazuukirira okulamulibwa.
30
Nze siyinza kukola kantu ku bwange; nga bwe mpulira, bwe nnamula; era okulamula kwange kutuufu; kubanga sigoberera kye njagala, wabula ekyo eyantuma ky'ayagala.
31
“Singa mbadde neejulira nzekka, okujulira kwange tekwandibadde kwa mazima.
32
Waliwo omulala anjulira; mmanyi nga by'anjogerako bya mazima.
33
Mwatuma ewa Yowanna n'ajulira amazima.
34
Omuntu obuntu si y'anjulira, wabula ebyo mbyogedde mulyoke mulokoke.
35
Oyo ye yali ettawaaza eyaka emulisa; nammwe mwajaguliza mu kitangaala kye akaseera.
36
Naye nze okujulira kwe nnina kusinga n'okwa Yowanna, kubanga ebikolwa Taata bye yampa okukola, ebyo byennyini bye nkola, binjulira nga Kitange ye yantuma.
37
N'oyo Taata yennyini eyantuma anjulira; eddoboozi lye temuliwulirangako, era temulabanga na bw'afaanana.
38
N'ekigambo kye temukirina mu mmwe kubasigalamu, kubanga temukkiriza oyo gwe yatuma.
39
Muwenja Ebiwandiiko, kubanga mulowooza nti mwe musanga obulamu obutaggwaawo; sso ate by'ebyo ebinjulira;
40
sso mmwe mugaana okujja gye ndi okufuna obulamu.
41
Ekitiibwa kyange tekiva mu bantu.
42
Naye mmanyi nga temulina kwagala kwa Katonda mu mmwe.
43
Nze najja mu linnya lya Taata, naye ne mutannyaniriza; bwe walijjawo omulala ajja ku bubwe, oyo gwe mulyaniriza.
44
Muyinza mutya okukkiriza, mmwe ekitiibwa kyammwe kye muggya mu kuwaanagana, abatanoonya kitiibwa ekiva mu Katonda yekka?
45
Muleke kulowooza nti nze ndibawawaabira ewa Taata; abawawaabira ye Musa, mmwe mwe mwassa essuubi lyammwe.
46
Mubeera kukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza, kubanga yawandiika ku nze.
47
Kale oba ebiwandiiko bye temubikkiriza, munakkiriza mutya ebigambo byange?”
← Chapter 4
Jump to:
Chapter 1
Chapter 2
Chapter 3
Chapter 4
Chapter 5
Chapter 6
Chapter 7
Chapter 8
Chapter 9
Chapter 10
Chapter 11
Chapter 12
Chapter 13
Chapter 14
Chapter 15
Chapter 16
Chapter 17
Chapter 18
Chapter 19
Chapter 20
Chapter 21
Chapter 6 →
All chapters:
1
2
3
4
5
6
7
8
9
10
11
12
13
14
15
16
17
18
19
20
21